Bya Ritah Kemigisa
Poliisi esambazze amawulire, agabadde galaga nti waliwo emmundu empya 4000 ezabuze mu store emu, gyezibadde zikumibwa.
Mu kiwandiiko ekifulumye, omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima agambye nti buno bulimba, ngabali emabega waabyo bandiba nga balina ekigendererwa okutabangula ebyokwerinda nokuteeka abantu ku bunkenke.
Bino byabade mu lupapula lwamwulire olumu, nti abekitongole kya CMI kinonyereza ku…
Bya Sam Ssebuliba
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, omugya Betty Aol Ochan asabye banne bwebali ku ludda oluvuganya gavumenti, okunyweza obumu.
Mu kwogera kwe okusoose mu palamenti, Ochan agambye nti balina ebibiina bingi wabula byonna bigwana okubeera nekirubirirwa kimu.
Ajjukizza abavuganya gavumenti nti buvunayizibwa bwabwe okulondolanga emirimu gya gavumenti, nokuwaknya ebitatambula bulungi.
Bbo beyadidde mu bigere abasabye okussa…
Bye Ben jumbe.
Minister omubeezi akola ku bigwa tebiraze Musa Ecweru akikaatirizza nga abantu abakkirizza okubudamya ababundabunda bwebagwana okufiibwako mungeri ey'enjawulo.
Minister okwogera bino abadde wano mu district empya eye Kikube, nga etEma evuunike ely'okuzimba esomero elya St. Andrews Nairongo primary school.
Ono agembye nti district ezakirizza okubudambye abantu bano zirudde nga tezifibwako, abagabirizi b'obuyambi bafa ku babundabunda…
Bya Ruth Anderah
Kyadaaki Nagaga Amos Nzeyi alabiseeko mu kakiiko akanonyereza kumivuyo gy'etaka, nga eno gyagenda okunyonyolera butya bweyaguza NSSF e taka wano e Tamnagalo kyoka nga akimanyi nti siyenanyini
Mukutuuka mu kakiiko kano Nzeyi azze ne munamatekaawe a Fred Muwema, nga ono yeyategeeza akakiiko nga Nzeyi bweyali e bweru we gwanga , kyoka enkeera nalabikira ku…
Bya samuel ssebuliba
Abasomesa ba university za government abeegaita mu kibiina kyabwe ekya Association forum for academic staff of public universities in Uganda bategeezeza nga bwebagenda okuteeka wansi ebikola akadde konna, singa government enaagaana okubongeza omusala gwabwe gwa buwumbi 29 nga bweyabasubizza.
Bano akawungezi akayise baalabiseeko mu kakiiko ka parliament akakola ku by'enjugirizza nga bakulembeddwamu ssentebe…
Bya Getrude Mutyab.
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obwa president Esther Mbayo ategeezezza nga bweweetaagawo enkola ey’okuziyiza akawuka okusinga okujanjaba.
Minister Mbayo asinzidde ku Hotel Brovad mu kibuga Masaka mu lukungaana olw'etabiddwamu district eziva mu masekkati ga Uganda 23 eziri mu nteekateeka ey'okulaba nga zirwanyisa akawuka kano.
Minister agamba nti kituufu bafubye nnyo okukebera, kko n'okujanjaba naye nga okuziyiza…
Bya samuel ssebuliba.
Kampala police ekutte abantu basatu, era neezula ne bodabodda satu ezigambibwa okuba nti nzibe.
Abakwatiddwa bano kigambibwa nti bebabade batigomya abantu nadala wano mu bitundu ebya Kisenyi, Lubiri Ring Road and Musajjalumbwa.
Luke owoyesigyre, nga ono yaayogerera police ya kampala n'emiriraano agamye nti kino ekikwekweto baakitumye Dumisha Usalaama , era nga kyakuyitwamu okukwata abantu bonna…
Bya Ruth Anderah
Minister omubeezi owebye ttaka, Persis Namuganza olunnaku telumutambulidde bulungi, bwalamererddwa okukakasa akakiiko akanonyereza ku mivuyo gye ttaka ku byokunonyola omukulembeze we gwanga ku bwananyi ku ttaka lye Mubende.
Ba Commissiona mu akakiiko akakubirizibwa omulamuzi Catherine Bamugemereire, bamukunyizza nga bagala aokumanya obanga ensonga zino okuzitwala ewomukulemeze we gwanga ddala kyali kigwanidde.
Bamubuzizza nti ddala ekigendererwa kye…
Bya Shamim Nateebwa
Abobyiiza e Bweyogerere bakutte omuvubuka eyateeze omukazi, n'amuteeka ekyambe mu bulago n'amunyagako ssente eziwera 70,000 ne ssimu wamu n’engatto zaabaddemu.
Shafic Ssekanjakko 15 nga mutuuze w’eBweyogerere mu kireku zooni, yabadde agezaako okusalako ebeere lya Faridah Namutebi 28 omutuuze we Ntebettebe zooni bwabadde ava ku mulimu okukola ng’addayo ewuwe.
Namutebi agamba nti Ssekanjakko yabadde ne banne…
Bya Ruth Anderah
Omu ku banamteeka bomuyima wa boda boda 2010 Abudalla Kiatta, bamugobaganyizza wabweru wa kooti olwokweyisa mungeri etagasa.
Kino kidiridde munamateeka ono Jimmy Muyanja okukuba emmeeza, bwakayukidde omuwaabi wemisango Maj. Rapheal Mugisha, ngamulumiriza okutemya ku mujulizi Richard Kasaijja, mungeri yokumuyamba ku kyokuddamu.
Mungeri yeemu kooti yamagye etuula e Makindye egobye okusaba kweyali omuyima wa Boda-boda 2010…
