Bya Ruth Anderah
Ngokuwulira omusango gwokujja ekkomo ku yaka gyomukulembeze we gwanga kugenda mu maaso, waliwo abavubuka abagezezaako okutambula nga babadde bolekera ku kooti enkulu e Mbale.
Wabula bano babadde bakwataganye nebipapula nga bagamba ntibalina emidaali gya zaabu gyebabadde bagala okutwalira abalamuzi.
Bano bagambye nti balina essuubi mu balamuzi bano okukola obwenaknya.
wabula bano poliisi tebaganyizza, kutambula okutuuka.
Gwo omusango…
Bya Ivan Ssenabulya
Abawooza aba Uganda Revenue Authority baliko ssigala awerako gwebaboye okuva mu store meu e Kisaasi, nga kigambibwa nti babaddenga bamukukusa okuva ku mulirwano mu gwanga lya Kenya, okumuyingiza kuno nga tassudde musolo.
Omumyuka wa Commissioner akwasisa amateeka mu URA Agnes Nabwire agambye nti bano babadde bafirizza egwanga omusolo gwa buwumbi 2, gwebepena okuwa.
Abantu 3…
Bya Samule ssebuliba & Ruth Anderah.
Banamateeka abali mu musango ogw’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwana ogugenda mu maaso wano e Mbale basabye kooti okugoba eteeka lyonna, kubanga lyakolebwa nga lyesigama ku nsimbi ezabibwa mu gwanika lye gwanga.
Bwabadde ayogera ku lw'ababaka ba parliament mu kooti eno eya ssemateeka, Erias Lukwago agambye nti tewali teeka likiriza…
Bya Ben Jumbe.
Ebibiina byobwaakyeewa nate bizeemu okuteeka government kuninga nga bano baagala government ebategeeze weetuse mukukola enongosereza mu amateeka g'ebyokulonda.
Bano abeekozemu ekibiina kyabayise Game changer bagamba nti kooti ensukulu mu mwaka gwa 2016 eriko enkyukakyua z'eyalagira zikolebwe mu mateeka g’okulonda, kyoka nakakano mpaawo kyakoleddwa.
Kinajukirwa nti mu mwaka guno kooti yawa ensonga kumi ezeetaga okukolako ,…
Bya Shaimim Nateebwa
Eyafumise mugazi namutta oluvanyuma naye neyesala obulago amaze nafa.
Peter Baguma owemyaka 43 omutuuze we Kazo - Angola ye yavudde mu mbeera n’atemaatema mukyalawe, Prossy Nayebare gw’abadde yayawukana naye emyezi ena egiyise ng’amuteebereza obwenzi.
Ekikangabwa kino kyabdde Mpereerwe mu kifo ekimanyiddwa nga Ku musenyu nga kigambibwa nti Baguma yavudde e Kazo - Angola gy’abadde asula…
Bya Ivan Ssenabulya
Abekibiina kya Democratic Party abavuganya gavumenti, bakyasobeddwa nga babuliddwa okufuna ekiffo webanatongoereza ekibiina ekitaba abaliko mu UYD, oluvanyuma lwaba UMA okubagoba.
Wiiki ewedde ebikonge mu banabyafubuzi abyitako mu UYD balangirira olwanga 2nd May okutongoza ekibiina kino ku UMA e Lugogo.
Bwabadde ayogera ne banamawulire,ssenkaggale wa DP Nobert Moa ategezeza nti aba UMA nebiffo ebiralala byebatukiridde…
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku byalo okuli Bbuto, Ntebetebe ne Kazinga e Bweyogerere mu masekati ga munispaali eye Kiira, bakulumidde abakulembeze bebagamba nti tebabafuddeeko, okubakolera enguudo.
Abatuuze bagamba nti enguudo ezirimu ebinnya, ate enfunda zezivuddeko obubenje obutaggwa.
Bano banenya mayor Julius Mutebi olwokulagajjalira enguudo.
Wabula kino town clerk Godfrey Kiwanuka akitadde ku kiton gole kyenguudo ekya UNRA, nti bebavunayizibwa…
Bya Isaac Otwii
Lira Central Police Station mu district ye Lira eriko omusajja owemyaka 47 gwegalidde, oluvanyuma lwokwewaayo gyebali nga kigambibwa nti yasoose kutta mukyala we owemyaka 48.
Omwogezi wa poliisi mu mambuka ga Kyoga, David Ongom akakasizza nti ono yakirizza okutta Sarah Akidi bweyakomyewo awaka ekikereezi.
Omukwate mutuuze ku kyalo Abor ‘A’ mu gombolola ye Adekokwok mu…
Bya Ritah Kemigisa.
Olunaku olwaleero minister akola ku by’obusubuzi omukyala Amelia Kyambadde akakasizza nga bwagenda okuwayaamu n'abasubula, ko n'okukola seminti mu gwanga bamutegeeze ekiviirideko ebeeyi okwewanika.
Minister ono okuvaayo kyandiridde abantu okwekubira enduulu nga bagamba nti ebeeyi ya seminti erinye ebitagambika.
Minister gy'ebuvudeko yatubuulira nti kirabika waliwo abasubuzi ba seminti abamukweka, kale nga alina okubasisinkana , ensonga zino…
Bya Getrude Mutyaba.
E kalungu abatuuze bakedde kukaawa ,okukakana nga bakide omu kubasibe abaatoloka mu kaduukulu ka kooti e masaka nebamutta.
Attidwa ye Muhammad Galiwango nga ono abadde nemunne Musa-Kidawalime.
Bano okutibwa babade bagezaako okumenya enju yomutuuze ku kyalo mukoko, wabula abatuuze bwebakubye enduulu, nebatandika okumukuba okukakana nga bamusse.
Ye munne Musa Kidawalime aduse wabula kakano police emuyiga.
