Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Kkereziya evumiridde ekibba ttaka

Bya Magembe Ssabiiti Kkleziya Katolika evumiridde ekibba ttaka ekisusse mu gwanga ekirese abawerako, nga babundabunda olw'ebibanja byabwe okutwalibwa abagagga nabamu nebagwera mu makomera. Bwannamukulu we Kigo kya Our Lady of Fatima e Mubende Fr Emmanuel Mwerikande asinzidde mu kuyimba Missa eya mazalibwa g'omwana wa Katonda navumirira ekibba ttaka e Mubende. Fr. Mwerikande agambye nti abantu 80% abali makomera nga basibiddwa…

Read More

Abantu beralikirivu

Bya Gertrude Mutyaba Namungi w’omuntu yeyiye ku lutikko e Kitovu okukuza amazaalibwa ga Yezu Kristu. Mu missa gy’ayimbye, omusumba w’essaza ly’e Masaka John Baptist Kaggwa avumiridde embeera eri mu gwanga n’agamba nasaba wabeewo obukakamu nokukaanya kuba Omulokozi azaaliddwa. Ategeezezza nti abantu bangi bali mu buyinike naye n’asaba bekikwatako bayimukiremu bataase egwanga. Omusumba  Kaggwa era avumiridde bakijambiya abakyalemedde ku ttemu n’asaba Katonda ayambe…

Read More

Ssabasumba Kizito Lwanga avumiridde abatatana baanwe

Bya Ndaye Moses Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abantu bakomye, okwenyigira mu bikolwa ebitatana amannya ga banaabwe. Ssabasumba abadde mu kitambiro kya mmisa gyayimbye ku Lutikko e Rubaga, nagamba nti abamu bakidde banaabwe okusanyawo ekitiibwa kyabwe, ekigwana okukoma. Mu biralala avumiridde okusanyawo kwobutonde bwensi, ekiviriddeko okukosa abantu bangi. Ategezeza nti awatali kubunya engiri…

Read More

Ssabalabirizi agamba Yesu yanalokola mu bikolwa ebikyamu

Bya Ivan Ssenabulya Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, His Grace Stanley Ntagali asabye bann-Uganda okwaniriza omulokozi Yesu Christ o kubanga ye mulangira owemirembe atuzaliddwa. Ono avumiridde obwononefu mu nsi, okuli obuseegu mu bavubuka, okwambala obubi, obutabanguko mu maka nebiralal, ngasinzidde wali mu kusaba kwakulembeddemu ku kkereziya Yabatukuvu bonna e Nakasero. Ategezeza nti Yesu yekka yayinza okulokola ensi eno,…

Read More

Omulabirizi Kityo Luwalira Abantu baweddemu amaanyi

Bya Benjamin Jumbe Omulabirizi we Namirembe Kitaffe mu Katonda, Wilberforce Kityo Luwalira asabye abakulistaayo, okwoleka okwagala kwa Katonda eri egwanga ate nokwekubirizanga buli kadde. Buno bwebubadde obubaka bwe mu kusaba kwa sekukulu, nagokoddeyo ebigenda mu maaso mu gwanga, ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bwejajiddwa mu ssemateeka. Agamba mu mbeera eno, enjuuyi zonna gavumenti nabajivuganya, balina okukulembeza Katonda. Agamba…

Read More

Obubaka bwa Besigye obwa ssekukulu

Bya Ritah Kemigisa Eyali presidenti wekibiina kya FDC asabye banna-Uganda okwolesa okwagala nobumu, nga Katonga bwakitusubiramu. Okusinziira ku Besigye egwanga litubidde mu kusomozebwa okwamanyi wabulanga abantu batekeddwa okweyagala nokubeera obumu. Besigye agamba nti mu nnaku zino enkulu abalinawo bagwana baddukirire abali obubi. Bino nebiralala byeytadde mu bubaka bwe obwa sekukulu eri egwanga.

Read More

Ebbeyi yenyama erinnye

Bya Shamim Nateebwa Mu lufula ketalo, wano mu Kampala. omwogezi wa Kampala City Traders Abattoir, Wilberforce Mutesasira agamba nti ente 1000 zezaleteddwa ezigenda okusalibwa, nga waliwo enjawulo nenne nnyo bwogerageranya ku nte 250 ezibaddenga zisalibwa emyaka egye mabega.   Ate yyo ebbeyi yenyama einnye. Kilo evudde ku 10,000/- okudda ku 1,5000/- midaala egyenjawulo. Enkoko ,kati eri mu mitwalo 5 ne 8…

Read More

Abasalira ennyama awakyamu balabuddwa

Bya Ndaye Moses Ekibiina ekigatta abakinjaanji mu gwanga ekya Kampala Butchers and Traders Association, kirabudde abantu obutentantala kumala gatekawo bifo awakutemerwa enyama ebyekimpatiira. Okusinziira ku Ssentebe wekibiina kino ekya KABUTA, Hajji Musa Ssenabulya agambye nti mu kiseera kino ebisolo bingi birimu obulwadde ngabalowoleza mu kutema ennyama olwe kinyumo kakubajutuka. Hajji Musa Ssenabulya agamba bagenda kulawuna, nga bakozesa nobukessi,…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play