Bya Damalie Mukhaye
Okufulumya ebigezo ebyakamalirizo ebyomwaka 2020 ebyekibiina kya P7 kukyali mu lusuubo, oluvanyuma lwentekateeka okugotanyizbwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Ekitongole kyebigezo mu gwanga Uganda National Examinations Board baali bategese okufulumya PLE wiiki eno nebya S4 omwezi ogujja wabula olwomuggalo ogwennaku 42 kirabika tekijja kusoboka.
Omwogezi we’kitongole kuebigezo, Jenipher Kalule agambye nti bakyasobeddwa tebamanyi kigenda kuddako.
Kinajjukirwa nti…
Bya Ivan Ssenabulya
Okulabikako kwomukulembeze we’gwanga ku lukungaana lwa World Health Summit e Munyonyo olunnaku lweggulo kwasirizza banna-Ugandan ku byabadde bigambibwa nti mulwadde.
Olunnaku lweggulo abantu ku mitimbagano basiibye babyogera nti Museveni yalwadde ssenyiga omukambwe era nebamuddusa mu kibuga Nairobi e Kenya okufuna obujanjabi.
Mu kusooka nga Museveni tanatuuka e Munyonyo, omuwandiisi womukulembeze we’gwanga kubyamwulire Linda Nabusaayi yayise…
Ivan Ssenabulya
Ssenkulu wekitongole kyebyobulamu munsi yonna, ekya World Health Organization nga ye Dr. Tedros Adhanom alaze obwetaavu eri amawanga ga Africa okuteeka ssente mu ntekateeka zokukola vaccine ezaabwe nebikozesebwa ebiralala mubujanjabi.
Kino agambye ni kyekyokuddamu eri emiwaatwa n’obutali bwenkanya ebyetobese mu kubunyisa eddagala erigema ssenyiga omukambvwe.
Bino yabyogeredde mu lukungaana olwa 2021 World Health Summit Regional Meeting…
Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni ayambalidde abazungu olwobutali bwenkanya obwetobese mu kubunyisa ddagala
Bwabadde aggulawo olukungaana olwa 2021 World Health Summit Regional Meeting ku Speke Resort e Munyonyo, Museveni mu bukambwe obwekitalo yagambye nti bezza eddagala, okuleka abaddugavu bafe.
Kino yagambye nti ssi kirungi wabula nagamba nti kigenda kuzukusa abaddugavu batandike okukukola ku bizbu byabwe…
Bya Barbra Nalweyiso
Abatuuze abawangaalira okumpi ne’dwaliro ekkulu e Mityana balabye amawano, abantu bwebanawuse nebabasuulira omulambo, mu keesi.
Omugenzi ategeerekese nga ye Kalule Eriyazaali yafiridde ku myaka 70 ngabadde mutuuze we Bufuuma mu Gombolola ye Kalangaalo e Mityana.
Kitegezeddwa nti ono yafudde kirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19, yafiridde mu ddwaliro lye’Ntebe.
Ekinawuudde ab’oluganda lwe okusuula omulambo gwe mu kkubo…
Bya Ivan Ssenabulya
Akulira eddwaliro lya Nakifuma Health Center 111 mu tawuni kanso ye Nakifuma-Naggaalama mu disitulikiti ye Mukono Mustafah Kayondo agamba nti mmotoka kika kya’gafa-e-Mulago tezimala okutambuza abantu okubajja mu byalo.
Mmotoka zino zezitekeddwa okutambuza abalwadde naddala aba ssenyiga omukambwe okubatuusa ku malwlairo amanene, wabula ntono mu disitulikiti yonna.
Kayondo agambye nti kibawaliriza abalwadde abali mu mbeera embi…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyamazzi mu gwanga, National Water and Sewerage Corporation kikaksizza abantu mu bitundu bye Kyanja, Kisaasi, Ntinda, Kireka, Naguru nebyetoloddewo nti bagenda kuddamu okufuna amazzi.
Ebintu bino bimazze ennaku nga tebalina mazzi.
Kati bategezezza ngabakugu baabwe bwebali mu ntekateeka ezisembayo okumaliriza essunsuliro lyamazzi era Mukono-Katosi, basobole okwongera ku bungi bwamazzi mu Kampala nemirirwano.
Olunnaku lweggulo aba…
Bya Moses Ndhaye ne Ivan Ssenabulya
Ebitongole ebitakabanira ensonga z’ebyobulamu, bagamba nti waliwo obwetaavu okufuna amateeka aganakuuma abalwadde obutabbibwa ebisale ebisukiridde mu malwaliro agobwannanyini.
Ssenkulu wekitongole kya Centre for Health, Human Rights and Development Moses Mulumba, agambye nti waddenga egwanga lirina ebbeetu lyebyenfuna obwetaavu webauli ekisaawe kyebyobulamu okutunulirwa mungeri eyenjawulo kubanga abamu tebasobola bisale byabunajbabi ekibaviriko okufa.
Bano…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi eyobutonde bwensi eriko ebikwekweto byebakoze mu district ye Wakiso ng batalaze entobazzi eziwerako ngeno basanze ngabantu bangi abezesensanzaamu.
Bano babadde bazesenzaamu nga nabamu baimiramu wabula mu bukyamu.
Bano babadde bakulembeddwamu amyuka akulira ebikwekwekweto Exevius Ssekanabo.
Abamu ku batuuze bavumiridde ekikolebwa gavumenti okubagobaganya atenga abanenene naddala abasiga nsimbi abaChina tebakwatibwako nga basnyawo entobazi.
Bya Ivan Ssenabulya
Abakulembeze mu ggombolola ye Mpatta ne poliisi bali mu kattu oluvanyuma lw’okubagoba mu kizimbe mwebabadde bakolera oluvanyuma lwokulemererwa okusasula ssente z’abumpagisa.
Ekitebbe kyegombolola ne polisi babadde bapangisa ku kizimbe kimu, emitwalo 25 buli mwezi wabula bamaze ebanga nga tebasasula kati babanjibwa obukadde 3.
Mohamed Kasamba nanyini kizimbe afumudde ssentebe we’gombolola omugya Joseph Kimbugwa Mande, omumyuka…
