Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Ebyokoola byokezza amayumba.

Bya Abubaker Kirunda.   E Bugiri waliwo ebigambibwa okuba eby’okoola ebitaamye, okukakana nga byokezza enyuma zabatuuze musavu. Eno enjega egudde ku kyalo Busanzi mu gombolola ye  Kapyang. Abdallah Kutega  nga ono ye ssentebe w’ekyalo kino agambye nti omuliro ogumazeewo enyumba zino gwavudde ku mabaati. Ebintu byabukadde byebitokomose, wabula nga mpaawo Muntu alumiziddwa.

Read More

Ababaka ba palament omukaaga abaagobawa bakuliyirirwa.

Bya Ruth Anderah. Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Margaret Oguli Oumo  alagidde sipiika  wa parliament Rebecca Kadaga  okuliyirira ababaka ba parliament omukaaga ensimbi zonna zebazze bakozesa okugenda mu kooti, kyoka ye nga agaanye okulabikako . Kinajukirwa nti sipiika sabiiti ewedde aliko ababaka 6 beyagoba mu parliament nga abalanga kusiiwuka mpisa, kyoka bbo nebadukira mu kooti Kati leero…

Read More

Eddwaliro lye’Mulago litubidde nomulambo

Bya Shamim Nateebwa Edwaliro lye Mulago litubidde nomulambo gwomusajja atanategereke gwebakubye emiggo bwebamuteberezza okubba mbuzi. Okusiziira ku alipoota eyakoledwa poliisi ye Kawolo ono gyeyagyidwa ngataawa yakubidwa abatuuze be Sagazi-Lugazi oluvannyuma lwokumusanga mu kiro ngasikaasika embuzi 3 wabula bwebabubuzizza gy'azitwala n'abaddamu byebatakirizza kwekumukuba. Oluvannyuma lw'okumukazaakaza ennyo yabategeezezza nti mutuuze w’e Namataba  ng’olumu abeera Namawojjolo kwe kumubuuza ekyamuleese e Lugazi…

Read More

Gavumenti yasubiza byoya bya’nswa

Bya Ivan Ssenabulya Abatuuze be Kimmi mu bizinga bye Koome mu district ye Mukono basabye gavumenti okutukiriza ebisubizo byayo, gyebali. Kinajjukirwa mu September womwaka guno, ekizinga kino kyakwata omuliro, amayumba, amaato, obutimba ne yingini nebisanawo. Adolf Mbaziira, yoomu ku bakulembeze e Kimmi, agamba nti abakulembeze bangi batuukako yo, naye byebasubiza nokutuusa kati tebabirabanga.

Read More

Obukadde 27 bawandisiddwa

Bya Ritah Kemigisa Ekitongole ekivunayizibwa ku kuwandiisa abantu mu gwanga ekya National Identification Registration Authority (NIRA) kigamba kisobodde okuwandiisa abantu, okufuna ebibogerako. Bwabadde ayogerako naffe, opmwogezi wekitongole, Gilbert Kadilo agamba nti bann-Uganda obukadde 27 bebakawandiisa, nga kuliko abayizi obukadde 10.5 ate abantu abakulu obukadde 16 nebaweebwa ne nendaga muntu. Kinajjukirwa mu May owomwaka guno, NIRA yalangirira era netandika…

Read More

Poliisi erabudde abagenda okukyakala ku Beach

Bya Ben Jumbe Poliisi esabye bannyini biffo ebisanyukirwamu, okunyweza ebyokwerinda obutabaawo Muntu yenna gwebayingiza nga tebamaze kumwekebajja obulungi. Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemriraano, Luke Owoyesigyire agamba tewali kakisa konna kebalina kuwa bamenyi mateeka, oba abandikola obulabe. Mungeri yeemu ono alabudde  aganeda ku mbalama ze nnyanja oba ku beach okugoberera amateeka agatereddwawo, gebalina okunyukirako. Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa…

Read More

Poliisi ewakanyizza ebyokulumba wofiisi za CCEDU

Bya Benjamin Jumbe Poliisi ewakanyizza ebyogerwa abekitongole kya Citizens Coalition of Electoral Democracy in Uganda nti waliwo abakwata mmundu abalumbye wofiisi zaabwe e Nsambya. Gyebwavuddeko omukwanaganya wemirimu gyekitongole Cryspy Kaheru yategezeza nti waliwo abatamanya ngamba abalumbye wofiisi zaabwe, nebakuba omukuumi nebakuliita ne mmundu ye. Wabula omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima, wabula omukuumi ategerekese nga Ronald Kyebambe…

Read More

Poliisi yakubye omudigize amasasi nafa

Bya Abubaker Kirunda KAMULI Police e Kamuli yetonze olwekyabaddewo bwebakubye, omusajja amasasi eyabadde agenze okujaguza sekukulu mu kisaawe e Kamuli. Dan Nsubuga Kirunda omutuuze we Namayira mu ggombolola ye Bugulumbya yakubiddwa amasasi agamusse, poliisi bweyabadde ekakanya abantu ababadde mu kujaganya ate nebakkira okulwanagana nabategesi bebivvulu. Kigambibwa nti abategesi balemerereddwa okuleeta abyimbi bebalanga. Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play