Bya Ben Jumbe.
Ekibiina kya NRM olunaku olwaleero lwekitegese akamyufu kaakyo mu Adistrict ye Arua okusobola okwelondamu agenda okukwata bendera yekibiina mukulonda kwa Arua Municipality ewaali omubaka Ibrahim Abiriga eyattibwa.
Mulwokano luno ekibiina kirinamu abantu munaana nga bonna baagala bendera eno.
Abamu kubaagala ekifo kino kuliko Mohamed Ali Aluma, Angupale Swadik, Jackson Atima, Simon Ejua, John Lematia,Mbarack Khalifan,…
Bya Samuel Ssebuliba.
Abakulemebeze ba Africa, kko nebananagagga basabidwa okufaayo kubanaku, kino kiyambe okumalawo omuwaatwa oguli wakati wabaavu nabagaga mu Africa.
Alipoota eyakolebwa aba Oxfam report omwaka gwa 2017 yalaga nti ebitundu 80 % ku nsimbi ezaakolebwa omwaka oguwede zaagenda mu ngalo zabanagagga abatasuka na 1%.
Bweyabadde ayogerera mukujukira obulamu bwa Nelson Mandela mu Johannesburg South Africa, eyaliko…
Bya Shamim Nateebwa.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye okulabikako eri obuganda olwaleero mukuggalawo ttabamiruka wa bavubuka agenda okuberawo leero wali ku hotel African.
Ttaba miruka ono yoomu ku bikujjuko bya jjubirewo era nga agenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti okutekateka abavubuka saako nokubakubiriza okwezimba.
Minisita wa wabavubuka ow'ebyemizanyo n’okwewumuzaamu Henry Ssekabembe kiberu akubirizza abavubuka okujjumbira ttaba …
Bya Mbogo sadat
District y'e Mpigi esazeewo okutandika okukangavvula abazadde abasajja abeesuuliddeyo ogwa naggamba mu kuweerera abaana mu masomero.
Bino bisaliddwawo akakiiko ka district eno ak'ebyenjigiriza mu lukiiko olubadde olw'ebbugumu olutudde ku kitebe kya district mu town council eya Mpigi.
Ssalongo Ben Ssozi omukiise wa town council eya Mpigi atutegeezezza nti ebimu ku bisaliddwawo kwekuba nti taata…
Bya Ruth Anderah
Eyali omuyizi owe ttendekero lya UCU angabadde ku alaimanda e Luzira ku miasango gybuseegu nokusasanya aobutambu bwobuseegu, olwaleero awereddwa okweyimirirwa mu kooti ya Buganda Road.
Olunnaku olwe ggulo Lillian Rukundo owemyaka 23 kyategezeddwa nti mulwadde muyi, nga teyasobodde kulabikako mu kooti.
Kati omulamuzi Mary Babirye asinsidde ku mbeera yobulamu bwe etali nnungi, ddaaki namuwa okweyimirirwa.
Ayimbuddwa…
Bya Shaimim Nateebwa
Katikkiro Charles Peter asabye abaami bagumye abantu ba Buganda babeere ne ssuubi, embeera gyebayitamu bakujiyitamu wadde ebisoomooza weebiri.
Owekitiibwa Mayiga abadde asisinkanye abaami ba Kabaka ab'amagombolola g'omu Masaza ga Ssaabasajja Kabaka ku Muganzirwazza mu Kampala.
Mu bubakabwe, Katikkiro asabye ab'amagombolola okukyaliragana olwo basobole okwetegeera n'okubeera ekimu.
Mu ngeri yeemu abasabye batandikewo ensawo y'okwekulaakulanya basobole okwezimba nga…
Bya Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya
Akakiiko eke ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights commission kagala amateeka, ku nsonga zabaana gakyusibwemu.
Bwabadde afulumye alaipoota ekwata aku ddembe lyabaana namateeka akulira ebyokulondoola amateeka mu kakaiiko Ruth Sekindi agambye nti amateeka 37 getaaga okuyusibwamu.
Uganda amu mwaka gwa 1990 yateeka aomukono ku ndagaano eyekibiina kyamawanga amagatte okukuuma abaaana.
Ate…
Bya Ndaye Moses
Abantu obukadde 2 nemitwalo 10 abasussa emyaka 5 mu Uganda balina obulemu, obwengeri ezitali zimu.
Alipoota ekwata ku baliko obulemu efulumiziddwa aba Uganda bureau of statistics eraze nti abantu 26% mu gwanga baliko obumeu.
Akulira ebyemiwendo mu kitongole kya UBOS Pamela Kakande agambye nti bakoze okunonyereza mu bitundu bya Uganda 15 nga kuliko nabaana 8%…
Bya Ritah Kemigisa.
Ministry ekola ku by’ensimbi etegeezeza nga olunaku olw’okuna sabiiti eno government bwegenda okuleeta ebago lyeteeka erigendda okukola enongoosereza mumusolo ogwatekebwa mu nkola eya mobile money.
Bwabadde ategeeza banamawulire ebyakanyizidwako mu cabinet akawungezi akayise, minister omubeezi akola ku by'ensimbi David Bahati agambye nti kyasalidwawo nti enusu 0.5% zeeziba zigibwa kunsimbi ezisindikiddwa zokka sosi kubuli ludda…
Bya Samuel Ssebuliba
Abakulembeze b’ekibiina ekya NRM wano mu Kampala bategeezeza nga bwebatandise okulongoosa amakubo gebagenda okukozesa okulaba nga ekibiina kyabwe kiddamu okuwangula ebifo mu Kampala mu kulonda okunadako
Twogedeko ne ssentebe w’ekibiina kino mu Kampala Nyakana Godfrey nagamba nti baatandikidde mukuwangula kulonda kwabasentebe b'ebyalo, era nga bangi baakwatiddwa.
Ono agamba nti ekibiina kyongedde okufuna amaanyi mu kampala,…
