Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Baabano abasobya ku mukomusirikale wa poliisi

Bya Ruth Anderah Abasajja 2 basindikiddwa mu kkomera e Luzira bebakeyo emyaka 6 n'emyezi 6 buli omu, olwokukaka mukyala womusirikale wa poliisin omukwano. Tom Olupot ne Joseph Monika nga bombi batuuze be Kiswa Bugolobi mu Kampala baalabiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo eyabasingisizza omusango. Omukyala yogerwako gwebakaka omukwano, wa myaka 22 ngomusango…

Read More

Omugoba wa Bobi Wine bamusse

Bya Benjamin Jumbe Poliisi egamba nti etandise okunonyereza ku ku byabaddewo mu kufundikira campaign mu munispaali ye Arua akawungeezi akayise, omwafirirdde omuntun omu, bweyakubiddwa amasasi. Amawulire galaze nti omugoba we mmotoka yomubaka Robert Kyagulanyi, nga ye Yasin Kawuma yakubiddwa amasasi, bwebabadde ku lukungaana lwa Kassiano Wadri Omubaka Kyagulanyi yabadde mu kitundu kino nganonyeza wadri akalulu eyajidde kubwanamunigina, atenga…

Read More

Entebe taata asse mutabaniwe.

Bya samuel ssebuliba. Police wano e Entebbe ekutte munansi wa Rwanda nga ono kigambibwa nti akidde omwana gwazalira dala ow'emyaka etaano namutta Akwatidwa ye Pierre Pauline ow'emyaka  43, nga ono kigabibwa nti oluvanyuma lw'okufuna okunyigirizibwa mu by'ensimbi akidde mutabaniwe n'amutta nga ono ye  Baptist Byamukama. Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire, agamba nti ono okukola kino amaze…

Read More

Eyaganza omwana wa mwanyina akaligiddwa.

Bya Ruth Anderah. Omuvubuka ow’emyaka 19 awereddwa ekibonerezo kyakukola busibe mu komera e Luzira okumala emyezi 3 lwakuganza mwana wamwanyina ow’emyaka 10 gyoka. Kalifan Ramadhan nga mutuuze we Nabweru esibiddwa  omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo, nga ono amuwadde ekibonerezo oluvanyuma lwa ye kenyini okukiriza omusango guno. Kigambibwa nti omuvubuka ono omwana gwe yali aganzizza…

Read More

Aba yinsuwa bagenda kusiima omugenzi Ssebaana kizito.

Bya  Ndaye Moses. Abakola ku bya Insurance bategeezeza nga bwebategeseewo omusomo ogw'enjawulo nga muguno mwebagenda okujukirira eyaliko mayor wa Kampala , naavuganyako ne kubwa president  John Ssebaana Kizito kaakano omugenzi. Twogedeko n'akulira olukiiko olufuga Insurance Institute of Uganda Solomon Lubondo naagamba nti basazeewo okujukira Ssebana Kizito  kubanga yakola kinene okulaba nga insure zikula mu Uganda Ono agambye nti…

Read More

Okuyigga akalulu mu Arua Kukomekerezeddwa.

Bya Samuel ssebuliba Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi akalaatidde abantu be Arua municipality okwanguwa okukola okusalwo ku muntu gwebagenda okulonda, kubanga akadde kawedeyo. Ono abyogerede mu Arua bwabadde yegasse ku Casiano Eziat Wadiri agidde kubwanamunigina okuyigga akalulu. Ono agambye nti akalulu kano kayinza okubayita mungalo singa banaamala nebalemwa okukaanya ku mulwanyi omu gwebalina okusimbawo Ate kuludda lwa NRM…

Read More

Abe Kayunga bagenze okunoonya abaabwe abandiba nga baasadakibwa

Bya Eria Lugenda Abatuuze okuva mu district ye Kayunga nebitundu byeggwanga ebyenjawulo na buli kati bakyesomboola okugenda ku kyaalo Kisoga mu gombolola ye Nazigo okulaba oba banaazuula abantu baabwe abagambibwa okuba nti baabula mungeri etategeelekeke. Kino kiddilidde esabo lyomusamize Owen Ssebuyungo okusimulwaamu ebisigalira byabantu 5 ekikwekweeto ekyakoleddwa  abekitongole kya CMI nga bali wamu ne police ye Nagalama. Omu ku…

Read More

Mabiriizi agenze mu kooti mu butongole

Bya Ruth Anderah Hassan Male Mabirizi ataddeyo ensonga ze, mu butongole zonna zeyemulugunyako mu nnamula yomusango ogwokuja ekkomo ku myaka, mu kooti ejjulirwamu e Kololo. Mabirizi awakanya ennamula ya kooti eya Ssemateeka , eyakiriza ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Mabirizi ataddeyo ensonga eziwerako mu buwandiike olutagajjo nemizingo gyempapula 692. Kati ono ategezezza banamwulire, nti buli kimu ekyetagisa…

Read More

Abavubuka mulwanirire Namulondo

Bya Ivan Ssenabulya Ssabasajja Kabaka ajjukizza Obuganda, nti bugwana okubeera obumu okuklola kulwebiseera bya Buganda ebyomumaaso. Omutanda emisana ga leero agauddewo olukiiko lwa Buganda olwomulundi ogwa 26, e Bulange Mnego. Ajjukizza abantu be nti era bagwana okufumintiriza ennyo ku bubaka bwa Jubileo. Omutanda yavumirirra enguzi nomululu, nti byebizizza ensi emabega, nga buvunayizibwa bwa gavumenti na buli omu okulwanyisa ebikolwa…

Read More

Museveni, Besigye ne Bobi-Wine bolekedde Arua

Bya Shamim Nateebwa Ssentebbe wekibiina kya National Resistance Movement era omukulembeze we gwanga, Gen.Yoweri Kaguta Museveni olwaleero asubirwa amu munispaali ye Arua okunonyeza munakibiina, Nusura Tiperu akalulu. Okusinziira ku ssbawandiisi wekibiina kya NRM Justice Lumumba Kasule, president Museveni agenda kwogerera mu nkungaana 2, mu Division2 ezikola essaza lino okuli e Arua Hill ne River Oil. Abakulu mu kibiina…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play