Entiisa ebuutikidde abatuuze be Bukasa kirinnya omuvubuka bweyetugidde mu nju ya maama we.
Stephen Kanamwanja asangiddwa ng’alengejjera ku kigoye ku muti gw’omunyumba.
Tekinnategerekeka lwaki omuvubuka ono yesse kyokka ng’abamu bagamba nti aludde ng’obulwadde bumukubye ku ndiri.
Omupoiisi eyatulugunya omusibe okutuuka okufa asibiddwa emyaka 10.
Robert Ojok asingisiddwa omusnago gw akutta muntu mu butanwa
Rogers Mugyenyi yakwatibwa ng’avuga atamidde kyokka nga yagezaako okudduka nga bamukutte
Ono bamugoba okutuuka ku mukwata olwo abapoliisi nebamuyiikiea nebatandika okumukuba era abasawo bamusnaga n’ebiwundu ebyamaanyi ku mutwe
Omulamuzi Monica Mugenyiagambye ni aba poliisi balina kukuuma beebakutte sso ssi kubatta oba kubalumya.
Kati ono ye obubbi abuveeko kubanga tabusobola.
Omubbi amenye enyuma yomutuuze omu mu gwanga lya Romania nayingira , wabula kappa nemukanga naalya kava wansi wekitanda.
Sempala ono atidde nyo nga alaba nga kappa egenda okumukwagula olwo nakuba omulanga nga omwaana omuto.
Takomye awo akutte esimu nakubira police ejje emutaase mu kappa eno gyaatya okufa.
Police olutuuse musajja wattu ono…
Bwoba omanyi nti oli diifiri wa mupiira nga omupiira ogufuuwa matankane, weegendereze.
Mu Indonesia omuzanyi womupiira akubye diifiri namujjamu erinyo lwakugaba penati mungeri yamncoolo.
Pieter Rumaropen, yaakubye diifiri Wasit Muhaimin enguumi olwobusungu lwakugaba penati era tiimu ye newangulwa.
Wabula ref naye tanywa guteeka, asoose kuwa muzanyi ono kaadi emyufu olwo nalowooza kukyokukwaata ku mumwa nga yenna abadde atiirika musaasyi.
Ekibiina…
Ababbi b'ennaku zino bagezi nyo.
Mu kibuga San Diego mu gwanga lya Amerika, omukazi akubye enduulu bwasanze kilo zenjaga 30 mu motoka ye ate nga siyeyazitaddemu.
Nakyaala ono aweza egyobukulu 33, yeewunyzizza oluvanyuma lwomusajja atanategerekeka okutandika okwepakulira ku motoka ye nga bwajjamu enjaga ate nga baabuwe ye yabdde mpaawo kyajimanyiko.
Ono yakubye enduulu eyasombodd e nabapolice abaasose okumunyweza…
Kyadaaki loodi mayor wa kampala saalongo Erias Lukwago ayise olukiiko lwabakansala olwokuna luno.
Ensonga eri ku mwanjo yeyokuteesa ku nsimbi meka aba tax zebalina okusasula eri KCCA buli mwezi oluvanyuma lwakooti okuyimiriza okusasila emitwaalo 12 .
Lukwago agamba alina esuubi nti baakutuuka kunzikirizignaya ku sente meka avatax bano zebalina okusasula.
Lukwago yamaze dda okuweereza ebaluwa eri bakansala bonna…
Omujaasi wa UPDF atiddwa lwankaayana za mukazi.
Abantu abatanategeerekeka bakakanye ku private Kabali Muzafalu, nebamukuba mizibu noluvanyuma nebamwookya ku kyaalo Kasoozo village mu district ye Mityana yena nasigala vvu.
Kigambibwa abantu abookezza omujaasi ono bakulembeddwamu Andrew Byamukama abadde alumiriza omujaasi ono okumwaagalira omukyaala.
Aduumira police ye Mityana kintu Henry agamba Byamukama Azenga yeewerera kabala okumutta lwakumwagalira mukazi.
Police yakutte…
Abesimbyewo kubukulembeze bwomuzanyo gwebikonde,bamaze okukola ebigezo byolulimi nga okulonda tekunabaawo.
Mubesimbyewo kubwa sentebe kwekuli Godfrey Nyakana ne Sam Lukanga era nga okulonda kuno kwalamukaaga lwa week eno nga 27th e Lugogo.
Ye Gulu Wassajja owa Kololo boxing club nga ono yemutabani womugenzi Ben Ggulu, teyafunye amuvuganya kukyobuwanika bwekibiina ekikulembera omuzanyo guno ogwebikonde mugwanga.
Terukyaali lugambo nti kampuni ya airtel eguze ginaawo wyamasimu eya warid telekom.
Bharti Airtel kati yaakugatta ku bakistooma baaayo obukadde 4.6 , obulala 2.8 obwa warid okuweza obukadde 7.4 .
Akulira ebyemirimu mu Airtel mu Uganda , Manoj Kohli, agamba kino kyebatuuseko kyaamanyi dala era nasuuubiza empeereza enungi eri bakasitoma.
Manchester United esitukidde mu kikopo kya pulemiya bw'ewnagudde omupiira gwaayo ye ne Aston Villa.
Robin Van Persie y'ateebye goolo emaze eggobe mu kibya nga kati yadde liigi ekyagenda mu maaso, omuwnaguzi yategerekese dda.
Guno mulundi gwa 20 nga United ewangula ekikopo kino.