Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Omwami wa Minisita Amelia Kyambadde bamuyimbudde

Bya Ruth Anderah Omwami wa minister webyobusubuzi namakolero saako obwegassi Amelia Kyambadde ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gyabadde ku kiboberezo kya myezi . Okusinziira ku mwogezi wamakomera, Wilson Kyambadde ayimbuddwa okuva mu kkomera olwaleero. Kyambadde nga July 10, 2017 omumyuka womuwandiisi wa kooti Flavia Nassuna Matovu yamusindika mu nkomyo bweyalemererwa okusasula akakdde kamu, akamusabibwa ku misango gyokufera…

Read More

Minista wakunyonyola ku musujja oguli e Nakaseke

Bya Kyeyune Moses Minister owa guno na guli mu ministry yebyobulamu Sarah Opendi asubizza nti wakuvaayo nekiwandiiko ekijjudde ku bigambibwa nti waliwo okubalukawo kwerirwadde kyomusujja gwa Congo Crimean Fever mu distrct ye Nakaseke. Opendi abadde ayanukula ku kwemulugunya okwanjuddwa omubaka wa Nakaseke South, Luttamaguzi Semakula ngono atageezezza nti waliwo abantu 22 abateberezebwa okubeera nomusujja guno mu district. Opendi…

Read More

Ababaka 3 abaali bagobwa bakudda mu palamenti

Bya Kyeyune Moses Omumyuka womukyubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Jacob Oulanyah ajjeewo ekkoligo eryali lyatekebwa ku babaka abamu aboludda oluvuganya gavumenti. Ababaka 3 okuli owa minispaali eye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, owa munispaali eye Ntungamo Gerald Karuhanga nowa Kilak North Anthony Akol bebataguluddwa. Wabula 3 abasigadde okuli Allan Sewanyana owa Makindye West, Mubarak Munyagwa owa Kawempe South nowe…

Read More

Gavumenti erabuddwa ku kwewola

Bya Ivan Ssenabulya Ebibiina byobwa nakyewa mu mukago Civil Society Budget Advocacy Group byambalidde gavumenti, ku kwewolanga ensimbi okutaggwa. Bwebabadde banukula kukiwandiiko ekikwata ku mbalirira ye gwanga eyomwaka gwebyensimbi 2018/19, Richard Ssempala okuva mu Uganda Debt Network ebbanja lye gwanga lyafuuka omugugu, ngensimbi nnyingi ku mulundi guno, ezigenda okutekebwa mu kusasula amabanja. Kino bagamba ntin kigenda kukosa ebitongole…

Read More

Ssabasumba Cyprian kizito Lwanga atabukidde gavumenti .

Bya samuel ssebuliba ne Ben Jumbe.     Ssabasumba wesaza ekulu elya kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga azeemu nakikaatiriza nga  bwewatali munadiini yenna alina kakuku ku government  bwekitandise okulagibwa. Ssabasumba era nga y'akulira ekibiina ekya Inter-religious council  agambye nti waliwo abagufudde omuze okukola obwambega ku banadiini, ate nga by'ebazuula babigattamu ebyabwe , okukakana nga batadewo olukonko wakati wa government. Ono…

Read More

Abavuganya mu saza lye Ruhama balabuddwa ku ky’okusiga obukyayi.

Bya ben Jumbe. E Ruhama  mu Distrct ye Ntungamo ewagenda okubeera okulonda okw’okudibwamu , agavaayo galaga nga akakiiko ek'ebyokulonda bwekalabudde abesimbyeewo mu kulonda kuno okwokubaawo ku lw'okuna nti bagwana bagondere amateeka, ko n’okwewala okukozesa ebigambo ebisiga obukyayi. Bano okuvaayo kigidde mukadde nga kakuyege weeno atuuse ku nkomerere, era nga ne leero munna-NRM era omukulembeze we gwanga Kaguta…

Read More

Okusabira omubiri gwa ssabalabirizi Nkoyoyo kugenda mu maaso.

Bya Samuel ssebuliba. Wetwogerera nga okusabira omugenzi Dr Livingstine Mpalanyi Nkoyoyo kugenda mu maaso  wali kukiggwa ky'abajulizi e Namugongo. Okusaba kuno kwetabidwako abantu ab'enjawulo okutandikira ku ssabalabirizi we kanisa ya uganda Stanly Ntagali, omulabnirzi eyawumula  Henry Luke Orombi, katikiro wa Buganda Charlse peter mayega,  ssabaminister wa uganda Ruhakana Rugunda,  omumyuka wa Presiident Kiwanuka ssekandi, muft wa uganda…

Read More

Abe Masaka baakoledde Ssekandi akabaga

Bya Gertrued Mutyaba Abatuuze mu Bukoto Central bakoledde omumyuka womukulembeze w’egwanga Edward Kiwanuka Ssekandi akabaga akamuyozayoza okukwata ku ssemateeka. Bano basinzidde Kyanamukaaka nga bakulembeddwamu sipiika w’egombolola Mudashir Bbaale nebagamba nti abakristu kyonna kyebaakola okungoola Ssekandi mu kkanisa kyali kikyamu. Abatuuze beeyamye okuddamu okumunonyeza akalulu mu kisanja ekiddako.

Read More

Namungi womuntu yetabye mu kusabira omugenzi Nkoyoyo

Bya Ivan Ssenabulya Olwaleero nasisisi womuntu yeyiye ku lutikko e Mukono mu kusabira omwoyo gwomugenzi, eyali Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Dr. Livingstone Mpalanyi. Omugenzi Nkoyoyo asimiddwa nokumwogerako amakula olwemirimu gyokusumba ekkanisa,. Okusaba kubadde ku St. Philips and Andrews Cathedral e Mukono. Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Stanley Ntagali has akungubagidde, omugenzi. Kitaffe mu Katonda mu bubaka bwe, ategezeza nti…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play