Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Ababaka bakyagulumba na teeka ku myaka gyamukulemebeze wa gwanga.

Bya samuel ssebuliba. Nate  ne leero ababaka ba parliament bayingidde olunaku olw’okusatu nga bakyagulumba n’ebago ly’eteeka ku komo ku myaka gy’omukulemebeze we gwanga. Mukaseera kano ababaka ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okunyonyola byebajja mukwebuuza ku balonzi baabwe. Mubamu kubabaka aboogedde ye Theodro ssekikubo owe Rwemiyaga, nga ono agambye nti parliament tegwana kuwudiisibwa okuwagira ensonga egenda okugassa omuntu yekka. Ye omubaka…

Read More

Abavubuka bawakanidde emipiira nebalwana omu nazirika

Bya Shamim Nateebwa Abavubuuka bamakanika bemmotoka e Makerere ababadde bawakanira omupiira balwanye, omu nakuba munne bubi nnyo nazirika. Tom Kiwalabye ne James Ssenyonjo bombi bakolera mu Kagugube Zone e Makerere balwanye era oluvannyuma Senyonyo nazirika. Musa Musoke omu ku babatasiza agamba nti bano baatandise ngabasaga babadde tebamanyi nti okulwana kwabwe kunavamu ebyokwekuba obubi. Musoke agamba nti bwebalabye Ssenyonjo akubiddwa…

Read More

Omujanjabi abbye essimu

Bya Shaimim Nateebwa Omujanjabi abye esimu mu ddwaliro e Mulago naleka mulwadde we ngapokya nga talina amujjanjaba. Easter Nabukenya gwebyeko essimu agamba nti omuvubuka ono obwedda agumiise essimu ye nga bwagiwumuzaako wansi okuwa omuladde we kyayi awo weyabulidde. Nabukenya agamba nti omuvubuka takomye ku kubuzaawo ssimu ye wabula ne money pass yabuzewo nayo. Kati poliisi yabakanye dda nomuyiggo gwomuvubuuka…

Read More

Bamugereirwe afulumizza olukalala lwababbi be ttaka

Bya Ruth Anderah Ssentebbe owakakiiko akaweebwa omulimu okunonyereza ku mivuyo gye ttaka mu gwanga, omulamuzi Catherine Bamugemeire aliko olukalala lwavuddeyo nalwo olwababbi era abanyakuzi be ttaka mu gwanga. Muno mubaddemu ba nagagga, nabbi Samuel Kakande, Sudhir Rupalaria, Godfrey Kirumira, Humphrey Nzei nabalala njolo. Bamugemeire wabula alabudde ababbi be ttaka obutakozesa ekiseera kye nnaku enkulu, okulowooza akakiiko kawumuzza emirimu…

Read More

Omulabirizi Kityo Luwalira awabudde palamenti

Bya Benjamin Jumbe Uganda ya bonna kalenga tewali agwanidde kwetwala nti Uganda yiye nti oba enakoma nkya. Bino byogeddwa omulabizi we Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira bwabadde atuusa obubaka bwe obwa  ssekukulu wali mu maka ge e Namirembe. Omulabirizi Luwalira alaze okutya ku mbeera egenda mu maaso mu gwanga, nayogera ku kulwanagana, obutawuliziganya, obutawangana kitiibwa nebiralala ebitali…

Read More

Omubaka Kyagulanyi awabudde palamenti

Bya Sam Ssebuliba Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti asabye bakulembeze banne, okukwata ensonga yokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga nobwegendereza era bafeeyo nnyo ku biseera bya Uganda ebyomumaaso. Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobie Wine, agambye nti ssi kirungi okwanguyirizaako okukyusa ssemateeka we gwanga kulwomuntu omu okusobola okumuzza mu buyinza. Kuno kwekubadde okuteesa kwe, ngagambye nti…

Read More

Abajaasiba ba UPDF mukaaga bakaligiddwa.

Bya Samuel ssebuliba. Ekitongole ky’amagye ekikesi kiriko abajaasi mukaaga bekisindise mu komera, nga bano babalanze kusasanya byama by’amagye nga tebafunye lukusa. Bano omukaaga balabiseeko mu kakiiko k’ekitongole kino akakwasisa empisa nga kakubirizibwa Col. Tom Kabuye okukakananga abakalize e Makindye okumala emyezi  2 . Abasibiddwa kuliko  Capt Emmanuel Kyamwiru  ,Capt Shemu Nakora, Lt Wilson Kahamba, Lt Ronald Watwaluma,…

Read More

Ababaka bataamye

Bya Kyeyune Moses Palamenti ezeemu okutuula akawungeezi kano, okuddamu okuteesa ku bbago lyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Bwebabadde bakakomawo, batandikidde ku kulayiza omubaka omugya owe ssaza lya Igara East, Michel Mawanda ngomubaka. Mawanda yeyadidde owa NRM Andrew Martial,mu bigere. Speaker wa palamenti Rebecca Kadaga akassaiazza nga bwakitegeddeko nti waliwo abebyokwerinda abazinze omusabirwa. Ono atadde minister wensonga zomunda mu…

Read More

Bannamawulire ba Red Paper bayimbuddwa.

Bya Ruth Anderah. Kooti ya Buganda road kyadaaki eyimbudde banamawulire ba Red Paper bonna kukakalu ka kooti ka bukadde 20 obutabadde bwabuliwo. Okusalawo kuno kukolebwa omulamuzi wa kooti ya Buganda road Samuel Egonda Ntende Munamateeka w’akakiiko akakola ku by’empuliziganya Abdul-Salam Waiswa yali yasabada kooti okugaana okuyimbula bano, nga agamba nti bayinza okudamu okukola emisango gyegimu. Abaakwatibwa kuliko abakulira Red…

Read More

E Rubanda ow’emyaka 18 attidwa – balwanidde mwenge.

Bya samuel ssebuliba. E Rubanda police  eyigga omusajja wa myaka 29 nga ono agambibwa okudda ku kavuubuka ka myaka 18 n’akakuba okukakana nga akasse. Reuben Nsabimana  yaayigibwa , nga ono kigambibwa nti yazze ku munne Nicholas Turyahebwa bona abatuuze  be Rurembo  wano e Butare  namukuba. Elli mate nga ono yayogerera Police y’ekigezi agamba nti bano obutakaanya babufunidde ku…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play