Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Omwoleso gw’ebyobulimi guggalwawo leero.

Bya Ababuker kirunda. Omukulemebeze we gwanga Kaguta Museveni olwaleero atekateeeka okwolekera jinja, nga eno gyagenda oguggalirawo omwoleso gw'eby’obulimi oguludde nga gugenda mu maaso . Omwoleso guno gumazze sabiiti namba nga gukwajja, eranga abalimi okuva mu uganda yonna bagwetabyemu. Twogedeko ne Peter Kisambira  nga ono yemuyima w'abalimi n’agamba nti omwoleso gubadde gutambula bulungi, era nga abalimi bangi bajumbidde. Ono agamba…

Read More

Minisita Onek wakulabikako mu kakiiko k’ebyetaka.

Bya Ruth Anderah. Olunaku olwaleero minister akola ku bigwa tebiraze Hillary Onek agenda kulabikako mu kakiiko akakola ku mivuyo gy'etaka  yewozeeko  kubigambibwa nti aludde ebanga nga atisatiisa okutuusa obulabe ku eyali ssabaminister wa tooro Steven Irumba, nga ensonga zeekusa ku nkayana za taaka. Onek  okuyitibwa kyadiridde Irumba  okutegeeza akakiiko nti nga 7th –july 2018  minister ono yamulumba …

Read More

Tabamiruka w’abakola mu bya banka wa leero.

Bya Ben Jumbe.   Olunaku olwaleero ssabaminister we gwanga lya uganda Dr. Ruhakana Rugunda asuubirwa okuggulawo tabamiruka wabakola mu bya banka , nga ono amanyiddwa nga Annual Bankers Conference ow’okubeera wano mu Kampala. Bano buli mwaka batuula okwebulirira ku nsonga ezibakosa nga abakola mu by’ensimbi, era nga kaakano guno gugenda kuba mulundi gwakubiri. Twogedeko ne ssentebe w’ekibiina ekibagatta Patrick…

Read More

UPDF eyongedde amajje e Somalia.

Bya Samuel Ssebuliba. Amajje ge gwanga lya uganda agalwanira wansi wa Amisom mu somalia gaasabiddwa okukuuma empisa, kko n’okugoberera amateeka g’eKinamajje gonna. Kuno okusaba kukoleddwa omuduumizi wamajje aga UPDF Gen David Muhoozi   bweyabadde asiibula ekibinja ky’amajje ekigenze okukuuma  mu Somalia ekya Battle Group 25 ne  United Nations Guard Unit , nga bano bagenze kukolera wansi wa kibiina…

Read More

Ababaka abanakkiriiza obukuumi baakuboolebwa.

Bya Ndaye Moses. Ebibiina by’obwanakyeewa ebirwanyisa okulya enguzi bisabye abalonzi okutandika okuboola ababaka bonna abagenda okukiriza okuweebwa abakuumi nga omukulembeze we gwanga bwayagala. Kuno okusaba kukoleddwa akulira ekibiina ekya Anti-corruption coalition Cissy Kagaba nga agamba nti kino ekiteso kikyamu, era government egwana etekebwe kuninga ensonga eno egiveeko. Ono agamba nti omuwi w’omusolo anyigirizibwa  olw’omusolo omungi ogumugibwako, kale nga…

Read More

Minisita alabudde abakola ogw’okubala ebitabo bya gavument.

Bya Ben Jumbe.   Minister akola ku by’ensimbi Matia Kasaija alabudde abakola ogw’okubala ebitabo bya government okwewala okutuula ku mabanja ekituusiiza ne government okulemwa okugasasulwa. Ono okwogera bino abadde wano ku tabamiruka w'abakola mu banka , nga eno gyasinzidde nagamba nti mu mwaka guno government yatadde kubbali ensimbi obuwumbi 735 nga zino zakusasula  mabanja. Ono agamba nti bano…

Read More

Ochola alabiseeko mu kakiiko ke ttaka

Bya Ruth Anderah Olunaku olwaleero ssabapolisi we gwanga Martin Okoth Ochola  alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku byetaka, okukubaganya ebirowoozo ku butya obuvuyo ku ttaka gyebuyinza okugemwamu, nokumalawo okulwanagana, okwekuusa aku ttaka. Munamateeka wakakiiko Ebert Byenkya, agambye nti ono azze kubayambako kusalira wamu magezi kungeri entuufu enkayana zettaka gyeziyinza okumalalibwawo. Ensisinkano eno tebadeemu banamawulire, wabulanga bwafulumye tutegeezeddwa nti yeyamye…

Read More

Bana bebakakwatibwa ku bubbi bwe mmotoka

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi mu Kampala etegeezeza nga bweyakakwata abantu 4 ku bigambibwa nti bano babade benyigira mu kubba emmotoka. Bwabadde eyogera ne banamawulire, Luke Oweyesigyire ayogerera police mu Kampala n’emiriraano agambye nti abakwatiddwa kuliko Lutaaya Muhammad ne Mafaabi Yahaya nga bano bebebade baduumira ekibinja kino. Mu muyiggo guno emotoka 8 zezakakwatibwa mu bbanga erya wiiki bbiri, ngokusinga zagiddwa…

Read More

Ttabameruka wa’bavubuka atuuse

Bya Shamim Nateebwa Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka ya Ttabamiruka w'abavubuka ow'okulw'okusatu luno nga 18th July 2018 ku hotel Africana. Okusinziira ku minisita w'abavubuka nemizannyo Owek Henry Kiberu Ssekabembe, Omulangira Kassim Nakibinge yagenda okuggulawo Ttabamiruka ono ku ssaawa 3 ez'okumakya, ate Ssaabasajja Kabaka amuggalewo ku ssaawa kkumi n'ekitundu. Owek Ssekabembe asabye abavubuka ba Buganda okujjumbira ttabamiruka ono kubanga…

Read More

Munansi wa Burundi afiridde mu Kampala

Bya Ivan Ssenabulya Police mu Kampala etandise okunonyereza ku nfa ya munais wa Burundi, asangiddwa nga muffu ku Nabugabo. Manario Juvenile ngabadde akuuma mmotoka zebyamaguzi wano mu Kampala ebigenda e Burundi, asangiddwa nga yafiridde mu  FUSO namba UAS 938/Q. Bwabadde ayogerako naffe,  omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire agambye nti batebereza nti omugenzi yafudde kirwadde kya asima,…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play