Bannakampala bawereddwa amagezi owkewala okunywa amazzi g’emidumu
Kiddiridde okunonyereza okwakoleddwa okuzuula nti enzizi ezisinga zikubyeeko kazambi ava mu kabuyonjo zamazzi.
Owmogezi wa KCCA Peter Kawujju afgamba nti bakyalwana okulongoosa amazzi gano kyokka nga mu kadde kano abantu bandibadde bagesonyiwa
Omujaasi eyatta abantu mu bitundu bye Bombo bamuzizza mu bantu gy;agenda okuwozesebwa
Kooti y’amaggye ekulirwa Brig Fred Tolit kati yakutuula mu kibuga bombo okuva ku lunaku lwa bbalaza ng’ewozeseza omujaasi ono
Patrick Okot yasasirira amasasi mu bantu abali mu kinyweero e Bombo okukkakkana ng’aseeko 10 n’abalala nebagenda n’ebisago.
Avunaanibwa emisango gyakutta abantu , okugezaako okutta abalala, nokujajaamya emundu
Embeera yo muyimbi Martin Angume eyongedde okweralikiriza.
Okusinzira ku mukyala we ali mudwaliro ekulu e Mulago Julie Ssemugga abasawo bamukebedde nga ekibumba kiri mu mazzi wamu n’ensigo ze ndwadde.
Mu kiseera kino Angume takyasoboola kulya bulungi wadde okutambula era nga mukyala we asambye abawagizi bbe okwongera okumusbaira n’asaba abantu okukoma okumubika.
Omwana ow’emyaka omunaana agudde mu tanka n’afiiramu.
John Luyimba abadde muyizi ku ssomero lya Lwankoni primary school e Rakai.
Omwana ono ssenga we abadde mutumye kukima mazzi bw’abadde yakadda ku ssomero ku ssaawa munaana ez’emisana
Omwana ono asoose n’aleeta ekidomola ekisoose kyokka ng’ekyokubiri tasobodde kukireeta era ssenga we abadde ayoza engoye bamukimye lubaluba ng’omwana afudde
Ababaka okuva mu kabondo k’ababaka abava mu Buganda bakkiriziganyizza okusooka okwebuuza ku bantu ku ky;okuzza ebintu bya Buganda ebili mu mikono gya gavumenti.
Okukkaanya kuno bakutuseeko mu kafubo keebabaddemu ne kamala byonna wa Buganda eng JB Walusimbi
Ababaka bano nga bakulembeddwa Godfrey Kiwanda agamba nti bakutambula mu bitundu ebitali bimu nga n’enteseganya nga zikulembeddwaamu amyuka omukulembeze weggwnaga…
Ekirwadde ekiteeberezebwa okubeera kkolera kizinzeko district ye Hoima nekireka nga 3 bafu.
Abafudde kuliko Moses Olindi 48 years, Phoebe Nambasi, 4years old and an eight month-old baby.
Akulira ebyobulamu mu district eno , Dr Fredrick Dinume akakasizza bino nategeeza nga nabalala 14 bwebali mumbeera embi.
Ategeezezza nga bwebaategeezezza edda ministry ekola ku byobulamu nga yatandise dda okwekebejja abalwadde..
Emiruka…
Omusajja abadde avuga ammotoka n’agitomeza akimazeeko abasilikale bw’abategeezezza nga bweyawuguddwa n’ava ku motoka oluvanyuma lw’okulaba amabeere g’omukyala omulala mu mmotoka
Omusajja ono agamba nti omukyala yabadde apise ebbeere nga yatendewaliddwa n’atandika okumira omugandaa era okukkakna ngatomezza emmotoka
Poliisi etuuse awabadde akabenje n’etasangawo mukyala ayogerwaako olwo nayo nebigisobera
Okunywa ekikopo ky’omubisi oguddwa mu kimmonde ekimanyiddwa nga beetroot kiyamba okussa pressure.
Omuntu okufunamu anyway mls 250 era ng’okugezesa kuno kwakoleddwa ku baalwadde ba pressure 15
Omubisi guno gukolera awo nti omuntu mu saawa mukaaga aba afunyeewo enjawulo.
Ababaka abagobeddwa mu kibiina kya NRM bagaanye okwetonda nga bwebasabiddwa ekibiina kyaabwe bwebaba nga bakuddamu okwanirizibwa
Bano boogeddeko eri bannamawulire olwaleero nebategeeza nga bwebatajkjja kusirika kubanga baliwo ku lwa bantu
Ababaka okubadde Theodore Sekikuubo, Wilfred Niwagaba ne Bernabas Tinkasimire bagamba nti eky’okubagoba ssikyamumalawo bizibu mu kibiina kyaabwe
Ate bbo ab’ekibiina kya DP baniirizza ababaka bano abagobeddwa okubegattako mu…
Nabagereka wa Buganda Sylivia Naginda, asabye abakulembeze ab'ennono, okwenyigira obuterevu mu kulwanyisa obulwadde bwa siliimu, naddala okuva ku ba maama okudda ku baana.
Binio Nabagereka abyogeredde mu Lubiri e Mengo bwabadde atongoza kaweefube w'okulwanyisa akawuka ka siliimu okuva ku ba maama okudda ku baana.
Agambye nti ab'amagombolola, amasazza n'abakulu b'ebika, balina okukubiriza abantu owekebezanga omusaayi, nn'abasajja okukomolebwa.
Kino…