Aduumira police mu kampala ne miriraano Andrew felix kawesi alagide bunambiro etendekero lye kyambogo okusazamu olukalala lwa abayizi 300 ababade balambikiddwa nga abataawa bisale
Nga ayogerako mu lukungaana olubadde wakati wabayizi kko nabatwala etendekero lino , Kaweesi agambye nti etendekero lirina okwekebejja amanya gano nga bava mwana ku mwana sso ssi kubatwalira awamu mu kirindi.
Kino kiddiridde…
Abano aba poliisi tebasangika
Devon and Cornwall bavude mumbeera nebawaaba omusango gwokubabira ebyokulya.
Ekyewunyisa ebyokulya bibadde mu kizimbe mwebakolera nebategeeza nga bwebalina okubeer abalambulukufu nga baloopa buli musango gugudewo.
Ababiri bano basoose kukola statement nga bawaaba nga bwebabiddwako ekyemisana kyaabwe era nga baagala okunoonyereza kutandike.
Wabula mukama waabwe abasekeredde naategeeza nga okunoonyereza ku bintu nga bino bwekutasoboka.
Asoose kubiyita byakusaaga,…
Mu Ukraine Namukadde 97, abadde alongoosa amadirisa atalantuse okuva mu dirisa erimu ku kaliana nasigala nga alengejja oluvanyuma lwokwekwata okugezako okutaasa obulamu.
Angela Artyomova alaze nti akyaayagala obulamu bweyekutte neyenyweeza nga omuvubuka nga bwakuba omulanga bamuyambe.
Abayise bebamuyambye nebakubira police enzinya mooto ezze okumutaasa.
Wabula abapolice bano beewunyizza obuvumu bwa namukadde ono oluvanyuma lwokulengejja okumala edakiika asatu ku…
Omukyala omukadde gwebalagidde okujja akagaali ke mu bimuli by’awaka yekalakaasizza ng’ayiwa ebintu bye byonna mu maaso g’enyumba
Omukyala ono Debbie Ballard wa myaka 47 agambye nti tajja kukkiriza kumuboola nga y’ensonga lwaki asazeewo okubalagako
Omukyal aono abadde agufudde muze okudda mu bimuli ebili ku kkubo n’asimba awo makanda abantu babadde bamukooye ng’abatambuze bagamba nti abamalako emirembe.
Olukiiko olutwaala…
Obadde okimanyi nti mafuta agassbwa mu mmotok aagasinag tegawera
Ab’ekitongole ekikola ku mutindo mu ggwanga bagamba nti amasundiro g’amafuta agasinga galian ebyuuma ebifu ebibala omufuulo.
Akulira ekitongole kino, Ben Mayindo agtegeezezza ababaka ku kakiiko k’ebybosuubuzio nga abaddukanya ebyuuma bino bwebabitigiinya okukkakkana nga babbye abanywa amafuta
Ono wabula agamba nti bongedde ebikwekweto okuwamba ebyuuma byonan ebikyaamu.
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi be kyambogo ababadde beekalakaasa
Bano nno babadde balumbye akola ng’amyuka akulira ettendkero era ng’emmtoka ye batandise okugiwandagazaako amayinja
Obuizibu bwonna buvudde ku ttendekero kufulumya lukalala okuli amannya g’abayizi abagambibwa okuba nga tebannaamalayo bisale.
Kuno kubaddeko n’abamalayo edda kko n’abasasulirwa gavumenti abasitukiddemu okwerwanako
Enteekateeka namutaayika enayamba abantu okwejja mu bwavu etongozeddwa
Enteekateeka eno etuumiddwa vision 2040 ekirambika nga bannayuganda bwebajja okuba nga bamaze okwejja mu bwaavu omwaka guno wegunatuukira
Gavumenti essira egenda kulissa mu kulima, okwongera ku masanyalaze n’okutumbula bannamakolero.
President museveni y’atongoezza enkola enteekateeka eno
Eyali akulira ekitongole ky'amaggye ekikessi Brig Henry Tumukunde aluyiseeko .
Ono yadde kooti yamusingisizza omusnago gw'okuvoola amateeka agatwala amaggye , emulabuddebulazi obutakiddamu era bw'atyo n'ayimbulwa
Ono abadde avunaanibwa olw'ebigambo byeyayogerera ku radio emu wamu mu kampala ng'alumba gavumenti gyeyaleeta mu buyinza okuva ku mulamwa,.
Eyali akulira ekitongole eikessi mu ggwanga Brig Henry Tumukunde singisiddwa omusnago gw'okumenya amateeka agatwala amaggye.
Kooti y'amaggye ekulirwa Brig Fred Tolit wabula amwejeredde ku misnago gy'okwogera ebya kalebule ng'oludda oluwaabi teluleese bujulizi bumala.
Omusnago ogumusingisiddwa gulina ekibonerezo kya kuwanikibw aku kalabba oba kugobwa mu maggye.
Kooti wabula tennalangirira kibonerezo ku musnago ogumusingiisddwa
Kkampuni y’omwenge mu ggwanga lya japan ekoze omwenge mu busa bw’enjovu .
Omwenge guno ekyewunyisa nti abantu bagugula ng’abawendule kumpi kugumala ku katale.
Omwenge guno guyitibwa Kono Kuro ekitegeeza kazambi
Abagunyweddeko bagamba nti yadde gukaawa, gulina engeri gyeguwoomereramu, olwo kagunywa n'afa obuwoomi.