Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Aba polisi balabuddwa okukola potolo.

Bya Samuel ssebuliba.   Amyuka aduumira polisi ye gwanga Brigadier Sabiti Muzeeyi  ekiro kya leero asisinkayeemu abaserikale abakola potolo ku motoka n'ebigere, nabategeeza nti okukola potolo  kyekyoka ekigenda kubafuula mikwano gy'abantu bebakuuma. Ono abategeezeza nti tebayinza kumanya bizibu by'abantu bebakuuma okujako nga babasemberedde , kale nga y'ensonga lwaki wano balina okutekawo amaanyi. Ono agambye nti abaserikale okulawuna ekitundu kyongera…

Read More

Pulezidenti naye abbidwako etaka- adukidde mu kakiiko k’ebyetaka kamutaase.

Bya Ruth Anderah. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni adukidde mu kakiiko akakola ku by'etaka, nga awawaabira abasajja okuli John Byamukama, Kongo ne Katende Seggane  baagamba nti baagenda mu famuye esangibwa wano e Katwekambwa e Gomba nebamubbako etakalye. Etaka ely’ogerwako lisangibwa mu famu ye Kisozi. Ono nga ayita mu maneja wa famu eno Florence Kamatenesi, President agamba nti etaka eriweza yiika …

Read More

Ababade bekalakaasa olwa mobile money bakwatiddwa

Bya Ndaye Moses. Polisi ya palamenti  ekutte abamu kubasubuzi abakola ku mobile money ababde bakedde okugenda okusisinkana sipiika , nga bemulugunya ku ky'omusolo ogw'abatekedwako. Bano abegatira mu kibiina kyabwe ekya Kampala mobile money dealer association batambudde kuva Kibuye , nga balina ekiiwandiiko kyebaagala okukwasa sipiika  ku nsonga eno. Bano olutuuse ku gati  ya palament polisi n'ebayioola, era basatu…

Read More

Abalimi batandise okukaaba olw’omusolo gwa Mobile money.

Bya Damali Mukhaye. Abalimi n'abalunzi  mu gwanga bategeezeza nga omusolo ku nkola eya mobile money bwegugenda okubakosa ekisusse, ga kw'ogasse ne nusu 200 ezatekeddwa ku mikutu mutaba bantu kiyite social media. Bwabadde ayogereko ne banamawulire wano e wandegeya, president wa Uganda veterinary association Sylvia Baluka , agambye nti abasinga kubalimi bali mubyalo ewatatuukika, kale nga bano babade…

Read More

Amawulire ag’obulimba gatiisiza banyini mikutu gyamawulire.

Bya Damali Mukhaye . Banyini miku gya TV ne Radio  balaze okutya olw'amawulire ag’obulimba agagenda geyongera okusasanyizibwa, nga gano gatuuse n'okukosa emikutu gy'amawulire egimanyiddwa. Bwabadde ayigerera mu tabamiruka wabanyini mikutu gino, akulira ekibiina ekibataba ekya National broadcaster association Kin Kariisa agambye nti omuze guno gwatandikadda mu mirembe gya ssematalo, wabula nga tegukosezza banamawulire bokka, wabula ne government…

Read More

Omubaka Betty Nambooze asitudde okugenda e India.

Bya Damali Mukhaye. Wetwogerera nga omubaka owa Mukono municipality Betty Nambooze asitudde okwolekera egwanga lya India okwongera okufuna obujanjabi. Kinajukirwa nti ono oluvanyuma lw'okugibwa e Kirundu yatwalibwa e Bugolobi medical center gyaba afunira  obujanjabi, era nga eno gyavudde okwolekera ekisaawe kye Entebbe. Twogedeko n’omuyambiwe ow’ekyama Arthur Mugabi  nagamba nti enyonyi etutte Nambooze esitude ku saawa musanvu zino…

Read More

Radio ne TV ezeggume zakukangavulwa.

Bya samuel ssebuliba. Akakiiko akakola ku by'empuliziganya kanakuwalidde abantu abakozesa emikutu gy'ebyempuliziganya nga Radio okulwana entalo zaabwe, ko n'okuwudiisa abantu. Bwabadde ayogerera mu lusirika lw’abanyini mikutu gy’amawulire olugenda mu maaso wano mu kampala, akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agambye nti kyenyamiza okulaba nga waliwo abasumba abafudde radio zino akatuuti ak’okuvumirako banaabwe, songa abalala bakyaza abafere okunyaga bana-uganda. Ono…

Read More

Katikiro wa Buganda alambudde abalimi mu singo.

Bya shamim Nateebwa. Katikkiro Charles Peter Mayiga  yalambudde abalimi b'emmwanyi mu gombolola ye Ssekanyonyi mu Ssaza lye Ssingo ng'omu ku kaweefube w'okunnyikiza enkola ya Emmwanyi Terimba egendereddwamu okujja abantu mu bwavu. Mu bubakabwe, Katikkiro yategezeza  nti ekimutambuza mu byalo, kwekukubiriza abantu bakole basobole okulwanyisa obwavu. Mungeri yeemu Katikiro Charles Peter Mayiga akubiriza abavubuka okukola enyo okusinga okwesigama  ku…

Read More

Ebya tekinoloje ly’ekubo ely’okugagawaza uganda.

Bya Samuel Ssebuliba. Minister akola kubya science, ne technology Dr Elioda Tumwesigye ategeezeza nga bwekyetagisa okwongera okusigga ensimbi mubya science, Uganda bweba yakutukiriza ebigendererwa ebyekyasa wegunakoonera omwaka 2020. Ono agamba nti ministry gyakulira  esazeewo okuteeka omulaka ku by'okukuza science n'obuyiiya mubanayuganda , era nga wano egenda kusaawo amaanyi agatagambika n’ensimbi. Ono agamba nti enkulakulana y'egwanga egenda kusinziira kukufaayo…

Read More

Omusajja akwakudde emundu ku muserikale.

Bya Malik Fahad. Polisi  ye Kalisizo  eriko omusajja  gwekutte was 34, nga eno emulanze kugezaako kuba mundu kumusirikaale nga alikumulimu. Akwatiddwa ye George William Ssegawa   omutuuze we Matale mukabuga  ke  Kalisizo e  kyotera, nga ono emundu abade agezaako kuginyakula  ku  John Watira gwatisizatisizza n'akambe. Ssegawa abadde agezaako okudduka kyoka esimu gyalese e mabega yemuloopye okukakana nga akwatiddwa. Ayogerera polisi…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play