Katikiro wa Buganda JB Walusimbi asabye abakulu b’ebika okukwongera okukunga bazukulu baabwe okusonda ensimbi ezokuzimba amasiro.
Katikiro okwogera bino abadde asisinkanye ab’ekikka ky’efumbe abawaddeyo ensimbi obukadde 13 eri omulimu gy’okuzimba amasiro ge Kusubi.
Katikiro agambye nti ensimbi yingi ezikyetagisa okudabiriza amasiro amalala nga age Wamala naye Abaganda babadde baddiriza mu kusonda ensimbi.
Abasajja abateberezebwa okubeera abazigu 2 bakubiddwa emiggo egibasse.
Bano babatidde mu bitundu bye Bukoto Ntinda enkya ya leero.
Ababiri bano babadde baliko omukyala gwebafera mu taxi ebadde ea e Ntinda okudda e Kigoowa
Abafere bano babadde batambuliraa mu taxi number UAJ 352F nga babba abasabaaze
Aduumira poliisi y’oku luguudo lwe Kira, Alex adunyu agambye nti omukyala ono akubye enduulu…
Abantu abasoba mu 100 beebasenguddwa okuva ku ttaka e Kiteredde mu district ye Mubende
Ettaka lino lyebabaddeko kigambibwa okuba nga lyagulwa naaggagga agambbibwa okugula ettaka lino mu myaka gya 60
Amyuuka RDC wekitundu kino Nalongo Tinkamanyire agambye nti bakyayogeraganyaamyu nebekikwatako okulaba engeri gyebayinza okuyambamu abantu bano kyokka ng aye agamba nti ssibakusegukaa
Abantu baano nno bagobedddwa yadde nga…
A bayizi ba Brilliant high school bakyali mu kiyongoberwa olwa munaabwe eyetuze.
Tutuseeko ku somero lino elisangibwa e Kazo ng’abayizi nabasomessa bakyali mu kiyongobero olwo muyizi wa siniya eyomukaaga okwetuga mu ngeri eyatategerekesse.
Polisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku kiki ekyaviriddeko omwano ono okwetuga.
Joseph Mukisa yasangidwa nga yetugidde ku muti mu luggya lw’essomero olunaku lwagyo.
Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu katale k'omu Nyendo bakedde kweyiw aku makubo nga beekalakaasa lwa kasasiro.
Embeera embi eluguudo lwe Nyendo -Kitovu nalypo bagamba nti luli mu mbeera mbi.
Poliisi wabula yitiddwa bukubirire era n'ekuba omukka ogubalagala mu basuubuzi bano ababadde bamaze okussa emisnavu mu luguudo luno.
Omulambo gw'abadde minister akola ku bigw abitalaze, Stephen Malinga gutuusiddwa ku lukiiko olukulu olw'eggwanga
Guno gukwasiddwa amyuka spiika Jacob Olanya ne minister w'ebyokwerinda, Dr Crispus Kiyonga.
Abantu abatali bamu okuli abakungu mu gavumenti, n'abalala omuli n'bantu ba bulijjo beebasuubirwa okukuba eriiso evvanyuma ku mugenzi
Ababaka olwaleero lwebagenda okusiima emilimu omugenzi gy'akoledde eggwanga
Malinga wakuziikibwa mu maka ge e Butebo…
Abavubuka abatambula nga basagazza empale nebalaga obuwale bw’omunda basaanye okuwulira bino
Mu America u ssaza lya Lousiana omuvubuka yenna anasangibwa ng’alaze ekawale k’omunda wakusasula
Essaza lino liyisizza etteeka lino olunaku lwaleero ng’analimenya wakusasula emitwaalo 15, singa omuntu addamue ensobi eno esasula emitwaalo 30 ate nga ssinga akiddamu owgiokusatu akola bulungi bwa nsi okumala essaawa 16
Abasiba balance eno…
Munnascience okuva mu ggwanga lya Bufaransa amaze emyaka 16 nga yetegereza obuleega bwa bakyala agamba nti tebulina mugaso
Ono yetegerezza amabeere okuva u bakyala 30o abali wakati w’emyaka 18 ne 35
Agamba nti okwambala obuleega kisagaza amabeere era ng’abakyala bandibadde batandika okweyagalira mu kutambula nga tebaleeze
Abantu 6 balumiziddwa mu kabenje akaguddewo amakya gaalero oluvanyuma lwa trailer okutomeragana na taxi ku luguudo oluva e Jinja okudda e iganga.
Dereva wa Taxi number UAS 121 abadde agezaako okuyisa trailer KAV 900 x emmotoka nemulemerera n'eva ku luguudo neyevulungula enfunda eziwera.
Aduumira police e iganga caroline Akoth agamba akabenje kavudde kukuvugisa kimama.
Akabenje kano kaddiridde ate…
Poliisi ekutte abasajja kkumi n'omu ababadde babba emmotoka n'e piki.
Ekibinja kino ekikulemberwa, Ronald Kimera kyasangiddwa n'emmotoka mukaaga kko ne piki 17
Aduumira poliisi ye Katwe, Michael Mubangizi agamba nti bano beebamu ku gubinja ogunene ogukuba aba bodaboda obutayimbwa nebakuulita ne piki zaabwe.
Bano nno buli lwebabadde bamala okunyagululula nga basaddaaka ebisolo mu ngeri y'okujaganya.