Abaana 75 awamu beazaliddwa mu malwaliro ga Kampala okuli Kawempe, Naguru, Nsambya, Rubaga ne Mengo.
Kuno kubaddeko abalongo emigogo ebiri, bebazalidde e Kawempe nabalala mu ddwaliro e Nsambya.
Ba maama 12 bebalongoseddwa, nga 9 balongoseddwa mu ddwaliro e Kawempe ettabi lye Mulago, 1 e Naguru ate 2 mu ddwaliro e Mengo.
Okusinziira ku mwogezi we ddwaliro lye Kawempe,…
Bya Magembe Sabiiti
Abasibe mu kkomera lye Kaweri mu disitulikiti ye Mubende bafunye akamwenyumwenyu ku matama, bannadiini mu Kigo kya Our Lady of Fatima e Mubende bwe babakyaliddeko okulaba embeera gyebalimu n’okubawa obubaka bwamazalibwa.
Banadiini bagamba nti basanze ngabasibe bangi balwawo okuwozesebwa n’omujjuzi nga mungi mu buddukulu.
Abamu ku basibe abogeddeko naffe bategezeezza nga bwebakwatibwa ku misango gy’okutta abantu abalala gya nkayana za…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyamakomera mu gwanga kigamba nti bwabadde buwanguyizi okuyita mu ssekukulu nga tewali, buzibu bwonna.
Okusinziira ku mwogezi wekitongole, Frank Baine mu nnaku enkulu watera okubaawo abagezaako okutoloka, okulwanagana nabamu okufa wabula ku mulundi guno, ekitabaddeewo.
Agamba abasibe bali mu mirembe, waddenga tebalina birabo byakugaba.
Bya Shamim Nateebwa
Olwaleero Boxing Day olunnaku olwokugabirako ebirabio eri abemikwano nabenganda.
Wabula abamu wetwogerera bakyali mu bukoowu oba hangover olwe mmere nebyokunya byebabaddemu olunnaku olwe ggulo.
Kati abakuggu mu byobulamu bawabudde nti mu mbeera eno, abantu balina okukola ku dduyiro mu gandaalo, okusobola okukuba ku mmere namasavu byebepakidde olunnaku lwe ggulo.
Dr. Charles Kasozi omusawo e Mulago era…
Bya Ivan Ssenabulya
Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye wabeewo emirembe mu gwanga, okuviira ddala mu maka.
Omulanga gwegukulembeddemu, okusaba okunabuna mu nsi yonna, nga 1st January ku ntandikwa yomwaka okwemirembe, enkola eyatandikibwawo paapa.
Ssabasumba asabye abakulembeze okugoberera enfuga eyamateeka, okusobola okukuuma emirembe mu gwanga.
Bya Ivan Ssenabulya
Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, Stanley Ntagali nate alangiridde omwaka 2018, ngogwamaka.
Omwaka guno, 2017 gwalanagirirwa okubeera ogwamaka nga bwebubadde obubaka okwetoola amakanisa mu gwanga, nomulanga ganywezebwe.
Ssabalabirizi agammbye nti mu mbeera eyo, bakugenda mu maaso, kubanga amaka gyemirandira gye gwanga.
Bya Benjamin Jumbe
Ababaka okuva mu kibiina kya NRM abalonda okwawukana ku kusalawo kwekibiina, ku nsonga yokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bagamba betegese okusisinkana ssentebbe wekibiina, kavuna banayitibwa.
Kino kidiridde olukiiko olwabaddewo wiiki ewedde, nga kigambibwa nti basazeewo President Museveni okusisnkana ababaka bano, okuwayaamu.
Bwabadde ayogerako naffe, omu ku babaka bano Dr Sam Lyomoki agambye nti…
Bya Benjamin Jumbe
Poliisi etegezeza nti ebikujjuko bya ssekukulu, okwetoola ekibuga ekikulu Kampala, byabadde bya mirembe okutwaliza awamu.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Luke Owoyesigyire, tewabaddewo nnyo buzibu.
Agamba nti waddenga tewabaddewo nnyo bumenyi bwamateeka naye ebikwekweto byabwe byakugenda mu maaso.
Bya Ndaye Moses
Omumyuka womukulembeze we gwanga Owek. Edward Kiwanuka Ssekandi nga naye asabidde Rubaga, abase akazindaalo nawolerezza ennongosereza ezakoleddwa mu ssemateeka we gwanga.
Agambye nti yoomu ku bakola ssemateeka wa 1995, kyabadde kigwanidde, kubanaga batekamu akawayiro ssemateeka okukwatwako.
Wabula asanze akaseera akazibu, okunyonyola abakirzza bwebatanudde okuvuvuuma nokumukuba olube olwebyo byabadde ayogera.
Ssekandi wabula asabye abantu okubeera abakakamu, nti…
Bya Shamim Nateebwa
Kamala byonna wa Buganda awabudde abakulembeze okuwulirizanga abantu baabwe.
Owembuga agamba nti obukulembeze ku mitendera gyonna butambulira ku bantu, kalenga balina okubategera okuttu okubawuliriza.
Charles Peter Mayiga abadde mu kusaba kwa sekukulu wali ku lutyikko e Rubaga, ngaebigambi bye abyesigamizza kungeri ennongosererza mu ssemayteeak gyezakoleddwamu.
Wabula asabye abantu obutagwamu ssuubi.
