Poliisi etandise okunonyereza ku muyizi akedde okwetugira ku ssomero.
Joseph Mukisa ng'abadde mu siniya y'omukaago yeyimbyeemu ogwa kabugu era ng'asnagiddwa ng'alengejjera ku muti mu ssomero.
Omuyizi ono owa Brilliant High School e Kazo teknnategerekeka lwaki akoze ekikolwa kino kubanga tewali kabaluw akonna kamusnagiddwaako
Omwogezi wa poliisi mu kampala n'emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti bakunonyereza okukakasa oba omuyizi ono…
Ababaka abagobeddwa mu kibiina kya NRM bakubye ababakulira obulatti
Ababaka bano bagamba nti eky'okubagoba tekigenda kumalawo bizibu bya kibiina okujjako okubisajjula
Omu ku bano ye mubaka Mohammed Nsereko agamba nti ssi besoose okugobwa era nga bakutandika obulamu obulala yadde nga tayogedde oba anegatta ku bavuganya oba okutandika ekibiina ekikye.
Nsereko ne banne abakazibwaako erya Kiwagi bagobeddwa lwakwawukananga ku…
Abantu babiri baafiruiddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku Frobil ku luguudo oluva e Bukoto okudda e Ntinda
Akabenje kano kabaddewo enkya ya leero omugoba w'emmotoka kika kya Nadia no. UAN 597S bw'ewabye n'etta abatambuze babiri
Abagenezi tebategerekese mannya kyokka nga basajja abateberezebwa okubeera wakati w'emyaka 30 na 40.
Akulira entambula y'ebidduka ku poliisi ye kiira Steven Ssande agamba…
Ofiisi za Poliisi e SSembabule zigaddwa lwa butasasula nsimbi za bupangisa
Poliisi eno ku kyaalo Kyabi , lugusulu mu district ye Ssembule ebanjibwa obukadde kkumi na bubiri n'ekitundu .
Mu mwaka gwa 2008, aba poliisi baliko okukkaanya kwebatuukako ne Veronica Olikiriza ne Yasin Ssekalala nga poliisi elina okusasula obukadde 2. n'ekitundu buli mwaka kyokka nga bano tebasasula…
Abadde agufudde muze okumenya amayumba g’abagenze okukola agudde ku kyookya.
Olwaleero tebimugendde bulungi bwebamukutte lubona ng’aliko byamaze okusiba
Akwatiddwa ye Richard Mukasa ng’abadde amaze okusiba akasawo k’omukazi, bedcover, emizindaalo, ne CD za filimu
Omusajja ono poliisi egenze okumuggya ku batuuze ng’asigaddemu kikuba mukono.
Kyokka omusajja ono akatiddwa yye agamba nti mutembeeyi nga waliwo munne abadde amukwasizza ebintu.
Abamu ku ba…
Abadde yeeyita owa Iso ng'ayagala okufere owa mawulire atulukukidde amaziga ku poliisi ng’agamba bamuwaayirirza
Ono obwedda akaaba nga talina katambaala amazeemu aba poliisi enseko bwa’ategeezezza nga bwabadde talina musango.
Ekyewunyisa nti omusajja ono agaambye okwogera amannya ge yadde ekimukwatako ekyongedde okukakasa poliisi nti mubbi.
Oc wa poliisi ye kanyanya Mathius Turyasingura agamba nti omusajja ono bagenda kumuggula ko…
President wa bamusaayi muto ba DP omulonde, era nga ye mubaka we Luweero Omukyala Brenda Nabukenya akwatiddwa
Nabukenya akwatiddwa wamu n'omwogezi wa DP Kenneth Paul Kakande, councilor Kataabu n’abalala abatannamanyika muwendo.
Bano okukwatibwa babadde boogerako eri bannamauwlire nga bafulumya olukalala lwabakulembeze abaggya beebalonze
Abavubuka bano beebamu babadde babagaanye okugenda mu maaso n'okulonda kyokka nga bategese okulonda okwamangu ku…
Ono omusajja asobola .
Oluvanyuma lwamukyaala we gwebabadde baakawukana naye ebbanga ttono emabega okumweera enyumba yonna obutamulekera kantu konna, semaka ono atadde ekipande ekinene wabweeru w'enyumba ekirangira nakyala ono obubbi.
Robin Baker nga muvuzi wabiloole mu kibuga Leicestershire yakoze kino naalangira omukyaala ono nga bweyamumegga mu kooti ku musango gwokwawukana era nalabula nabasajja abayinza okwegwanyiza omukyaala ono nti…
Ddala kafeero eyayimba nti eyayiiya omwenge asobola mutuufu kubanga gwo tegumanya oba oli musirikale oba nedda.
Munamaggye mu ggwanga lya Russia akwatiddwa n'aggalirwa lwakutomeza motoka yamaggye nga atamidde.
Musajja mukulu ono Ryazan's Margelov waakuvunaanibwa mu kooti yamaggye oluvanyuma lw'okwekatankira ebbidde ate neyepanka kunkata mbu navuga.
Ono yatomedde nekibanda kya cinema ekyabadde okumpi lwatamiiro.
Musajja wattu ono yagenze okudda engulu…
Obwa kabaka Buganda busabye abantu naddala ababeera mu Kisenyi okwekebeeza abawuka ka sirimu ne kokoolo ku bwereere mu lubiri lwa Ssabasaja okutandika nga 9- 12 omwezi guno.
Minister wa Buganda ow’ebyobulamu Nelson Kawalya agamba nti enteekateeka eno yakuyamba abantu okumanya webayimiridde mu bulamu bwaabwe.
Kawalya agamba nti era bagenda kujanjaba nendwadde endala omuli akafuba, omusujja wamu nokukomola…