Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Pulezidenti ayimiriza eby’okusaba ebikwata ku akawunta z’abantu.

Bya Yasiin Mugerwa. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni alagidde ekitongole ekiwooza okwesonyiwa kaweefube gw’ekibaddeko ow’okulagira banka okubawa ebikwata ku akawunti  z’abantu bonna abatereka ensimbi mu banka zino okuviira dala mu 2016. Amawulire agasomoddwa okuva mu lukiiko lwaba Minister, President okutaama kyadiridde minister w’ebyensimbi Matia Kasaija okusaba cabinet emuwabule kungeri gy’ebagenda okuteeka kino mu nkola. Kati wano President weyasinzidde…

Read More

Omuliro gusanyizaawo amayumba 200

Bya Benjamin Jumbe ne Gertrude Mutyaba Efifananyi: Kijiddwa mu bikadde Abantu abali mu 500 basigadde tebalina wa kwegeka luba ku mwalo gwe Nkese mu district ye Kalangala, oluvanyuma lwomuliro okusanyawo ebyabwe. Omwalo guno gusangibwa mu gombolola Bubeke e Kalangala. Bwabadde ayogerako naffe atwala ekitebbe kya Red Cross e Kalangala Ibrahim Ssenyonga ategezeza nti okwekenneya kwebakoze bazudde nti, omuliro guno…

Read More

Omukazi asse bbaawe lwa mmere

Bya JULIUS OCUNGI Omukazi owemyaka 19 akwatiddwa poliiisi mu district ye Omoro oluvanyuma lwokufumita bbaawe, ekisso mu luyombo olwavudde ku mmere. Entiisa eno ebadde ku kyalo Kati Kati mu gombolola ye Alokolum. Omugenzi ye James Opiyo owemyaka 32 ngomukazi ye Suzan Laker owe 19. Omwogezi wa poliisi mu Aswa Jimmy Patrick Okema akaksizza bino, ngokunonyererza kukyagenda mu maaso.

Read More

Abatuuze balumbye poliisi, bajinenya kutta omusibe

Bya Sadat Mbogo Wabaddewo ensasagge mu bizinga by’e Kkoome mu district ey’e Mukono abatuuze mu kitundu ekyo bwebalumbye police y’e Nsazi nebajoonona, oluvannyuma lw’abasirikale ba police eno babiri okukuba abadde ateeberezebwa okubeera omubbi nebamautta. Kigambibwa nti akawungeezi akayise omusirikale Innocent Token ne crime preventer Andrew Kayiira bakkakkanye ku Stephen Bamunankole abadde agambibwa okubba essimu ya Margret Nalwadda…

Read More

Eyasadaaka omuntu bamusibye mayisa

Bya Ivan Ssenabulya mulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi aliko omuvuvuka gwasibye amayisa bwakirizza omusango gw’okusadaka omuntu. Hassan Isiiko ow’emyaka 32 nga mutuuze we Bulyankuyege mu gombolola ye Buyoba mu district ye Kayunga akirizza nti yasaddaaka omugenzi Yakobo Kayizzi eyali atem era mu myaka 84 eyali mulirwana we. Omuwabi wa gavumenti Ann Kabajugu ategezeza kooti nti…

Read More

Abalamuzi balabudde ku byobufuzi

Bya Benjamin Jumbe ne Ruth Anderah Abalamuzi abawulirirza omusango oguwakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga abatudde ku kooti enkulu e Mbale balabudde abawaaba, bakomye okutobeka ebyobufuzi mu musango guno. Bwabadde ayogerera mu lutuula lwa kooti olusoose, omumyuka wa ssbalamuzi Alfonse Owiny Dolo agambye nti omusanmgo guno gwa bwegendereza nnyo, kalenga tebagwana kuguzanyiramu. Alabudde nti buli eyenonyeza…

Read More

Kooti ya Ssemateeka tenasalawo ku ky’okukunya sipiika wa palamenti..

Bya Ruth Anderah. Kooti etaputa ssemateeka mu Kaseera kano etudde e Mbale egibye okwemulugunya kw'abantu bana, kwabo omwenda abaali bagenza mu kooti eno nga bemulugunya ku kyokujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga. Kinajjukirwa nti abantu mwenda  bebaali batuteyo okwemulugunya kwabwe, wabula kubano  4 okwemulugunya kwabwe kugobeddwa , kale nga kino kitegeeza nti kati wasigadewo okw’emulugunya kw’abantu…

Read More

E jinja e mundu ezuulidwa mu kabuyonjo.

Bya Abubaker Kirunda. Police e Jinja  eriko emundu ekika kya AK47  gyezudde okuva mu kaabuyonjo, nga eno ebadde etutte ebanga nga ekwekeddwa mu kifo kino. Twogedeko n'adumira Police ye Kiira Onesmus Mwesigwa n'agamba nti emundu eno esangiddwa ku kyalo  Edogolo  mu gombolola ye Mafubira. Ono agamba nti emundu eno ezuulidwa omutuuze eyabadde egenze okweyamba, bwatyo natemya ku police Kati…

Read More

E Hoima banamwandu baagala kuliyirirwa olw’okusengulwa.

Bya Kyeyune Moses. Waliwo abakyala abavudde mu kitundu kye Hoima ewasimwa nate  abazeemu okuteeka govumenti  kuninga nga basaba ekola ku nsonga z'okubasasula nga bulyali  naddala abo abaasengula. Bano okusinga nga bakyala banamawandu badukidde eri ekibiina ekitaba ababaka abakyala, nga baagala bayambibwe mu bunambiro. Bano mukujja babade bakulembedwamu Christopher Opio  okuva mu  gombolola ye Buseruka , n'agamba nti okuva…

Read More

Okuwulira omusango gw’okujja ekomo ku myaka gya pulezidenti kutandise

Bya Samuel Ssebuliba. Wetwogerera nga akooti ya Ssemateeka etude e Mbale atandise okuwulira omusango abantu eb’enjawulo mwebawakanyiza eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga. Wabula kooti eno nga etandika wabadewo  okusika omuguwa, omu kubaawaba omusango guno  Male Mabirizi era na yeyewolereza  bwasazeewo okutuuka ku mwanjo ne banamateeka, kyoka abalamuzi nebamutabukira. Amyuka ssabalamuzi Owinyi Dollo amusabye  yesegule ,…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play