Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okusunsula mu baalondebwa kuwedde- ssabalamuzi awera

Okusunsula abalondebwa ku bwa Minista kufundikiddwa. Muno mwemubadde ne ssabalamuzi omuggya Bart Katureebe kko n’omumyuka we Steven Kavuma Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuyita mu kakiiko akasunsula abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga, Katureebe agambye nti wakuyimirira nga yetongodde era ng’obwenkanya kw’ajja okutambuliza ensonga Ono era asaabuludde abantu byebabadde batandise okwogera nti ayinza okukyuka engeri pulezidenti gyeyamuwadde omulimu Agambye nti kw’agenda okussa essira…

Read More

Namungi w’omuntu akungubaze- kawefube w’okumaliriza enyumba ya AK atandise

Namungi w’omuntu akyagumbye e Seguku okukungubagira abadde omuyimbi Salongo Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47. Okusaba okukulembeddwamu  Father John Vianne Mugabo asabye abavubuka mu ggwanga okutya mukama wamu n’okukola enyo. Yye mukulu w’omugenzi  Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleon akubagizza abakungubazi n’asaba Baganda be okwagalana. Ku lwabakozi banne okuva mu kibiina Team No Sleep, Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso omugenzi…

Read More

Bamusibidde mu keesi

Kakati abantu abagaala abantu baabwe bbo bakyaliwo Waliwo omusajja enzaalwa ya bufaransa agezezzaako okukusa mukyala we okumuyingiza amawanga ga bulaaya. Omusajja ono nga mukyala we nzaalwa ye Russia, amupakidde mu keesi n’akunnumba Abasirikale abalengedde amagulu g’omukyala nga galingiza beebamuyimirizza era okuggulawo, omukyala n’abuukamu

Read More

Munaana battiddwa abakwatamundu

Abantu munaana beebattiddwa abakwata mundu bwebalumbye ekifo ky’obulambuzi mu kibuga kya Tunisia ekikulu Tunis Mu bafudde, musanvu balambuzi ate omu munnansi wa Tunisia Bino bibadde ku kifo ky’obulambuzi ekimanyiddwa nga Bardo ekiriraanye ekizimbe kya palamenti Mu kaseera obulumbaganyi buno webubeereddewo, ng’ababaka mu palamenti bagenda mu maaso n’okuteesa ku mateeka agavumirira obutujju

Read More

Mubangule abantu ku TB

Gavumenti esabiddwa okwongera okubangula abantu ku bulwadde bwa TB Kino kijjidde mu kaseera ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’okukandula amaloboozi ku bulwadde buno ssabbiiti eno Omusawo mu ddwaliro lya Kisenyi Health center Daniel Ssebagala agamba nti abalwadde abasinga beebogeddeko nabo bamanyi kitono ku bulwadde buno Agamba nti bangi era tebafaayo kugenda mu malwaliro kufuna bujjanjabi ate abalala bwebalwaawo okuwona…

Read More

Ebikozesebwa mu kulonda bituuse

Ebigenda okukozesebwa mu kuddamu okulonda e Bugiri bituusiddwa ku kitebe kya disitulikiti ye Bugiri Bino bigenda kukozesebwa mu kulonda ssentebe wa disitulikiti, ne ba kansala b’abakyala abe Busoowa ne Nkaiza Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agamba nti tebannafuna buzibu bwonna n’akunga abantu okwetaba mu kulonda kuno Obwe ssentebe bwesimbiddwaako abantu bataano okuli owa NRM Hajji Siraje Byavawala, n’owa…

Read More

Abaana banunuddwa okuva ku bayekeera

Poliisi eriko abaana 23 b’enunudde nga bano babadde bagenda kuggattibwa ku bayeekera ba ADF 14 bajjiddwa ku musajja amanyiddwa nga Sheikh Abdul Mbazira’ e Namawojjolo ate abalala basangiddwa wa Hajati Mariam Athuman Nalumagga e Mpooma mukono. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Sheikh Mbazira yali muyekeera wa ADF kyokka n’aweebwa ekisonyiwo Enanga agamba nti abaana bano bajjibwa…

Read More

Eyayiira mukyala we Acid alabiseeko mu kkooti

Omusajja agambibwa okuyiira mukyala we acid n’afa omusango gwe gusindikiddwa mu kkooti enkulu ey’eggwanga Omulamuzi wa kkooti ye Nakawa Flavia Nassuna y’asindise Kasim Kakaire mu kkooti enkulu yewozeeko ku misango gy’ettemu Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwaka oguwedde, Kakaire yagula abantu abalumba mukyala we Josephine Namanda era n’afa olw’ebiwundu byeyafuna. Obulumbaganyi buno bwaali ku Kyaalo Naalya ku luguudo…

Read More

Mukole nnyo ate mujjukire Katonda- Faaza mu kusabira AK

Abavubuka bakubiriziddwa okujjukira Katonda mu buli kyebakola n’okukola enyo mu ensi eno. Buno bwebubadde obubaka bwa Faaza  John Mugabo akulembeddemu emisa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi    Emmanuel Mayanja banji gwebamanyi nga  AK47 wali ku ekeleziya y’abakatouliki e  Lweza. Faaza omugenzi amunyonyodde nga abadde n’ekitone era omukozi nga n’enyimba ze nga Nalongo bwezibadde zetikka obubaka eri bannayuganda. Abamu ku bakungubazi kubaddeko…

Read More

Abe Makerere balonda

Abayizi ba zi yunivasite balabuddwa obutakkiriza kukozesebwa bannakigwanyizi ababakumamu omuliro okwekalakaasa. Bw’abadde ayogerako eri abayizi abekalakaasa ku ttendekero lya Busoga University, amyuka ssenkulu w’ettendekero lino  Lameka Kibikyo ategezezza nga bwewaliwo amakubo omutali buvuyo agasobolwa okuyitibwamu okugonjoola ensonga. Abayizi ku ttendekero lino bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya eky’okubongeza fiizi. Wabula Kibikyo abakakasizza nga fiizi zino bwezitagenda kukosa bayizi…

Read More