Bya Ritah Kemigisa.
Abasubuzi b'omu kampala wansi w'ekibiina kyabwe ekibataba ekya KACITA kyenyamidde olwa Kenya okugaana emotooka ezisabazza abantu okutambula mukiro, nga bagamba nti kino kyakukosa abasubuzi ba uganda abasula mu gwanga lino.
Ssentebbe wa KACITA Everest Kayondo agamba nti kino kyakukoosa abasubuuzi, kubanga olugendo olubadde olwenaku 3 lufuuse lwanaku 6 ekitegeeza nti abasubuuzi bakwongera kumsimbi zebatambuza
Bya Shamim Nateebwa.
Abakuggu muby'obulamu balabudde abantu abeeyunira okukozesa kabuyonjo ez'okutuulako, nga bagamba nti zino zandiba ez’obulabe ggyebali
Twogedeko ne Dr. Ambrose Nuwagaba okuva e Mulago n’agamba nti Omuntu akozeseza kabuyonjo ey'okusitamako ayanguyirwa okufulumya obubi okusinga oyo atuddeko obutuuzi , kale nga kino kikendeeza emikisa egyokufuna kookolo wekyend, amayinja mu lubuto n’ebirala.
Mu ngeri yeemu Dr Ambroze…
Bya Abubaker Kirunda.
E Iganda Police ekutte abantu 30 nga bano bateberezebwa okwetaba mu bumenyi bw'amateeka mu bikujuko ebyamalako omwaka guno .
Twogedeko n'ayogerera police James Mubi nagamba nti abaakwatibwa baali benyigidde mukubba amasimu, okunyakula obusawo bwabakyala kko nebirara
Ono agamba nti mukaseera kano abakwate bano baggwalidwa ku police ye Iganga nate gyebanagibwa okutwalibwa mu kooti
Bya Samuel ssebuliba.
Ssaabaduumizi wa poliisi ye ggwanga Gen Kale Kayihura alagidde aduumira poliisi ya Bukomansimbi n’abasirikale be okukola sitetimenti ku butya abantu baatemuddwa nga kubbo mpaawo ategedde.
Ono okwogera bino asinzidde mu kuziika omusirikale wa poliisi eyawummula Denis Ssebugwawo Lumala eyattiddwa ku Monday bakijambiya abatanategeerekeka n’agamba nti poliisi ya Bukomansimbi teyakola kimala kukuuma bantu.
Kayihura yeyamye okuwa…
Bya Ruth Anderah.
Kooti enkulu egobye omusango gw’ababaka omukaga gw’ebatwalayo nga bawakanya ekya Sipiika okubagoba mu parliament mungeri gyebagamba nti yali emenya amateeka.
Bano okuli Allan Ssewanyana, Mubarack Munyaggwa, Gerald karuhanga, ssemujju Nganda, Jonathan Oduru ne Anthony Akol sipiika yabalanga kumuyisamu maaso palamenti bweyali eteesa ku ky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Kati bano leero bakedde mu…
Bya Dmalie Mukhaye.
Oluvanyuma lw’akakiiko akanonyereza ku mivuyo gye Makerere okufulumya alipota yaako nga eraga nga bwewaaliwo okubba ensimbi okuyitiridde mu tendekero lino, ye amyuka akulira etendekero lino Prof Barnabas Nawangwe ategeezeza nga bwebatadewo akakiiko ak'enjawulo okwetegereza alipoota eno.
Ono agamba nti president bweyamala okufuna alipoota eno yabalagira okwetegereza buli ekiri mu alipota ,byebazudemu babikoleko nga bakwatagenyeeko…
Bya Shamim Ntaeebwa
Eddwaliro ekkulu erye Mulago liubidde nabalwadde 34, abataliiko bibogerako nga baletebwa poliisi mu biseera bye nnaku enkyulu.
Omwogezi we ddwaliro Enock Kusasira agamba nti abasing baletebwa ku myakya ga 1st nga 11 bakyala.
Bano kati baliwo ku buyambi bwabazira kisa, okufuna akokulya.
By Magambe sabiiti.
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Lusalira mu gombolola ye Kibalinga e Mubende bwebazudde omulambo gwa mutuuze munabwe eyabula nga gusulidwa mu kidiba kya mazzi.
Abatuuze bategezezza nga Akolimaana Jatodiya owe myaka 30 bweyabula nga 31 / Dec omwaka oguwedde nga ono yali agenze okujaganya okumalako omwaka.
Atwala Police ye Kibalinga Masereka Deo agamba nti bakyanonyereza…
Bya samuel ssebuliba.
Ssabapolisi wa Uganda Gen Kale Kayihura ategeezeza nga Police bwegenda okujjayo n’agomubuto eyigge abatemu nate abazeemu okutemula abantu mu maserengeta ga Uganda.
Mukaseera kano abantu 5 bebakattibwa , kko n’okulumya abalala 12 nga omu kubattidwa muserikale ey’awumula
Ebyalo ebyalumbiddwa kuliko Kiryasaaka ekisangibwa mu gombolola ye Kingo , Kisojjo, Kyabagoma ne Kyamabaale ebisangibwa mu gombolola ye…
Bya Sam Ssebuliba
Oluvanyuma lwomukulembeze we gwanga okuteeka omukono ku tteeka eribadde mu bubage, eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze, ebibiiba byobwanakyewa byogedde.
Olwaleero kikakasiddwa nti Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni nga 27 December yateeka omukono ku teeka lino.
Bwabadde ayogerako ne KFM, omukwanaganya wemirimu mu kibiina kya Citizen’s Coalition for Electoral Democracy in Uganda, Crispy Kaheru agambye…
