Bya Benjamin Jumbe
Minister wa Kampala Betty Kamya ategeezezza nga gavumenti bwekitegedeko nti waliwo abantu abaagala okutabangula okulonda kwenkya.
Bino abitegezza banamawulire nagamba nti waliwo basekinoomu abalina entekateeka ezokulemesa okulonda kuno, wabulanga gavumenti tegenda kukiganya.
Ono mungeri yeemu ategeezezza nga bwewaliwo abakola ku byokulonda abaagala okukozesa okulonda kuno okusaba ssente mungeri yokukutula deal, wabula agambye nti tekigenda kusoboka.
Bya Kyeyune Moses
MTN Uganda evuddeyo okuwakanya ebigambibwa nti waliwo ebikwata ku bantu ebyabbiddwa ku kitebbe kyabwe e Mutundwe.
Bino byalabikidde mu mawulire nti waliwo abakambwe ababadde bebagalidde ebyokulwanyisa abalumbye ekiffo kino nebakikolako obulumbaganyi, wabulanga abakuuma ddembe ba CMI babagulizaako.
Wabula ssentebbe owa MTN Uganda Charles Mbire akaksizza aoblumbaganyi buno, naye ategezeza nti tebasobodde kubaako byebazuula kuba customs…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi erabudde banannyini biffo ebisanyukirwamu okugoberera amateeka nemitendera gyabebyokwerinda okulaga ameipiira gya World Cup ejisembayo.
Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima agambye nti ebyererzi tebajja kubakiriza kulaga mipiira, ngalabaudde neku bubenje ngomuliro nokugwa kwebizimbe.
Wabula akakasizza obukuumi eri banabyamizannyo, nti bakulawuna ebiffop byonna.
Bino webijidde nga bann-Uganda bakyajjukira abulungi ebyaliwo mu mwaka 2010 obulumbganyi omwafiira abantu 70…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ekakasizza abantu ku butebenkevu mu kulonda kwe byalo okugenda aokubaawo olunnaku lwenkya okwetoola egwanga.
Bino webijidde nga waliwo okutya ntin okulonda kwandibaamu emivuyo, kubanga okulonda tekuube kwa kyama anti kwa kusimba mu migongo.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku CPS mu Kampala, omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima agambye nti bakuyiwa basajja baabwe mu…
Bya Ben Jumbe.
Bbo abakola ku by'obulambuzi baaniriza obweyamo bwa government obw'okutuusa enyonyi ye gwanga obutasukka 2019.
Sabiiti ewedde minister akola ku by’ensimbi David Bahati yategeeze banamawulire nga enyonyi eno bwetuka mu gwanga obutasukka mwezi gwa April 2019.
Twogedeko n'akulira company eya Great lakes Safari Amos Wekesa naagamba nti situgaanye ekyokuzaawo enyonyi kyetagisa, naye ate kiggwana kikakasibwe nti…
Bya Ndaye Moses.
Bbo abakola akalimo aka mobile Money wano mu Kampala ne gwanga lyonna bategeezeza nga bwebagenda okuggala ebifo webakolera okutandika ku lw'okusatu luno, nga ono ye kaweefube ow'okulaga obutali bumativu olw'omusolo ogubanyigiriza.
Sabiiti ewedde omukulembeze we gwanga yalangirira nga omusolo ogwa nusu 1% bwegugidwawo, negusikizibwa 0.5%, kyoka era bano bagamba nti omusolo guno tegwetagiisa era…
Bya samuel ssebuliba.
Obwakabaka bwa Buganda butegeezeza nga kaweefube w’okukuza emyaka 25 ssabasajja kabaka gyeyakamala ku Namulondo bwatandise, era nga emikolo gyenyni gitandise mwezi guno.
Bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso, katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti enteketaake eno egenda kutandika na musomo ogukwata ku ssekabaka Mwanga, nga guno gugenda kubeera wano…
Bya Magembe Ssabiiti
Abasuubuzi b'ente abakolera e mubende basattira oluvanyuma lw'okuggala obutale obubadde bugulwamu ente obuwerera ddala mukaaga nga entabwe evudde ku bulwadde bwa kalusu
Obutale obugadwa mulimu akatale ke butologo akasangibwa mu ggombolola ye butologo nga eno abasuubuzi abava e kampala babadde bettanirayo okugulayo ente, akatale ake Nalutuntu , akatale ake kalagala, ak'omukiganda , ak'omukisenyi nake …
Bya Samuel Ssebuliba.
Waliwo omuserikale wa polisi ali kudaala elya Special Police Constable Ronald Odoch awangudde omusipi ogwa World Heavy Kick Boxing Championship mumpaka eza World Kickboxing Federation International Champion Title ezibadde mu gwanga lya Hungary.
Odoch awuttudde munansi wa Romania Radu Mihai Gabriel , nga ono amukubidde mu luzanya lwakuna , era nga okumumegga amukubye ekkonde…
Bya Ruth Anderah.
Akakiiko akanonyereza ku mivuyo egiri mu ttaka kakizuude nti omugagga John Ssebalamu abadde akyagenda mu maaso n'okusima omusenyu mu Lweera newankubadde abade yagaanibwa.
Mu mwezi gw'omunaana omwaka ogwa 2017 akakiiko kano kaagenda mu Lweera era nekayimiriza omugagga ono okubaako kyakolera ku ttaka lino okutuusa nga kamaze okunonyereza.
Wabula ba commissioner bakakiiko bano ababbiri nga bakulembedwamu…
