Nga okukakasa baminisita ne ssabalamuzi w’eggwanga kukyagenda mu maaso ku palamenti, omubaka w’abavubuka b’obugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga akyafuba okulaba nga amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma takakasibwa.
Nga akulembeddwamu munnamateekawe eyali omulamuzi wa kooti yokuntikko George Kanyeihamba, Karuhanga, galeero akwanze sipiika ekiwandiiko palamenti ereme kukakasa Kavuma okutuusa nga omusango gweyatwala mu kkooti guwuliddwa.
Mu bbaluwa, Karuhanga asabye palamenti…
Omuwendo gw’abalwadde b’omusujja gwomubyenda ogwa Typhoid gweyongedde wano mu Kampala.
Ab’ebyobulamu okuva ku ddwaliro lya Kisenyi Health center 4 bategezezza nga bwebaafunye abalwadde abasoba mu 400 nga bateberezebwa okubeera ne typhoid.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr. David Sserukka agamba kati abantu abasoba mu 2300 bebalina ekirwadde kino mu Kampala.
Dr.Serukka agamba okuva bwekiri nti omusujja guno gweyongedde amanyi,…
Omuyimbi Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47 afudde.
Ono ye muto w’omuyimbi Jose Chameleone, nga yafudde yakatuusibwa mu ddwaliro lye Nsambya oluvanyuma lw’okugwa mu kinaabiro mu bbaala ya Dejavu e Kabalagala gy'abadde ne banne.
Akulira ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba Andrew Benon Kibuuka aagambye nti okufa kwa AK mawulire ga nnaku era ag'ekibwatuukira n'ategeeza nga bwebagenda okukwatagana ne…
Obwakabaka bwa Buganda bukakasizza abantu ba Ssabasajja Kabaka nti ekizimbe kya Masengere kigenda kumalirizibwa mu budde era kikwasibwe omutanda ku mazaalibwa ge
Ssabassajja agenda kuba aweza emyaka 60 egy’obuto nga 13 omwezi ogujja
Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti ebintu 98% eby’okuzimba ekizimbe kino biwedde era nga kati, basigadde kutereeza wamu nakwongera kuwunda kizimbe.
Walusimbi era…
Abasuubuzi mu katale ke Wandegeya basobeddwa oluvanyuma lw’okulonda kwabwe okulangirirwa nti kumenya mateeka
Ssentebe w’akatale kano Jonathan Gitta agambye nti bakyetegereza nkalala z’abasuubuzi okumanya abatuufu abaneetaba mu kulonda
Wabula bbo abasuubuzi abategese okulonda kuno bagamba nti bagaala kulonda bakulembeze baabwe abanabatwala okukoma okwegayirira abo KCCA beyabawa.
Okulonda kuno kubadde kutegekeddwa RCC Aisha Kabanda alagidde abasuubuzi okwewandiisa
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awadde poliisi okutuuka olwaleero okutwala mu kkooti abantu omukaaga abakwatibwa ku byekuusa ku kutta abasiraamu
Ku bakwatibwa kwekuli dereeva wa ambulensi ya Nambooze ng’ono ye Sheikh Abubaker Kayiwa.
Nambooze agamba nti banoonyezza buli wamu, abaakwatibwa nebababula nga batuuseeko ne mu malwaliro
Ono agamba nti kati bagenda kugenda mu kkooti okusaba nti…
Abakulembeze b’ennono okuva e Tororo balabudde poliisi ku ky’okukulembezaamu engeri y’okulwanyisaamu muliro mu kifo ky’okubawa ebisingawo ku kunonyereza
Okulabula kuno kukoleddwa katikkiro w’aba Japadhola bw’abadde mu kusabira abaafiira mu muliro ogwakwata kkampuni ya Crestfoam nga kuno kubadde ku kkanisa ya our Lady of Africa Church Mbuya.
Kiddiridde atwala poliisi enziinya mooto Joseph Mugisa okutandika okusomesa abafiirwa ku…
Bannayuganda basabiddwa okwewala okugwa mu mazambiolwo Katonda afune ekisa atonyese enkuba eggwanga liwone ekyeya ekikaabya abanji akayirigombe.
Bw’abadde akulembeddemu edduwa y’enkuba ku muzikiti gwe Kibuli disitulikiti Kadhi wa Kampala Sheikh Suleiman Ndirangwa ategezezza nga Katonda bw’ali omunyivu olw’ebikolwa by’obuli bw’ebisiyaga, ettemu erikyase, okusobya ku baana n’amazambi amalala
Ategezezza nti olw’obusungu bwa Katonda,enkuba ekyaganye okutonya kale nga edduwa…
Pulezidenti Museveni alumbye minisitule y’ebyobulamu olw’okulemererwa okuweereza bannayuganda mu ngeri ematiza
Pulezidenti okuboggola abadde aggulawo omusomo ku ngeri embalirira gy’etambuziddwaamu mu kitundu ekisooka eky’omwaka
Ono agambye nti yadde ebiruubira ebiweza ebitundu 68 ku kikumi bituukiriziddwa, minisitule eno esobodde kugema naye n’etalwanyisa bulungi ndwadde ndala naddala eziva ku bujama
Ono ategeezezza nga minisitule bw’erina omulimu okulwanyisa endwadde entono ezitta…
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga buli kyetaagisa mu kuddamu okutegeka okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri bwe kiwedde
Olunaku lwenkya akakiiko kano kaakutandika okusasanya ebikozesebwa mu kulonda nga era abesimbyewo tebalina kuddamu kunonya kalulu okusukka olwaleero.
Nga ayogerako eri bannamawulire amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu ategezezza nga bwebagenda okukkiriza abakiikirira eyesimbyewo 2 bokka buli…