Bya Ndaye Moses
Ekitongole kye tterekero lyomusaayi ekya Uganda Blood Transfusion Services kigamba nti waliwo obwetaavu bwomusaayi unit eitwalo 6 ku unit emitwalo 30 mu malwaliro amanene gebalubirira mokwetoola egwanga.
Ssenkulu wekitongole kinio Dr. Dorothy Kyeyune agamba nti kino kyeralikiriza, kubanga abantu tebafuddeeyo okuba omusaayi eri abayinza okugwetaaga.
Okwogera bino abadde atongoza kawefube owokugaba omusaayi mu gwanga.
Kati agamba…
Bya Damalie Mukhaye
Omumyuka wakulira ebyenjigiriza ku ttendekero e Makerere avunaniddwa mu kooti ewuliriza egyabali benguzi, emisango 4 egyekuusa ku buli bwenguzi nokukozesa obubi wofiisi ye.
Etuusa Lubega Loy Margaret kigambibwa nti aliko byeyadibaga mu mattikira ge ttendekero agomulundi ogwe 67th.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Muhumuza Edward lugamba nti Etuusa yekobaana namakampuni agamu nabantu ssekinoomu, nagagkukusa okugawa emirimu ku…
Bya Benjamin Jumbe
Kikakasiddwa nti eyaliko minister w’ebyobulamu Dr James Makumbi afudde.
Makumbi yaliko omubaka we ssaza lye Baale, ngafiride mu maka ge Kayunga.
Aboluganda bwetwogedeko nabo bagamba nti Dr Makumbi abade yagenda mu maka ge age Kayunga okuwumulako, wabula adusiddwa mu dwaliro kipayoppayo ngembeera etabuse, era tewayise dakiika nebabategeeza amawulire gokufa kwe.
Omugenzi yakolako ngakulira eby’obulamu mu magye…
Bya Damali Mukhaye .
Tutegeezeddwa nga banna FDC bwebatandise kaweefube ow'okukunga banna- uganda baboole ababaka bonna abawagira eky'okujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga.
Bwabade ayogerako ne banamawulire wali kukitebe kya FDC e Najjanakumbi,President wa FDC Patrick Amuriat agambye nti bagenda kusomesa banna- uganda bakimenye nti ababaka bano 317 kyebaakola kyali kikyamu, kale nga okubabonereza kubeegobako babuleko…
Bya Ritah Andreh.
Agava mu kooti galaga nga omuvubuka aludde nga yeeyita omugaga w’omukampala nga ono ye Brian Kirumira eyeeyita Bryn White kyadaaki bwawereddwa okweyimirirwa, nga ono emisango egimutawanya gyakugezaako okutta omuntu
Omuvubuka ono yasindikibwa e Luzira mu December 21st 2017 , kubigambibwa nti yakuba omusajja Victor Bitwire esasi mu bulago kate amutte.
Kati amakya ga leero Brian…
Bya Samuel ssebuliba.
Mu kenya agavaayo galaga nga omukulembeze w'omukago gwa NASA Raila Odinga kko n'omumyukawe Kalonzo bwebakaksizza nga bwebagenda okwelayiza nga January 30 bakole kyebayise people’s government.
Bano bagamba nti olunaku bamaze okulusalawo, era nga tebagenda kubaako kyebakyusa.
Ggyebuvudeko omukulu Odinga yategeezeza nti okwelayiza bagenda kuba tebalaze mululu gwabyabufuzi, wabula kino bakikoze kulaba nga banunula egwanga okuva…
Bya Ivan ssenabulya.
Wetwogerera nga okusabira omwoyo gw'omugenzi eyaliko ssabalabirizi w’e kanisa ya uganda Kitaffe mu katonda Livingston Mpalanyi Nkoyoyo kugenda mu maaso mu kanisa ya St Philips and -Andrews Cathedral e Mukono ewali okusaba okw’okukungubaga.
Tutegeezeddwa nti e kanisa ebooze enkuyanja y'abantu abazze okubaawo mu kusibula omukulu ono eyaliko omulabirizi w'obulabirizi buno nga tanakuzibwa kufuuka ssabalabirizi.
Bino…
Bya Ben Jumbe.
Gavumenti ya uganda enkungubagidde eyaliko omulabirizi w’e kanisa ya Uganda kitaffe mukatonda Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo eyafudde olunaku lw’egulo.
Nga ayogerako ne Radio eno ssabaminisita wa Uganda Dr Ruhakana Rugunda omugenzi amwogeddeko nga nga omuwerezza wa Katonda omwesimbu era nga ono abadde mpagi luwaga mu kutabaganya abantu mu kanisa kko ne gwanga lyonna
Ssabaminisita ategezezza nga…
Bya Ben Jumbe.
Omukulembeze we gwanga lino Yoweri Museveni awabudde abavubuuka mu gwanga okwewalira ddala ebibinja ebikyamu ebiyinza okubawaga okwetaba mubuzzi bw’emisango
Pulezident okwogera bino abadde ayogerako eri abavubuuka abawereredde ddala 800 okuva mu mambambuka ga Ankole abetabye mulukugaana lw’eddini olwenakku 3 ku somero elya Kaaro High School e Nshwerenkye Kiruhuura district .
President agamba nti abavubuuka betaaga…
Bya Shamim Nateebwa.
Katikkiro wa Buganda Owek. atenderezza omugenzi Livingston Nkoyoyo , nga ono amwogedeko nga alese omukululo mukwafu mu byediini,obwakabaka,kko nenkulakulana.
Mububakabwe, katikiro agambye nti ono bweyali e Mukono ng'Omulabirizi yakola ebintu bingi, mu kaweefube wokuzimba Church House yateekamu nyo amaanyi okulaba nga eggwa newankubadde afudde tenaggwa.
Ono amutenderezza olw'okuwoma omutwe mukuzimba ekuumiro ly'ebyafaayo e Namugongo…
