Bya Damali Mukhaye.
Ministry ekola ku by’obulimi etegeezeza nga bwegenda okutandikwa okuwandiisa ebifo byonna omumerusizibwa endokwa ez'ebirime mu gwanga, nga kwogasse n’okwetereze obusobozi bwebifo bino.
Ekiwandiiko ekituwerezeddwa minister akola ku by’obulimi Vicent Ssempijja, kiraze nga abakulu mu NAADs bwebalabye ebifo bino nga byeyongera wabula nga tebirina mateeka gabifuga.
Ono agamba nti ebifo ebimu bibadde bifulumya endokwa eziri mubifo…
Bya Gertrude Mutyaba
Essiga eddamuzi likaksizza aokutoloka kwomusibe eyaddusse mu kooti y’omulamuzi akulira court ento e Masaka Deogratius Ssejjemba oluvannyuma lw’okumusingisa omusango ogw’okukwata omwana ali wansi w’emyaka 18.
Eyadduse amanyiddwa nga David Lukwago ng’ono mutuuze w’eNkalwe mu gombolola y’eButenga mu district ye Bukomansimbi.
Kigambibwa nti Lukwago mu mwaka gwa 2016 yakwata omuwala ow’emyaka 16.
Omulamuzi Ssejjemba akkirizza okutoloka kw’omusibe…
Bya Damalie Mukhaye
Poliisi eriko abasawo 2 begalidde aba fellowship medical center mu town council ye Matugga, mu Wakiso olwokumala gasuula, omulambo gwomulwadde, eyafudde.
Bwabadde ayogerako naffe omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Luke Owoyesigyre agambye nti bano bakwatiddwa babeeko byebanyonyola ku nfa ya Ivan Tumukunde eyafudde, wabula omulambo gwe nebagusuula mu lusaalu.
Poliisi egamba nti era waliwo…
Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda bujukizza abebika abatanaleeta nsimbi ezokuzimba ebibumbe ebilina okutekebwa ku luguudo Kabakanjagala mu kaweefube wobwakabaka bwa Buganda okutumbula obulambuzi.
Buli kika kyasalilwa obukadde 13 okuzimba ebibumbe ebigenda okuteekebwa ku luguudo Kabakanjagala.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yatongozza omulimu gw’okunoonya ssente zino nga mu buli kika mwalondeddwaayo omuntu agenda okukulemberamu omulimu guno, nga baali baaweebwa …
Bya Benjamin Jumbe
Ssabaminista we gwanga Ruhakana Rugunda awakanyizza okwemulugunya okuliwo nti ababundabunda bafuna obuwereza obyulungi okusinga ku buweebwa gavumenti banansi.
Ono abadde atongoza polojekiti eyobukadde bwa adollar 50 gyebatuumye development displacement impact project (DRDIP) ngerubiridde kuwagira ababundabunda amu district 11.
Ebyogerwa agambye nti ssi bituufu, kubanga banansi gavumenti ekyabafirako ddala.
Kati mu ntekateeka eno bagenda kuzimba amasomero, enguudo,…
Bya Dmalie Mukhaye
Aboludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya FDC, bakoze enkyukakyuka mu bukulembeze bwa palamenti, mwebasuliidde Winnie Kizza abadde akulira aoludda oluvuganya gavaumenti, nebamusikiza Betty Aol Ochan, omubaka omukyala owe Gulu.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjankumbi, president wa FDC Patrick Amuriate Oboi agambye nti olukiiko lwekibiina olwa waggulu, olwa NEC lwelwakoze enkyukkyuka…
Bya samuel ssebuliba.
Minister wa Bungereza akola ku by’okwerinda Rt. Hon. Gavin Williamson alabudde omukago gwa Africa obutapapa kujja majje ga Amisom mu Somalia, kubanga kino kigenda kuzza obutali butebenkevu mu gwanga.
Bwabadde akyadeko mu gwanga lino olunaku olw'eggulo,minister ono yagambye nti bbo baagala Amisom okuva mu Somalia nga emirembe gimazze okudda, kubanga Somalia ne East Africa…
Bya Ivan ssenabulya.
E mukono office ya president eriko ensimbi obukadde 1200 bwewadde district ye Mukono okudaabiriza edwaliro elya Mukono Health Centre 4.
Zino ensimbi omukulembeze we gwanga yeyazeeyama bweyali akyadeko mu kitundu kino mu mwaka 2015.
Kati olunaku lweggulo olwafunye ensimbi zino mayor wa Mukono George Fred Kagimu n'atema evuunike, kale nga okuzimba kwakutandika akadde konna.
Twogedeko nakulira…
Bya Shamim Nateebwa
Omuvubuka owemyaka 19 Leo Turyasingula, akwatiddwa abasirikale abaabadde balawuna bwebamusanze lubona ng’alina omukazi gw'asobyako mu kiro ekikesezza olwaleero ku ttaawo ku Northern bypass ku Kaleerwe.
Ono mutuuze mu Kibe zone mu muluka gwa makerere III e Kawempe ng’akola gwa kwetikka bitereke mu katale k’oku Kaleerwe.
Ate omukazi gweyabade asobyako wa 35, omutuuze mu Mayinja zone …
Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa
Anti-corruption coalition Uganda omukago gwebibiina byonakyewa ogulwanyisda aobuli bwenguzi, banukudde ku kiragiro kya kalisoliiso wa gavumenti eri abakozi ba gavumenti bonna okulaga ssente zebalina mu mpeke.
Okusinziira aku kiragiro ekyavudde mu wofiisi ya IGG, obutasukka March womwaka ogujja 2019 buli omu okuli nabakulembeze abalonde, balina okuba nga balaze ebyobugagga byabwe nensimbi…
