Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Eyatta omuntu asibiddwa emyaka 35.

Bya Kirunda Abubaker. E iganga  waliwo omusajja wa myaka 42 akaligiddwa emyaka 35 lwabutemu. Akaligiddwa ye Godfrey Kakaire  omutuuze we Bwondha mu gombolola ye  Malongo, nga guno omisango yaguzza mu mwaka gwa 2013. Ono akaligiddwa mu kooti enkulu ebadde ekubiriziibwa omulamuzi Justice Micheal Erubu  , nga ono agambye nti mukutta omuntu ono yayambibwako Sula Kilume  olwo nebatta…

Read More

Police erwanaganye n’abaami ba Kabaka.

Bya Sadat Mbogo.     Police y'e Buwama mu district y'e Mpigi ekedde mu ddukadduka n'abaami ba Kabaka mu ssazalye ery'e Mawokota abazze okuteeka ssengenge ku ttaka lyobwakabaka eriweza yiika munaana kyokka police nebalemesa nga egamba tebaayise mu mateeka. Abaami ba Kabaka nga bakulembeddwamu Kayima David Ssekyeru bategeezezza nti bbo baafunye olukusa okuva e Mengo okujja okulamba ettaka ly’obwakabaka…

Read More

Abaalemwa okukozesa ensimbi zenguudo bakukangavvulwa.

Bya Samuel ssebuliba Akakiiko ka parliament akakola ku government ez’ebitundu katabukidde district n'ebibuga by’ebagamba nti byalemwa okufuna ba contractor abasobola okukola emirimo gy'okuzimba enguudo, okukakana nga ensimbi za government zifudde. Twogedeko ne ssentebe w’akakiiko kano Regan Okumu  nagamba nti district ezaalina okuganyulwa mu program ya World Bank ey'okuzimba enguudo kubukadde  bwa dollar 150  ensimbi baazidibaga n’emirimo negigaana…

Read More

Munnamateeka Bob Kasango bazeemu okumukwata

Bya Ruth Anderah Omulamuzi wa kooti ewozesa abalyake Margaret Tibulya alagidde abaali abakozi mu ministry yabakozi 3 okuli eyali omuwanadiisi owenkalakalira Jimmy Lwamafa, eyali omubalirizi webitabo omukulu Christopher Obey ne Commissioner Stephen Kiwanuka Kunsa saako ne munamateeka Bob Kasango nti balina emisango egyokwewozaako. Abantu bano 3 waddenga abamu basingisibwa emisango era bali mu makomero, baliko era emisango…

Read More

Omutanda ajjukizza abavubuka okubeera ne ddoboozi erya’wamu

Bya Shamim Nateebwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye naggalawo ttabamiruka wabavubuka abadde abumbujjira ku ku  Hotel Africana. Ttabamiruka  abaddewo nga byebimu ku bikujjuko  byamattikira jjubireewo agatambulira  ku  mulamwa  ogugamba  nti okutekateeka abavubuka  nokubakubiriza  okwezimba. Omutanda mu bubaka bwe eri abavubuka abasabye, obutekomoma wabula okukozesa eddoboozi eryamanyi ate erya wamu. Bbo abavubuuka ba Buganda beyamye okubeerewo wakati mu…

Read More

Omusajja akwatidde mukazi we mu bwenzi neyetuga

Bya Abubaker Kirunda E Iganga waliwo  omusajja wa myaka 22 asazeewo okwetuga oluvanyuma lw’okukimanyaako nti mukyalawe aliko omusajja omulala gwaganza. Tadeo Basaka omutuuze Buwoila mu gombolola ye Nabitende, kigambibwa nti yasanze mukyala we lubona ngali n’omusajja omulala begadanga, olwo mu bukambwe nasalawo okwetuga. Ayogerera police James Mubi agambye nti omugenzi yagenze butereevu emanju w’enyumba ye neyeetuga, nga gyebamusanze. Police…

Read More

Omusajja yesudde mu mugga nafa

Bya Magembe Sabiiti Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kacwamango mu East division mu munispaali ye Mubende ssemaka bweyesudde mu mugga nafa. Omugenzi ye Muyonjo Hakim ng'okwesula mu Dam aliko ekiwandiiko kyaleese, ngategezezza nga bwabadde akoye ensi. Police e Mubende omulambo egujeyo negutwalibwa mu ddwaliro e Mubende okwekebejebwa nga n'okunonyereza poliisi egamba nti kugenda maaso.

Read More

Ab’oludda oluvuganya baweze okwongera okusimbira omusolo ekkuuli

Bya Shamim Nateebwa Ababaka ba palamenti abavuganya bazeemu okukikaatiriza nga bwebatagenda kukoowa kulwana okulaba ngomusolo ku mobile gugibwawo, noguli ku mikuttu muyunga bantu oba social media. Bino webijidde ngababaka ba NRM bali mukafubo bateesa butya bwebagenda okuwagiura ekiteeso kyomukulemebeze we gwanga ekyokukendeeza ku musolo guno gusigale ku nusu 0.5% ku nsimbi ezigibwayo zokka sso ssi 1% nga…

Read More

Alipoota ya poliisi ku bumenyi bw’amateeka ezeemu okufuluma

Bya Ritah Kemigisa File Olwaleero polisi efulumizza alipoota ekwata kubuzzi bw’emisango, ngeraze ngemisango bwegyeyongedde n’ebitundu 3% wakati wa 2016 ne 2017. Bwabadde afulumya alipoota eno etunuulide emisango eggyazibwa  okuva mu January 1st  okutuusa nga December 31st 2017, akulira ekitongole ekinonyereza ku buzzi bw’emisango Grace Akullo  agambye nti emisango egyazibwa mu 2017 gyali emitwalo 25  mu 2000, atenga mu…

Read More

Entekateeka z’emikolo gya Jubireewo zifulumye

Bya Shamim Nateebwa File Photo: Mayega nga yogera Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza entekanteeka za jubileewo entongole. Bwabadde ayanja enteekanteka zino Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza bwewaliwo omukulembeze ow’enono okuva Ghana agenda okubaawo ngomugenyi, nga ono wakutuuka kuno nga 29. Ngennaku zomwezi 21 obusiki bwamatikira bugenda kutandika ku mbuga z’amasaza zonna, nga 24 ssabasajja wakukwasiibwa Twekoobe, nga 26…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play