Banalukala ba Al- Shabab bazzeemu okulabula nga bwebagenda okutigomya amawanga ga East Africa.
Mu kiwandiiko ekifulumidde ku mukutu gwa Al- Shabab, banalukala bano balabudde gavumenti ya Kenya nti abantu be basse babagulire keesi babaziike mangu, kubanga bagenda kutta abantu abalala.
Aba Al- Shabab era balabudde banansi ba East Africa obuteyibaala nti government zabwe zibawadde obukuumu kubanga bo…
Abasuubuzi mu katale ke Nakasero banyiivu olwakkooti okuyimbula abakulembeze b’akatale kano abatta munaabwe olw’empooza.
Kino kiddiridde omulamuzi Lillian Buchana mukifo ky’okubasomera ekibonerezo oluvanyuma lw’okubasingisa omusango gw’okutta mu butanwa ate okubayimbula balye butaala.
Omulamuzi Buchana agamba abavunaanwa bakkiriziganyizza n’abenganda z’omugenzi nebabaliyirira obukadde 10.
John Seruyinda eyali omusuubuzi mu katale kano yakubibwa ba sentala b’akatale kano n’afa lwampooza ya siringi…
Wabaddewo okusika omugwa ku kitebe kya KCCA ku city hall oluvanyuma lw’omuloodi wa Kampala Erias Lukwago okugaanibwa okuyingira.
Lukwago abadde agenze kwegatta kwabo abaanirizza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kusonda ettoffaali ku kitebe kino.
Lukwago abadde awerekeddwako omubaka wa Rubaga North Moses Kasibanti eyemulugunyizza ku nsonga eno.
Abantu 8 bafudde sso nga abalala 4 batuusiddwako ebisago ebyamanyi oluvanyuma lwabamukwata mundu okulumba yunivasite emu mu ggwanga lya Kenya.
Wabaddewo okuwanyisiganya amasasi ku yunivasite ya Garissa e Kenya nga amagye g’eggwanga gagezaako okulwanagana n’abakambwe abagambibwa okuwamba abamu ku bayizi.
Ssabapoliisi w’eggwanga lya Kenya Joseph Boinett agamba abalumbaganyi bano batuuse basasirabusasizi masasi mu lujja lw’ettendekero lino.
Boinett agamba…
Abantu 7 bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Namasoga ku luguudo lwe Jinja.
Akabenje kano kavudde ku Taxi namba UAN 119F eyingiridde ekimotoka ki lukululana.
Abafudde kuliko n’omwana ow’emyezi 3 nga bbo 10 babuuse n’ebisago ebyamanyi.
Munnamawulire Bbaale Francis afudde.
Bbaale Francis abadde musomi w’amawulire ku UBC nga era y’omu ku baludde ku Tv eno.
Omugenzi afiiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago ekirwadde kya kookolo wa kawago aludde nga amubala embiriizi.
Bbaale w’afiiridde nga atendeka abasomo b’amawulire omulimu gw’akoledde ebbanga okuviira ddala ku mirembe gya UTV.
Omusunsuzi w’amawulire ku UBC Juliet Nayiga ayongera okutunyonyola.
Omuntu omulala afiiridde mu mpaka z’okunywa waragi e Lwengo.
Gerald Kamulegeya akanuse oluvanyuma lw’okuwakanira eccupa za waragi 6 ku kyalo Kanoni.
Kigambibwa nti Kamulegeya abadde awunzika eccupa y’omukaaga n’atondoka n’afa.
Kitegerekese nti Kamulegeya ono okwetaba mu mpaka z’okwekamirira waragi alina ebbaala gyeyasoose n’ayiwamu obuccupa obuwerako.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi ategezezza nga nga bwebakyayigga nanayini…
Abakubi b’ebikonde n’abantu abalala abegattira mu kibiina kya Kampala Boxing Club bateekateeka kukwanga palamenti kiwandiiko okulaba nga enonyereza ku bigambibwa nti ekisaawe ky’e Nakivubo webasimbye amakanda kyaweereddwawo eri bamusiga nsimbi.
Wiiki eno omukulembeze w’eggwanga y’alagira minisitule y’ebyenjigiriza okukyuusa amanya g’obwananyini bw’ekisaawe kino okudda mu ga musiga nsimbi agenda okukulakulanya ekifo kino azimbewo amaduuka.
Akulira giimu ya Kampala…
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda ayongedde okuggumiza obukulu bw'ekisaakaate ekitegekebwa mu Buganda naddala ku mutendera ogw'amasaza ng'essira erisooka kwekunnyikiza empisa ez'omuganda ennono n'obuwangwa bw'abaganda.
Bino bibadde mu bubaka bwe bw'atisse omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Owek Nelson Kawalya bw'abadde aggulawo ekisakaate ky'amasaza ekyomulundi ogw'ekkumi wali ku matutuma mu ssaza lya Mukwenda e Ssingo ekiritandika nga 26…
Abasuubuzi mu Katale ke Wandegeya batanudde okwekalakaasa lwa kumala nnaku nga tebarina masanyalaze.
Bano bagamba baakamala ennaku 3 nga tebarina mazzi kati ate baabasazeko n’amasanyalaze embeera gyebagaanye okugumikiriza.
Bano balumbye ofiisi ya ssentebe w’akatale kano Jonathan Gitta nga baagala alekulire okujjako nga babadizzaako amasanyalaze.
kino kijjidde mu kiseera nga abasuubuzi bano baagala kutegeka kulonda bakulembeze baabwe nga balumiriza…