Omu kubasajja abeetaba mu kutega bbomu ezatta abantu mu mwaka 2010 alumirizza banne bwebakola ekikola kino
Mohmood Mugisha bw’abadde asimbidddwa mu kkooti agambye nti basooka kutendekebwa abakambwe ba Alshabaab mu Somalia era ng’eno ategeezezza nga bwebaliiyo n’abavunaanibwa bana.
Ku b’asonzeemu kwekuli Habib Sulaiman Njoroge, Hussein Hassan Agade ne Mohamed Ali nga bonna banna Kenya kko ne munnayuganda…
Ba Imaam abasoba mu 600 basisinkanye akulira abakozi mu Kibuga Jeniffer Musisi okubaganya ebilowoozo engeri yokulakulanyamu abasiramu
Akualira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi asabye ba imam abeegattira mu kibina kyabwe ekya Islamic Preachers and Imams okukozessa emiwaatwa egiriwo benyigire mu byenkulakulana .
Wano Musisi awadde ebibina by'abasiramu mu division 5 obukadde 25 bazongere mu SACCO zaabwe bekulakulanye…
Palamenti mu ggwanga lya Tanzania eyisizza etteeka ekkakkali ku bantu abagwiira abakolerayo
Kkampuni kati kizikakatako okusooka okukozesa abaana enzaliranwa nga tebannalowooza ku bagwiira
Ababaka bagamba nti tekikola makulu omugwiira okuvuga baasi ate nga n’omuzaliranwa egisobola kyokka n’ammibwa omulimu
Okuwulira emisango gy’obutujju omwafiira abantu abasoba mu 70 nga 11th July 2010 kutandise mu kkooti enkulu.
Mahmood Mugisha y’asoose mu kaguli nga ono ye emisango y’agikiriza era ali ku kibonerezo kya myaka 5 mu kkomera.
Abavunaanwa bali mu maaso g’omulamuzi Owiny Dollo.
Ku bano kuliko bannakenya 7, omutanzania 1 ne bannayuganda 5.
Bano bavunanibwa emisango gy’obutemu,okugezaako okutta abantu, obutujju…
Entiisa ebutikidde abakozi wa kampuni y’abakyayina ezimba enguudo z’eggaali y’omukka eya Chinese Railways Constructions Engineering Group oluvanyuma lwomu ku munaabwe okufiira ku mulimu.
Peter Nabothi nga abadde muvuzi wakiloole afudde oluvanyuma lwakiloole ky’abadde avuga okumulemererwa n’agwa mu mugga Katonga nga guno gwawula disitulikiti ye Mpigi ku ssembabule.
Kampuni eno yeyapatanibwa gavumenti okuzimba oluguudo lwa kilomita 110 okuva…
W’owulirira bino nga okulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri kugenda mu maaso.
Abesimbyewo kuliko munna NRM Hajji Siraje Byavala , owa FDC Luba Bumaali, n’abesimbyewo kulwabwe alangalira Mwamadi, Simon Funa n’eyali omubaka wa Bukooli Abdu Nakendo.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lw’eyali ssentebe Marijani Azalwa,kkooti okumufumula lwamusango gwakukuba n’alumya gwebaali bavuganya mu kulonda kwa 2011 David…
Omusajja eyatemyeeko omuwala w’emyaka 12 omutwe azindukiriziddwa abatuuze nebamutta mu bitundu bye Kiboga.
Geoffrey Mubega atiddwa ku kyalo Buninga mu gombolola ye Rwamata oluvanyuma lw’abatuuze okumusanga n’ekiveera omubadde omutwe gw’omugenzi.
Omugenzi y’ategerekese nga Jayirisi Niwemurungyi muwala wa Patrick Byanywana ne Merabu Kyankazi, ku kyalo Rwomuriro mu disitulikiti ye Kiboga.
Taata w’omwana ono y’ategeeza nga muwalawe bweyali agenze ku…
Poliisi yewozezzako ku kyokujjawo poliisi positi eteekewo obuyumba obutali bwankalakalira .
Ssabapoliisi w’eggwanga y’ategezezza nga kino bwekyetagisa kubanga abaserikale balina batono sso nga n’enguzi esusse ku bu poliisi positi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba kino wabula ssi kyakukosa poliisi positi ezazimbibwa edda wabula tebaagala kutekawo mpya.
Enanga agamba polisi positi eziriwo mu kiseera kino zakusumusibwa…
Abantu abalala 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wali e Villa ku nkulungo y’oluguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Kino kyekifo kyekimu ewafiira abantu 5 mu kabenje akaabaddewo ku ntandikwa ya wiiki eno.
Akabenje kano kavudde ku baasi ya kampuni ya Global Coaches namba UAR 339M okuyingirira Dayana kabangali namba .UAW 409K.
Ekirungi dereeva wa baasi asobodde okugisiba…
Ekitongole kya Poliisi yokumazzi kitegezezza nga abantu abasoba mu 600 bebabbira mu bubenje mu mazzi mu myaka 4 egiyise.
Ebizuliddwa biraga nga 658 bwebaafa wakati wa January 2010 ne December 2014 nga abasinga bafiira mu lyato eryagwa mu mazzi e Ggaba neritta abasoba mu 200.
Amyuka aduumira poliisi yokumazzi Eng James Apora agamba obubenje bwokumazzi obusinga bwava…