Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kya KCCA kitegeezza nga bwekimaze okubagga entekateeka egenda okuyitwamu okutangira ebigwa tebiraze mu kampala, nadala amataba.
Bwabadde ayogerera mu lukiko lwabakwatibwako ensonga, akulira emirimu gyekikugu mu Kampala Jenipher Musisi agambye nti ebigwa tebiraze ng’amataba, okugwa kwebizimbe, omuliro, mutenza gulu n’ebirara biyuugumizza Kampala, wabulanga mpaawo ngeri yonna gyebiyinza kutangiramu.
Ono agamba nti mu banga ettono,…
Bya Ruth Anderah
Abayizi 4, abamu ku bagobeddwa ku ttendekero e Makerere olwokuwakanya enyongeza yebisale eye 15%, olwaleero baddukidde mu kooti enkulu mu Kampala nebekubira enduulu, nga bagala badizibweyo ku ssomero.
Wiiki eno omumyuka wa ssenkulu we Makerere, Prof. Bananas Nawangwe yakagoba abayizi 5 nga babalanga okukuma omuliro mu banaabwe obutasasula bisale.
Kati 4 abaddukidde mu kooti kuliko…
Bya Kyeyune Moses
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde kalaani wa palamenti, Jane Kibirige okukola entegeka okulangirira ekiffo kyomubaka wa Sheema North nti kikalu.
Kino kidiridde, abadde omubaka wekitundu kino Dr Elioda Tumwesigye, okulekulira bweyawangudde ekiffo ekiralala mu palamenti ngomubaka wa munisipaali ye Sheema.
Bino abyogedde akakwungeezi kano bwabadde akakasa, nga Dr Tumwesigye bweyalekulidde.
Dr. Elioda Tumwesigye era olwaleero…
Bya samuel ssebuliba.
Ministry ekola ku by’obulambuzi ategeezeza nga bw’egenda okuvaayo n'enkola enungamu enaayitwamu okumalawo okusika omuguwa wakati w'ebisolo eby'omunsiko ko n'abantu ababeera okumpi namaka gaabawansolo bano.
Bino bigidde mukaseera nga abantu b'eNamayingo bakaaba olwa goonya eziggudde olutalo ku bantu beeno.
Bwaadde ayogerako eri palament akawungezi akayise, minister omubeezi akola ku by’obulambuzi Godfrey Kiwanda agambye nti balina entekateeka…
Bya Magembe sabiiti.
Mu district ye kasanda ku kyalo Ndimulaba mu gombolola ya Kiganda abatuuze bagudemu ekyekango bwebazudde omulambo gwa mutuuze munabwe eyabula enaku 3 eziyise nga gusuulidwa mu Dam ya mazzi.
Omugenzi ategerekese nga ye Ndayambazi Ronald myaka 37 ng'omulambo gwe gulabiddwa omutuuze Ssekyolo Joseph atemezza ku police okuva mu Kiganda nenyululayo omulambo guno.
Omwogezi wa police…
Bya Abubaker Kirunda.
Wano e jinja waliwo abanyazi abalumbye ekifo omunsulirwa omuceera okukakana nga balese baseeyo omuntu.
Eno enjega ebadde wano e Walukuba-Masese Division ku kampuni eya Obk rice millers limited
Attidwa ategerekese nga Binasali Kaweesi nga ono abadde akola gwa kukwata ensimbi, nga ono alumbiddwa abanyazi ab'emundu 2 ne bamukuba amasasi agamusse
Aduumira police yeeno Vincent Irama agamba…
Bya Samuel ssebuliba.
Police wano mu Kampala ekutte abantu 24 nga bano bateberezebwa okubeera ku kibinja ekirudde nga kiriisa bana kampala akakanja nadala wano mu masekati ga Kampala.
Bino bigidde mu kaseera nga abantu bakaaba olw'okubibwako amasimu gaabwe naddala wano ku Nakivuubo Channel, Dewinton Road, Plaza Mall newalala.
Luke Owoyesigyire nga ono yayogerera police mu kampala n'emiriraano agamba …
Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we gwanga lya Democratic Republic ya Congo Joseph Kabila ssi wakuddamu kwesimbawo ku kisanja ekyokusatu, okusinziira ku mawulire omwogezi we gafulumizza.
Kati ono awanze eddusu ku minister we owensonga zomunda amu gwanga, Emmanuel Ramazani Shadary okuvuganya.
Ekisanja kya Kabila ekyokubiri, kyagwako mu mwaka gwa 2016, wabula okulonda nekutabaawo ppaka kati olwe bbulya lyensimbi.
Era wabaddewo…
Bya Benjamin Jumbe
Abalimi ba kasooli mu gwanga basabiddwa obutakiriza basubuzi kugula kasooli waabwe, ensimbi ezikka wansi wa 500 kiro.
Olwaleero minisita webyensimbi Matia alangiridde nga entekateeka ya gavumenti, bwetandise okuyamba abalimi, oluvanyuma lwa kasdooli okukkak okutuuka ku nnusu 200.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku media centre mu Kampala minister agambye nti, obuwumbi 100 bwebutereddwa ku bbali nga…
Bya Ivan Ssenabulya
Bazadde b'omugenzi Marvin Kibirige eyakubiddwa amasanyalaze nafa, mu bikwekweto byokusend abasubuzi abayingira amu kkubo mu munispaali ye Mukono, bagala babaliyirire obukadde 200.
Mu bbaluwa gyebawandikidde munispaali ye Mukono, nga bayita mu banmateeka baabwe, Ibaale, Nakato and Company Advocates bagamba nti abakozi ba munisipali ye Mukono abakwasisa amateeka bakozesezza obulagajjavu bwebasenze obuyumba, waaya zamasanyalaze nebazireka…
