Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Olukungaana ku byobulamu

Abakulembeze b’ebyobulamu okwetoolola amawanga ga East Africa bakusisinkana mu Kampala okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ebyobulamu Bagenda essira kulissa ku bulwadde bwa mukenenya n’omusujja gw’ensiri Bano era bakuteesa ku nsonga za yinsuwa y’ebyobulamu, n’engeri y’okugissa mu nkola mu mawanga nga Uganda Minisita omubeezi akola ku guno na guli mu minisitule y’ebyobulamu Chris Baryomunsi agamba nti bakukubaganya ebirowoozo ku ngeri…

Read More

Katikkiro ayanukudde Muzaaata- Jjawo akajanja

Katikkiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga asekeredde abatandise okuseketerera enkola y’okusonda ettofaali nga era ssi wakupondooka olw’ebigambo by’abantu . Kamala byonna aweze nga bwagenda okutwala maaso enteekateeka eno ekizimbe kya Masengere nebwekinaaba kiwedde okukwasibwa ssabasajja ku mazalibwa ge nga 13 omwezi ogujja. Bino Katikiro abyogeredde mu lukiiko olubadde wali e Bulange Mengo nga luteesa ku ntegeka z’amazalibwa…

Read More

Akabenje kalumizza mukaaga

Abantu 6 bakutuse emikono n’amagulu oluvanyuma lw’akabenje akagudde ku kyalo Nabbuzi e kamengo Akabenje kano kavudde ku takisi namba UAP 556 S ebadde egezaako okutaasa owa Bodaboda ayingidde oluguudo neyerindiggula ennume y’ekigwo neyefuula enfunda eziwerako. Takisi eno ebadde eva Kampala nga eyolekera Masaka. Aduumira poliisi y’e biduka e Kamengo Justus Muhoozi  ategezezza nga abali abali obubi bwekuliko abakyaala…

Read More

BBomu ebasattizza

Ka bbomu akabalukidde okumpi n’ekkomera lye Gulu kalumizza abasibe babiri n’okukosa omwana ow’emyaka 15 abadde ayitawo Bino bibadde ku kisaawe kya Kawunda nga kino kiriraanye ekkomera mu munucipaali ye Gulu Abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro e Gulu okuyambibwa AKabenje kano wekabeereddewo ng’abasibe bali mu kukima mazzi Omukuumi mu kkampuni ya Exposs Security group  Patrick Ayella, agambye nti bawulidde ekibwatuuka ekya…

Read More

Namwandu wa Kasiwukira bamumye okweyimirirwa

Kkooti eganye Namwandu wa kasiiwukira nga ono ye Sarah Nabikolo okweyimirirwa. Omulamuzi wa kkooti enkulu  Jane Elizabeth Alividza ategezezza nga abaleteddwa okweyimirira mukyala kasiiwukira bwebatabekakasa bulungi nga singa namwandu abulawo bayinza obutasobola kusasula nsimbi za kakalu ka kkooti. Namwandu Nabikolo abadde eleese ousumba  Francis Katongole  okuva mu kanisa ya  Christian Bible church nga omu ku bagenda okumweyimirira…

Read More

Kiyingi ne Jamil Mukulu betagibwa mu kkooti

  Kkooti eyisizza ebibaluwa bibakuntumye eri omusawo  munnayuganda abeera mu ggwanga lya Australia  Dr. Aggrey Kiyingi n’akulira abayeekera ba  ADF  Sheikh Jamil Mukulu. Ebibaluwa bino biyisiddwa omulamuzi wa kkooti e Jinja  Imran Kintu bw’ategezezza nga bano bwebalina kyebamanyi ku ttemu erizze likolebwa mu bitundu bye Busoga. Bano balina okweyanjula mu kkooti nga April 2nd oba ssi kyo bakwatibwe.

Read More

Abbi babbye fayilo z’emisango mu kkooti

  Emirimu gisanyaladde ku kkooti ye Buwama oluvanyuma lw’ababbi okuyingirira kkooti eno nebabbamu fayilo z’emisango n’ebyuma bikalimagezi byebatuusizzako engalo. Kkooti eno eriranye ekifo ekisanyukirwamu ekya  Buwama Community Centre nga era abazigu bakozesezza akakisa k’endongo eyabadde esindogoma obutediza nebamenya. Omulamuzi w’eddala erisooka owa kkooti eno  Naomi Sifoyo ategezezza nga abakuumi 2 bebalina bwebamazemu dda omusubi. Ye omu ku bakulira okunonyereza…

Read More

Bannayugand 69% bakkiririza mu NRM

Kizuliddwa nga bannayuganda  69% bwebali abamativu n’engeri gavumenti ya NRM gyekuttemu ensonga za demokulasiya. Bino bifulumidde mu alipoota ekunganyiziddwa ab’ekibiina kya  International Republic Institute ku ndowooza za bannayuganda eri ebibiina by’obufuzi ssaako n’ebitongole bya gavumenti n’empeereza y’emirimu okutwaliza awamu. Okunonyereza kuno kwakolebwa mu  2014 wansi w’ekitongole kya Amerika ekigabi ky’obuyambi ekya  USAID nga era kulaga nga bannayuganda…

Read More

Uganda ne Amerika bakwataganye okulwanyisa obutujju

  Gavumenti ye Uganda n’eya Amerika batandise okukolera awamu okuvaayo ne pulaani enayamba okulwanyisa obutujju. Kino kiddiridde ensisinkano wakati wa ssabaminisita w’eggwanga  Dr. Ruhakana Rugunda n’akola ku by’okwerinda by’abantu babulijjo mu Amerika ssaako n’okulwanirira eddembe ly’obuntu Sarah Sewall. Ensisinkano eno ebadde ku ofiisi ya ssabaminisita nga egendereddwamu okuteesa ku butya amawanga gombi bwegasobola okulwanyisamu obutujju mu kitundu. Mukyala Sewall…

Read More

Museveni awadde amabugo ga bukadde 10 eri okuziika kwa AK 47

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akubagizza ab’enyumba ya Gerald Mayanja n’obukadde 10 olw’okufiirwa omuyimbi AK47. Ensimbi zino zitikkiddwa minisita omubeezi owa Technologiya Nyombi Tembo mu kuziiika omugenzi ku kyalo  Busaato -Kalangaalo mu disitulikiti ye Mityana. Tembo agambye nti eggwanga lifiriddwa omuyimbi abadde eky’okulabirako eri abavubuka . Ate kulwa baganda b’omugenzi, omuyimbi Pallaso yeebazizza abantu abababuzebuze mu kaseera akazibu…

Read More