Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Minista yetonze olwokulwisaawo ebbago

Bya Sam Sseabuliba Minister omubeezi owebyobulamu Sarah Opendi yetondedde palamenti olwokulwawo okubaga etteeka erya Insure yebyobulamu erya National Health Insurance Scheme Bill. Mu July womwaka oguwedde 2017, ministry eyebyensimbi yayisa certificate of financial, eraga ebikwata ku byensimbi ku bbago lino, nomulanga bano okugenda mu maaso okuvaayo ne bbago, wabula nokutuusa kati bakyetuddeko. Bweyabadde ayanukula ku kwemulugunya okuva mu…

Read More

Abantu babiri bafiiriide mu mazzi wano e Ntebe.

Bya  Paul Adude. Abatuuze be Kitubulu  wano e Katabi bagudemu ekyekango, bwebagudde ku omulambo gw'omusajja ategerekese nga  Ekisaferi Mutege  omutuuze Kajjansi  nga guteyengera ku mazzi Twogedeko ne Katokoozi Mugambwa nga ono y'akulira okunonyereza kubuzzi bw'emisango e  Ntebe nagamba nti baafunye okubagulizibwako okuva eri abatuuze, baagenza okutuuka nga omulambo gukyali mu mazzi. Mungeri yeemu n'abatuuze be Kasenyi  nabo era…

Read More

Banabyamizanyo abaakikirira uganda bakomyewo ku butaka.

Bya Samuel Ssebuliba. Wetwogerera nga banabyamizanyo ba Uganda abaatukikira mu mpaka ez’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza bataka mu Uganda oluvanyuma lw’okuwangula emidaali mukaaga mu mpaka zino. Bano mukutuuka baniriziddwa minister akola ku by'enjigiriza n'emizanyo Janet Kataha Museveni, nga ono obwedda ali ku kisaawe E ntebe abalinze. Nga abakatuuka omu kubawangudde  emidaali nga ono ye Josua Kiptegei ategeezeza…

Read More

Ekomera lye Nalufenya lyakuggalwa.

Bya Moses Kyeyune. Ssabapolice we gwanga Martin Okoth Ochola ategeezeza nga police bweri muntekateeka ez’okuggala police ye Nalufenya,nga eno erudde nga eyogerwako nga ekifo omutulugunyizibwa abantu entakera. Ono okwogera bino abadde alabiseeko mu kakiiko ka parliament akola ku by'okwerinda n'agamba nti mu kaseera kano banamateeka ba police bakyabaga ekiwandiiko ekigenda okugobererwa mukuggala ekifo kino. Ochola okwasanguza bino kidiridde…

Read More

Ssentebbe bamututte mu kkooti lwa mukazi

Bya Magembe Ssabiiti Ssentebe w’eggombolola y’e Kitenga mu district y’e Mubende Gamba Edward akubiddwa mu kkooti e Mubende ng’ekimuzaalidde leenya kwekukwatibwa lubona ne mukomusajja mu loogi. Kigongo Moses omutuuze w’e Budibaga muluka gw’e Kalonga e Mubende y’akubye Ggamba Edward mu kkooti  lwa kuganza mukyala we Kayesu Sarah  gweyasigula, ng’agamba nti yamwanjula era n’awayo ebyabakadde omwali akasiimo ak’obukadde 4…

Read More

Abawaaba bataddeyo enkubira yaabwe

Bya Ruth Anderah ne Ivan Ssenabulya Abawaaba omusango oguwakanya ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga 5 bamalirizza enkubira yaabwe, ku musango ogugenda mu maaso e Mbale basabye, kooti ya ssemateeka esazeemu etteeka eryayisibwa palamenti omwaka oguwedde. Banamateeka abekibiina kya Uganda Law Society, Male Mabirizi, nababaka 6 banokoddeyo ensonga 4 enkulu lwaki etteeka lino ffu eranga ligwana kusazibwamu. Bagambye…

Read More

Ssabapoliisi aweze okukwatanga abantu

Bya Kyeyune Moses Ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth aweze okukwatanga abateberezebwa okubeera abamenyi bamateeka munda mu kizimbe kya palamenti neku kooti. Ochola obweyamu buno abukoledde mu kakiiko ka palamenti akebyokwerinda nensonga zomunda mu gwanga gyatereddwa ku nninga okunyonyola ku bikolwa ebyokukwatanga abantu, oluusi nababeera bakaweebwa okweyimirirwa. Okwemulugunya kuno kuleteddwa omubaka wa Kawempe South Mubarack Munyagwa ngono abadde yebuuza…

Read More

Presisenti Museveni asiinkanye Omulangira Wiliam

Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni has met asisinkanye omulangira wa Bungereza Prince William. Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze we gwanga ku byamawulire Linda Nabusayi, ebisimbiddwako amannyo mu nsisinkano eno kubaddeko, engeri yokukumamu obutonde bwensi, enkulakulana negri yokuyambamu abavubuka. President Museveni ngali mu gwanga lya Bungereza gyeyagenze okwetaba mu lukungaana lwa CHOGM olwa 25th  yawerekeddwako muwala…

Read More

Tiimu ya Uganda mu Commonwealth ekomawo leero

Bya Ritah Kemigisa Abaana battu, abakiridde Uganda mu mizannyo gya Common Waelth egya 2018 mu Gold Coast bakomawo olwaeero okuva mu gwanga lya Australia. Minister owebyenjigiriza nemizannyo era mukomukulembeze we gwanga Janet Kataaha Museveni yaubirwa okwaniriza, abavubuka bano ku kisaawe Entebbe. Okusionziira ku mawulire getufunye ku ntekateeka eno, ekibinja ekisooka kigenda kutuuka ku ssaawa 7 ne dakiika 50…

Read More

Atemyetemye mukala we naye neyetuga

Bya Abubker Kirunda Omusajja wa myaka 35 yetugidde mu nnyumba oluvanyuma lwokutta mukyala we. Badru Malinzi omutuuze we Nasuti mu gombolola ye Nambale mu district ye Iganga yalese abatuuze mu kutya, bweyetuze oluvanyuma lwokutematema mukyala we. Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi ategezeza nti batemezeddwako, abatuuze oluvanyuma lwokwekengeeza obudde bwebugenderedde nayenga tebaggulawo. Mubi agambye nti emirambo jitwaliddwa…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play