Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Katemba ku DP- baganganye mu malaka

Katemba yeyolekedde ku kitebe kya  DP oluvanyuma lw’omu ku bakulembeze b’ekibiina kino okulumba abakulembeze ku kyayise okuddukanya ekibiina mu ngeri ya gadibe ngalye. Eyali ssentebe wa LC3 wano e Kampala Charles Musoke Sserunjogi  nga era ye muwandiisi w’ekibiina alumbye ekitebe ky’ekibiina nga awakanya ebyavudde mu lukiiko lw’abakulira ekibiina kino abokuntikko olwalbadde e Masaka nti lwabadde lumenya…

Read More

Hotloaf eggaddwa

Ab’ekitongole kya KCCA bagadde edduuka ly’emigaati erya Hotloaf  wali ku Duster Street. Edduuka lino liggaddwa lwakutunda migaati ne keeki enfu Abasirikale ba KCCA bazinzeeko ekifo kino nebatandika okukungaanya byonna byebakola nga bwebasuula mu biveera Wabula bbo abantu ababaddewo basabye abasirikale emigaati gino okugiwa abaana b'okunguudo kyokka nga bagaanye. KCCA ebadde eggala ebifo ebirimu obujama n'ebintu ebitatuukagana na mutindo

Read More

Okutyoboola eddembe ly’abantu kukendedde

Emisango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu gikendedde mu ggwanga. Kino kyeyolekedde mu  alipooota  efulumiziddwa akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga  nga era eraze nga emisango gino bwegyakendeera omwaka oguwedde nga gyali 3,904 bwogerageranya ku 4753 egyaliyo mu 2013. Emisango egisingamu okulinyirira eddembe ly’obuntu kuliko okutulugunya,okulagajjalira abaana, ssaako n’abantu okugalirwa mu buduukulu bwa poliisi okusukka essaawa 48 eziragirwa mu mateeka. Alipoota…

Read More

abayisiraamu bagumbye ku kkooti

Waliwo ekibinja ky’abayisiraamu abagumbye wabweru wa kkooti ye kololo ewavunanibwa banaabwe abaakwatibwa olw’abakulembeze b’abayisiraamu abazze batibwa. Kino kiddiridde abasiraamu nga bakulembeddwamu  Sheikh Yunus Kamoga okusaba kkooti ebalage sitetimenti ku misango egibavunanibwa ssaako n’obutambi bw’obujulizi ku misango gino. Nga bayita mu munnamateeka waabwe  Fred Muwema,abasiraamu bano bagamba nti obujulizi obwabatwaza mu kkooti enkulu tebulaga ngeri gyebazzamu emisango egibavunanibwa. Wabula…

Read More

Akabenje kasse basatu e Iganga

Poliisi etandise okunonyeraza ku kabenje omwafiiridde abantu 3 akawungeezi akayise wali e Iganga. Akabenje kano kaagudde kumpi n’omugga gwe   Nakalama oluvanyuma lwa taxi eyabadde edda e Busia okulemerera omugoba waayo n’ekuba akafunvu neyevulungula enfunda eziwera. Akulira poliisi y’ebidduka e Iganga  William Bariyo agamba akabenje kano kabaddewo wakati mu namutikkwa w’enkuba olwo dereeva wa  takisi nga takyalaba gy’alaga. Abafudde…

Read More

Omuvubi abbidde

Mu disitulikiti ye Buyende,waliwo omuvubi ow’emyaka 80 agudde mu Nyanja n’afa.   Musana Kwagala  omutuuze ku mwalo gwe  Iyingo  y’abidde nga agenze okukima obutimba obumenya amateeka bweyabadde akweese okuva eri ababukwata .   Eryato kw’abadde ayambulira liyuuze nerigwa mu mazzi.   Akulira eby’obuvubi mu disitulikiti eno  John Muwadi ategezezza ategezezza nga akabenje kano bwekavudde ku mbeea y’obudde embi era n’alabula abavubi…

Read More

Omusajja gwa Typhoid gutuuse e Maracha

Omusujja gwa Typhoid gwongedde okusasanira mu bitundu by’eggwanga ebirala. Abantu nga  311 bateberezebwa okubeera n’omusujja guno mu disitulikiti ye  Maracha . Akulira okulambula eby’obulamu mu disitulikiti eno  Rasul Jurua agamba omusujja gubakutte mu myezi 3 egiyise nga era batandise okwekenenya abatunzi b’emmere mu kutundu kino.   Ye akulira abakozi mu disitulikiti eno Francis Opolot, wano w’asabidde amaka gonna okusima…

Read More

Ssewanyana ayimbudde

Kyaddaaki kansala w’egombolola ye Makindye  Allan Ssewanyana ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 80 Abamweyimiridde 5 buli omu abadde wakakadde kamu ezitali zabuliwo. Ku lunaku olwokutaano ssewanyana y’agulwako omusango gw’okwogera kalebule ku kampuni ya betting eya Top Bet  nga bwebabba bakasitoma baayo wamu n’obutasasula bakozi baayo. Ssewanyana alagiddwa okudda mu kkooti nga  22 April mu maaso g’omulamuzi …

Read More

Eyatta omwana ku KCCA ajjiddwaako emisango

Ssabawaabi wa gavumenti ejjeyo emisango egibadde givunanibwa dereva wa KCCA eyadda emabega n’afotola omwana ow’emyaka ebiri n’ekitundu wali ku ofiisi za KCCA ku City hall. Ku ntandikwa y’omwaka guno KCCA y’aliyirira bazadde b’omwana ono n’obukadde 50 nga era maama w’omwana Madinah Namutebi  y’akola sitetimenti endala ejjayo omusango oluvanyuma lw’okufuna ensimbi zino. Munnamateeka wa gavumenti  Immacukate Nyambaju y’awaddeyo…

Read More

Abavubuka bakwatiddwa

Waliwo abavubuka  12 abakwatiddwa lwakwetaba mu misinde egyawereddwa poliisi. Bano bebamu ku begattira mu kibiina kyabwe eky’abavubuka abaavu nga babadde bategese emisinde egy’okutolontoka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Bano bayooleddwa okuva mu bitundu bya Wandegeya ne kabalagala . Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga  abavubuka bano bwebataasaba  lukusa kutegeka misinde gino nga ate   bazze…

Read More