Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Alipoota ku bantu abawambibwa yaakufuluma.

  Bya samuel Ssebuliba. Police etegeezeza nga bw'enaatera okufulumya alipoota ekwata ku bantu abazze bawambibwa n'abeewamba , nga wano bagenda kutunulira ebanga lya myezi nga esatu egyakayita. Bano okuvaayo kidiridde emizze egy'okuwamba abantu okweyongera songa abawamba batera okusaba omusingo Kati bwabadde ayogerako ne banamawulire ayogerera police mu Uganda   Emiliano Kayima  agambye nti emisango gino gigenze girinya buli kadde, newankubaddde…

Read More

Ekitongole ky’ebyebibira kyakugabira abantu etaka.

Bya Ndaye moses. Ekitongole ekikola ku by’ebibira ekya National forestry Authority kitegeezeza nga bwekitegese okugaba  yiika z’etaka eziwerera dala 40,000 eri abantu basekinoonomu batandike okusimbako emiti. Bino byogeddwa Paul Musamali akolanga akulira ekitongoe kino, nga ono ategeezeza nti etaka erigenda okugabibwa liri mu bibira ebisangibwa mu central reserve. Ono ategeezeza nga kino bwekikoleddwa nekigendererwa eky'okulaba nga ebibira ebizze…

Read More

Namutikwa w’enkuba wakutonya mu uganda okutuusa mu gw’okutaano.

Bya Samuel Ssebuliba. Banayuganda balabuddwa nga enkuba eyamaanyi bwegenda okufudembe mu bitundu bye gwanga ebisinga obungi, nga ogyeko mu bugwanjuba bwe gwanga. Okusinziira ku alipota gyetufunye okuva mu kitongole ekya Uganda National Integrated Early Warning System ey'omwezi gwa APRIL - MAY 2018 , abalimi bagwana batandike okukozesa akakisa kano okwenunula okuva mu njala ebadde abamaamidde. Wabula ate bano…

Read More

Abayizi e Makerere bekalakaasa, 3 bakwatiddwa

Bya Ivan Ssenabulya Ekifananyi: Kijiddwa mu bikadde Poliisi ku ttendekero e Makerere ekubye omukka ogubalagala mu bayizi, okubagumbulula bwebakadde okwekugugunga, nga bwebalaliise olwaleero. Abayizi bagamba nti bagala ensonga zaabwe ezibaluma zikolebweko mu bwangu. Abayizi 3 okuli Guild President Papa Salim Were bakwatiddwa nga kati, bakumibwa ku poliisi ye Wandegeya. Bwabadde ayogerako naffe akulira ebyokwerinda ku University e Makerere Enoc Abayine…

Read More

UCU ekutte kyakubiri mu Mpaka zama’ttendekero mu America

Bya Ivan Ssenabulya Ettendekero lya Uganda Christian University lyakutte kyakubiri mu Universty za African mu mpaka za 2018 Philip Jessup International Law Moot Court Competition ezibadde mu kibuga Washington DC mu gwanga lya America. Empaka zino zitunuliira nokugezesa ebikwata ku ddembe lyobuntu mu nsi yonna. Dr. Anthony Kakooza, Dean owa UCU Faculty of Law agambey nti buno bubadde…

Read More

Ba ssedduvutto bagwana kusibwa mayisa

Bya Sadat Mbogo Banakyewa mu district y'e Mpigi, aba Para social workers association bagala ebibonerezo ebiweebwa agasajja ga ssedduvutto n'abakwata abakazi bikyusibwe, abantu nga bano batandike kusibwa mayisa. Ng'awayaamu naffe, omukwanaganya w'emirimu gy'ekibiina kino, Ssalongo Henry Paul Kinaalwa ategeezezza ngebikolwa bino bwebisusse e Mpigi nga kati abamu bagufudde mulimu, nga kyenkana buli week, ekibiina kyabwe kifuna emisango…

Read More

Gavumenti terina nsimbi kugulira bawala Pads

Bya Abubaker Kirunda Minister owensonga zobwa presidenti Esther Mbayo asabye abazadde okugulira abaana baabwe ebisabika, nga bali mu nsonga zekikyala mu kiffo kyokukabirira gavumenti olutaggwa. Mbayo yabadde ku mukolo ogwokwebaza olwabayizi ba S 4 ne 6 ku ssomero lya  Wanyange Girls secondary school mu district ye Jinja mu bigezo ebyakamalirizo, yagambye nti abaana obutabeera na bisabika bino nga…

Read More

Ekyo’kuleeta ababundabunda okuva mu Yisirayiri kyaniriziddwa

Bya Benjamin Jumbe Entekateeka ya gavumenti okwaniriza ababundabunda abali mu 500 abagobeddwa okuva mu gwanga lya Israel kyaniriziddwa abatunulizi mu nsonga zenkolagana namawanga. Bweyabadde ayogera ne banamwulire ku media centre wiiki ewedde, minister omubeezi owebibamba nebigwa tebiraze Musa Ecweru yakaksizza nti Isreal yabasabye okubayamba ku banansi ba Eritrea ne South Sudan abasoba mu 500. Wabula kino kireseewo okwemulugunya…

Read More

Abalaalo batandise kwekweka

Olwokutya okubagobaganya aba-Balaalo batanudde okwekweka mu district ye Lamwo nensolo zaabwe. Kino kikaksiddwa ssentebbe wa LC 3 owe gombolola ye Palabek Ogili, Christopher Omal. Ategezeza nti abansinga kati bekweka mu muluka gwe Padwat mu gombolola eno. Omqwezi oguwedde amagye ge gwanga aga UPDF gatandise ebikwekweto okusindikriza aba-Balaalo okuva mu bitundu bya Acholi. Kino kyadoridde ssalessale eyabaweebwa, okwamuka ebitundu bino…

Read More

Abayizi e Makerere bakwekalakaasa

Bya Ritah Kemigisa File Photo: Abayizi nga bekalakasa Abayizi ku ttendekero e Makerere University balangiridde akegugungo, nga babanja ensonga zaabwe ezibakosa zikolebweko mu bwangu. Bwabadde ayogerako naffe president wabayizi ku ttendekero Papa Were Salim agambye nti kino kyakanyiziddwako, abakuembeze babayizi nga April 14th. Were ensonga ezimu abayzii zebemuugunyako agambye nti kuliko okwongeza kwebisale, obubonero bwabwe obubulankana, obutabawa mmere mu…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play