Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Obwakabaka bukakasizza abamawulire obukuumi

Bya Shamim Nateebwa Ngebula ssaawabusaawa okutuuka ku mazalibwa go’mutanda agemirundi 63, obwakabaka bwa Buganda buzeemu okukassa banamawulire ku kyobukumi. Kino kizeewo oluvanyuma lwebiwayi byabamawuliire abamu abasaaka age Mengo okutegezza nga bwebabadde tebagenda kwetaba ku mikolo egyo olwokutulugunyunyizibwa abakuumi bobwakabaka. Katikkiro wa Buganda yagaana okubaako kyayogera ku nsonga eno oluvanyuma lwobubaka obwasook okuva mu bwakabaka obwategeza nga bwewagenda okubaawo…

Read More

Omusajja eyakuba nnyina avunaniddwa

Bya Ruth Anderah Ekifananyi: Kijiddwa mu bikadde Omusajja owemyaka 23 avunaniddwa noluvanyuma nasindikibwa ku alimanda e Luzira olwokukuba maama we amuzaliira ddala, namutusaako nobuvune. Nuwagaba Bright omutuuze mu Mulimira zone e Bukoto mu division ye Nakawa mu Kampala asimbiddwa mu kooti ya City Hall ewomulamuzi Patrick Talisuna, emisango nagyegaana. Grace Namuli maama womuvunanwa, abadde akulukusa amaziga akalambidde mutabani we…

Read More

Omubaka Nambooze ayitiddwa mu kooti ye Mbale.

Bya Ruth Anderah. Tutegeezeddwa nga omubaka we Mukono Betty Nambooze Bakireke  agendeko mu kooti eno abeeko byaddamu munamateeka wa government Mwesigwa  Rukutana , kubanga amwesunga. Tutegeezedwa nti Nambooze  ono okusinga agenda kutegeeza kooti kungeri gyeyakubibwamu atuuke n'okumenyeka enkizi nga bwagamba, nga bino byona byaliwo mu kaseera abaserikale webalumbira parliament Kati Nambooze asabiddwa okujja n'ebiwandiko kweyafunirako obujanjabi , nga…

Read More

Alipoota ku baana b’okunguudo efulumye.

Bya Ritah Kemigisa. Alipoota ku baana abali ku nguudo eraze nga  abaana bano  bwebaliisibwa akakanja, songa waliwo n’ababasobyako mukiro. Kuno  okunonyereza kwakoleddwa ekibiina ekya  Centre for the Study of African Child wakati mukujukira emitawaana abaana bano gyebayitamu nga bakulira ku nguudo. Twogedeko n’akulira ekibiina kino Joyce Wanican, nagamba nti baakizudde nti abaana bano nga bali ku nguudo eyo…

Read More

Munamateeka wa gavument akalambidde- tetwamenya mateeka mu kukyusa semateeka

Bya Samuel ssebuliba. E Mbale ewali omusango ogw'okujja ekomo ku myaka gy'omukulemebeze we gwanga, munamateeka wa government mumusango guno Mwesigwa Rukutana akaladde n'agamba nti buli kyakyusibwa mu ssemateeka tekirina bwekyataataganya ssemateeka wa gwanga, kale nga kyebaakola kiri mu mateeka. Ono afunvubidde n'agamba nti okukyusa mu ssemateeka buvunanyizibwa bwa parliament nga bulijjo, kale nga kuluno baali banywevu ebitagambika…

Read More

Bafuuweta sigala balabuddwa ku sigala ow’obulabe ali ku katale.

Bya Ivan Ssenabulya. Ekitongole ekiwooza kirabudde banayuganda abakomonta sigala nti beewale okumala gakozesa buli sigala gwebalabye kubanga ow'ebicupuli yeyongedde ku katale. Bano webogeredde bino nga akawungezi akayise bakalaga banamawulire  sigala gwebaakutte nga tali kumutindo era nga mugingirire. Kati bano bagamba nti tebayinza kukakasa bulabe buli mu sigala ono kale nga yenna amukozesa agwana amanye nti ali mumitawaana. Twogedeko ne…

Read More

Abadde Yeyita komisona mu URA bamukutte

Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kiriko omusajja  Muhumuza Simon, gwekikutte ngabaddenga yeyita Commissioner mu kitongole okubba abantu. Bwabadde ayogera ne banamwulire ku wofiisi zaabwe e Nakawa, omukwanaganya wa URA naba bweru Vincent Seruma agambye nti ono bamulondodde, oluvanyuma lwokwemulugunya mu bantu 15, nga kigambibwa nti abadde yakabba obukadde 5 nomusobyo. Ono abaddenga asubiza abantu…

Read More

Uganda ekoze endagaano ne Congo

Bya Benjamin Jumbe Uganda etadde omukono ku ndagaano ne gwanga lya Democratic Republic ya Congo, okwongera okutumbula ebyobusubuzi wakati wamawanga gombi. Endagaano eno erubiridde okujjawo emizizigo mu byobusubuzi ebyokusaza ebyamaguzi, ku nsalo. Minister owebyobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde yataddeko omukono kulwa gavumenti ya Uganda ate minister webyobusubuzi ebisukka ensalo mu DRC trade Jean-Lucien Bussa Tongba nayiwako omukono kulwa…

Read More

Aba KACITA basanyukidde ebbago

Bya Ritah Kemigisa Abasubuzi bomu Kampala wansi wa KACITA batendereezza ekyoleddwa olukiiko lwaba minista okuyisa etteeka lya landlord and tenants bill 2018 ligende mu palamenti. Kati bano bagamba bagala watekebwewo akakiiko akenjawulo, akanatulako ba nananyini bzimbe nabapangisa okwongera okutunula mu tteeka lino. Bwabadde ayogera ne banamwulire oluvanyum,a lwolukiiko nabasubuzi ssentebbe wa KACITA Everest Kayondo etteeka lino lyakuyamba okumalawo…

Read More

Basse Omubbi e Mukono

Bya Ivan Ssenabulya Ekifananyi: kijiddwa mu bikadde Abatuuze ku kyalo Ddandira e Mukono bakoze ekikwekweto ku babbi abagambibwa nti basuze, babatigomya nebattako omu. Abatuuze bategezeza nti ababbi batabnadde ekyalo namajambiya, ennyondo, embazzi nebissi ebirala nga bamenye ennyumba 7 nebakuliita ne ssente eziwerako nebintu ebikalu, ngamasimu, TV nebirala. Kigam,bibwa nti bano balumbye amaka gomujaasi Col. Egesa gyeyakubiddwa essasi, wabula…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play