Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Mu kenya akabenje katuze abantu 30.

Bya samuel Ssebuliba. Mu gwanga lya Kenya agavaayo galaga nga abantu 36 bwebafudde nga kino kidiridde akabenje okugwa  ku luguudo olugatta  Nakuru-Eldoret. Kano akabenje okugwaawo kidiridde ekimotaka ki lukululana okuukoonagana ne bus , okukakana nga abadde avuga tulera  n'omuyambiwe bafiridewo. Ayogerera police eya Rift Valley Zero Arome , agamba nti bus ekoze kino ebadde eva busia Abalumiziddwa batwaliddwa mu…

Read More

Emundu ezuulidwa mumaka ga namukadde.

Bya samuel ssebuliba. Police mu district ye kisoro  eriko emundu gy’ezudde, ko n’ebikozesebwa banamagye ebirala omubadde ensawo, ko n’ebyambalo , nga bino bigiddwa e Bunagana kunsalo ya uganda ne  Congo. Elli Matte ayogerera  police mu kigezi agamba nti ekikwekweto ekizudde bino kibadde kikulembedwamu omubaka aduumira police yeeno Denis Namuwoza. Ono agamba nti police okusalawo okukola ekikwekweto…

Read More

UNEB etadise okugolola ebibuuzo ebyakolebwa mu 2017.

Bya Damalie Mukhaye. Ekitongole ekikola ky by’ebibuuzo mu uganda ekya UNEB kitandise okugolola ebibuuzo by’abaana eby’akamaliririzo ku mitendera gyona ebyakolebwa mu 2017. Mu mwaka guno abaana abasoba mu kakade bebaakola ebibuuzi ku mitendera esatu  kuli ogwa P7, S.4 ne S.6 , nga bino byakomekerezebwa nga 20 omwezi guno ogwa December . Twogedeko ne ssabawandiisi wa UNEB Daniel Odongo…

Read More

Bankuba kyeyo baakugasa e gwanga.

Bya samuel ssebuliba. Banka enkulu eya Uganda etegeezeza nga bweyagala okulaba nga ensimbi eziva mu bankuba kyeyo bano abakolera ebunayira zitandika okugasa egwanga. Mmukaseera kano buli mwaka bano baleeta mu uganda ensimbi eziweza akawumbi ka dolla kalamba, wabula nga zino zikola ku byakuzimba mayumba gaabwe, kusasula bisale byamasomero, kko n’ebirara ebitali byakuzizaazamu. Kati bwabadde ayogerera mu tabamiruka…

Read More

Ab’ekibuli balaajanidde president ku ky’ekomo ku myaka.

Bya Shamim Nateebwa. Agava  wano ku   kasozi kibuli  galaga nga amyuka supreme Mufti Sheik Muhammad Kibaate bwasabye omukulembeze we gwanga okugaana okuteeka omukono ku bago ly’eteeka ely’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, wamu n'okweyongeza emyaka okuva ku etaano gifuule musanvu kubanga kino kyabulabe eri egwanga. Bwabadde asaaza Juma ya leero, Sheik Kibaate agambye nti ababaka abeefula…

Read More

Amakomera 30 gegazimbiddwa mu 2017.

Bya Samuel ssebuliba.   Ekitongole ekikola ku by’amakomera  kitegeezeza nga omwaka 2017 bwegutatabadde bubi gyebali kubanga basobodde okuzimba amakomera agawerere dala 30, kko n'okudabirizza agawerako. Kinajukirwa nti mu kaseera kano uganda erina amakomera 290  gokka nga gano gegatereka abasibbe abawerera dala 55,784 abali mu gwanga. Twogedeko n'ayogerera eby'amakomera mu uganda Frank Baine  n'agamba nti amakomera agaamanyi gazimbiddwa gamba nga…

Read More

Amateeka ku biriroliro gafulumye.

Bya Damalie Mukhaye. Police eriko amateeka amakakali g’efulumizza, nga ganno gegagenda okulambika abagenda okutulisa ebiriroliro  eby’aniriza  omwaka 2018. Ayogerera police eya uganda Emilian Kayima agambye nti ebifo byokka ebyaafunye olukusa by’ebigenda okukirizibwa okutulisa ebiriroliro bino okwetoloola uganda. Ono agamba nti buli eyafunye  olukusa yalagiddwa okutulisa okumala edakiika  5 zoka , era nga ebifo 921 byebyafunye olukusa.

Read More

Akabenje akagude e kabaale kasse basatu.

Bya Samuel Ssebuliba. Abantu basatu bebasirikidde mu kabenje, akagudde ku kyalo Kakatunda ku luguudo lwe Kabale-Mbarara, mu Bugwanjuba bwe gwanga. Akabenje kano kabaddemu Taxi number UBA 274/U ne Raum  namba UAU 460/W. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu tundutundu lya Kigezi, Elli Matte omugoba wa taxi ategerekese nga Ronald Gumoshabe yayingiridde owa Raum bwenyi ku bwenyi. Abantu…

Read More

Rwanda eweze enyama eva mu south Africa.

Bya samuel ssebuliba.   Government ya gwanga Rwanda esazewo okuwera enyama n’ebirara byonna ebiva mubisolo kko n’ebinyonyi ebiva mu South Africa nga kino kivudde ku kirwadde ekyalumba egwanga lino. Ekiwandiiko ekivudde mu ministry ekola ku by’obulunzi kirambise nga okuwera kuno bwekukoleddwa okugema okusasaana kw’ekirwadde kino mu Rwanda. Mukaseera kano ekirwadde kino kyakatta ebisolo 60, songa Rwanda egula enyama eweze…

Read More

Embogo zirumbye ebyalo mu district ye Kyotera.

Bya Malik Fahad. Mu district ye Kyotera abatuuze bali ku bukenke , nga kino kidiridde embogo okukulumba ekitundu kino. Ebimu kubifo ebikyasinze okukosebwa kuliko Nakatoke mu gombolola ye Kijonjo . Abatuuze bagamba nti  embogo zino ziyinza okuba nga zaduse mu kuumiro ly’ebisolo elya Mburo national mu district ye  Kiruhura . Bano bagamba nti embogo zino zimazeewo ebirime byonna- kyebagamba…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play