Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Poliisi eyongedde amaanyi mu bikwekweto

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi eyongedde amaanyi mu bikwekweto byayo ku nguudo mu nnaku ino enkulu. Omwogezi wa poliisi yebidduka mu gwanga, Charles Ssebambuliidde agambye nti okuyita mu FIIKA SALAAMA ne TEMBEYA SALAAMA, bagala kukwata abamenya amateeka gokunguudo, ngabavuga emmotoka zebatatekeddwa okusinziira ku permit zaabwe, okuvugisa ekimama, okuvuga nga banywedde nebiralal. Alabudde naddala abavuga mmotoka zabasabaze mu biseera bino,…

Read More

E masaka police efulumiza amateeka ku bakinjagye.

Bya Malik Fahad E Masaka Police eyisizza amateeka kukusala ebisolo , kino kikoledwa kwewala abayinza okubba ebisolo mu kadde kano akamazalibwa. Twogedeko n’ayogerera police yeeno Lamarck Kigozi nagamba nti mpaawo mukinjaaje agenda kukirizibwa kusala bisolo mubudde obw’ekiro kko n’okubitambuza. Ono mungeri yeemu alabudde abatuuze  okwewala okulagajalira ebisolo byabwe, nadala nga bibireka ku take  kko nokwebaka nebabulizaako mubudde obwekiro.

Read More

Ssabasumba atangaaziza ku byayogerwa paapa.

Bya Ritah Kemigisa. Ssabasumba w’esaza ekulu eya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga  avudeyo nategeeza nga abamawulire bwebaakwata obubi ebigambo ebyayogerwa omulangira we ekelezia Papa Francis  bweyategeza nti esaala ya kitafe ali mugulu wavuuvulwa bubi, kale nga egwana kuterezebwa. Ssabasumba Lwanga agamba nti papa yagamba nti akanyiriri akagamba nti totutwala mu kukemebwa kavunubulwa bubi okuva mu lulatini n’olugereeki,…

Read More

Ssabasajja kabaka ayagalizza obuganda amazalibwa amalungi.

Bya samuel ssebuliba.   Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, aliko obubaka bwamazalibwa bwawerezza eri  obuganda. Mububakabwe, ssabasajja kabaka agambye nti ‘’Kasookedde tujaguza mazalibwa ga Yesu Christo mu mwaka 2016  tuyise mubiseera bingi eby’engeri  ezitali zimu omwo nga mwemuli ebyesanyu n’eby’enaku. Tufiiriddwa banaffe bangi abakoledde ensi yaffe wamu n’egwanga nga beesigama ku mazima n’obwenkanua. Abasinga babade bamizzi, tebatiridde…

Read More

Omukazi azalidde abalongo ku kkubo

Bya Benjamin Jumbe Akawungeezi kano, waliwo omukyala owemyaka 23 ategerekese nga Mariam Nalukenge akubyewo obweza obwa balongoo, ku mabbali ge kkubo okumpi ne ssomero lya Old Kampala S.S Nalukenge abadde kuka boda boda, nalumwa ebisa era nazalira ku bbali, oluvanyuma addusiddwa okumutwala mu ddwaliro. Okusinziira ku mwogezi wekitongole kyabaddukirize ekya Red Cross Irene Nakasiita, waliwo owomusalaba omumyufu amauyambye…

Read More

Bataano bafiridde mu kabenje kulwe Gulu

Bya Damalie Mukahye Abantu 5 bafiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu. Okusinziira ku muwogezi wa poliisi yebidduka mu gwanga, Charles Ssebambulidde akabenje kano kagudde ku kyalo Wakisanyi okumpi nomugga Kafu mu district ye Kiryandongo. Bus namba UAQ 045/O ebadde ekubyeko abasabaze ebadde edda e Gulu eyambalaganye ne mmotoka kika kya Prado…

Read More

Besigye alangiridde ekiddako

Bya Ritah Kemigisa Oluvanyuma lw’ababaka ba parliament okuyisa ebago ly’eteeka ely’okujja ekomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, bbo banna FDC  bategeezeza nga bwebagenda okutandika kaweefube ow’okuwakanya ebago lino nga 9thJanuary 2018. Bwabadde ayogerako ne banamawulire wali ku luguudo Katonga, Dr Col Kiiza Besigye agambye nti bakola kyona ekisoboka okulaba nga semateeka ono eyazanyidwako adamu okuterezebwa. Besigye  agamba nti…

Read More

Amisom etebenkezza somalia mu 2017.

Bya samuel ssebuliba.   Mu Somalia omubaka w’omukago gwa Africa mu Amisom Francisco Madeira ategeezeza nga omwaka guno ogwa 2017 bwegubadde ogwebibala eri amagye ga Amisom, nadala mu kulwanyisa abattujju ba Al-Shababa. Ambassador Madeira agamba nti mu mwaka guno Somalia esobodde okutegeka okulonda kw’obwa president okw’emirembe, kale nga kino kizaamu amaanyi. Wabula ono agambye 'nti AMISOM ekyalina emitawaana gamba…

Read More

Omusumba we Masaka akolokose ”abaagikuteko”.

Bya  Getrude Mutyaba Nga Parliament yaakayisa ebago ly’eteeka eryokujja ekomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, abanadiini ab’enkizo batandise okukolokota ababaka olw’okukola kino. Kati omusumba w’esaza lye Masaka John Baptist Kaggwa atabukidde ababaka , nga agamba nti bano eteeka lino baliysiza mungeri ya maccoolo, nakweyagaliza Bwabadde awa obubaka bwa Christmas mumakaage e Kitovu Bishop Kaggwa agambye nti ababaka bano…

Read More

Bryan White Ssekukulu wakujiriira Luzira

Bya Ruth Anderah Omusajja, nagagga womu Kampala Bryan White Kirumira ssekukulu wakujiriira ku alimanda e Luzira omulamuzi we ddaal erisooka mu kooti e Makindye bwalagidde azibweyo, ngono avunanibwa misango gya butemu bwekuba mulirwan we Victor Bitwire amasasi. Bryan White avaunanibwa nomusirkale wa poliisi ku kitongole kyabambega, CPL Thomas Okoth nga nolwaleero babadde balabiseeko mu maaso gomulamuzi Elias…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play