Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Omuvubi afiiride munyanja e Mayuge.

Bya Abubaker kirunda. E Mayuge waliwo omuvubi abidde mu Nyanja Nalubaale okukakana nga afudde Omugenzi ategerekese nga  Zakayo Onyango   omutuuze ku mwalo gwe  Kazza mu gombolola ye  Jagozi, nga ono okuffa kidiridde omuyaga ogw’amaanyi okutwala elyato mwabadde atambulira Ayogerera police yeeno James Soma akakasiza okufa kwono. Mukaseera kano omulambo tegunalabika.

Read More

Bamalaya be Lukaya bakola misana.

Bya Getrude Mutyaba. Abakiise ku town council y’eLukaya beeraliikirivu olw’omuwendo gw’abakyala abalenga akaboozi abasusse okutaayayiza mu kibuga kino emisana tuku. Abakiise baagala Town council eno ekolewo eky’amangu ku bantu bano, bebagamba nti baandibadde batandika okukola essaawa nnya ez’ekiro. Bano basinzidde mu lutuula lw’olukiiko luno oluggaddewo omwaka guno olukubiriziddwa sipiika Ephraim Luyombo Ssekkuubwa. Bano bagamba nti ebiseera bino eby’oluwummula abaana…

Read More

Mulago bajiwabidde lwakubba mwana

Bya Ruth Anderah Waliwo abafumbo abaddukidde mu kooti enkulu mu Kampala nga bagala ekake eddwaliro lye Mulago nalukulira okubawa omwana waabwe owobuwala. Immaculate Kyomugisha ne Jonathan Mutebi era bagala babaliyirire obukadde 300 olwebyo byebabayisizaamu. Nga November 11th 2017 Kyomugisha yalumwa ebisa era ku ssaawa 2 nekitundu akakwungeezi nazaala omwana owobuwala. Kyomugisha agamba nti omusawo eyamuzalisa Viola Namatovu yalagira nayazaala…

Read More

Ababaka bekandazze nebafuluma

Bya Kyeyune Moses Ababaka abavuganya gavumenti bekandazze nebafuluma, palamenti nga bawakanya engeri okuteesa ku alipoota yakakaiiko ka palamenti akamateeka gyekukwatiddwamu. Kino kidiridde bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Winnie Kiiza, okwemulugunya enfunda eziwera nayenga tebawulirwa. Omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Rebecca Kadaga akalambidde nti alipoota yekakiiko kamateeka akae kennenya ebbago esomebwe. Kadaga oluvanyuma alagidde ababak abasigadde okubadde aba…

Read More

Omubbi w’ente akwatidwa.

Bya samuel ssebuliba. Police mu district ye Kapchorwa police ekutte omusajja wa myaka 40 nga ono abadde yeefude kafulu mukubba ente z’abatuuze. Omukwate  ono ye Chemutai David nga  ono asangidwa lubona nga awalabanja ente ezisoba mu 6 azitwala kuzitunda. Ayogerera Police mu kitundu kino Rogers Tayitika agamba  nti bagenze  okukwata ono nga abatuuze balajana olw’ebisolo byabwe ebibibwa

Read More

Omukuuma Dembbe atutte ssabapolice mu kooti.

Bya Ruth Anderah. Waliwo omukuuma dembe ow’ekitongole eky’obananyini atutte sabapolisi we gwanga mumbuga z’amateeka, nga ono amulanze kumusaako misango gyakukolagana nebakijambiya abaali batogoza abantu  be masaka ne Kampala. Grace Bukenya eyali akuuma ku New Nana hostel e Makerere agamba nti yakwatibwa wano e Makerere nga kigambibwa nti naye yali omu kwabo abaali bandiika amabaluwa agatisatiisa. Ono agamba nti…

Read More

Ababaka mukaaga bagobeddwa mu palament.

Bya kyeyune Moses. Sipiika wa Parliament omukyala Rebecca Kadaga anyiize okukakana nga agobye ababaka ba parliament mukaaga, nga bano abalanze kweyisa mungeri etagwana. Ababaka abagobeddwa kuliko owe Ntungamo Municipality Gerald Karuhanga, owe Erute South MP Jonathan Odur, owe Kiira Municipality Ibrahim Ssemujju Allan Sewanyana owe Makindye West. Abalala kuliko owe Kawempe South Mubarak Munyagwa n’owe Kilak North's Anthony…

Read More

E mubende abantu bana battidwa mubukambwe.

Bya Magembe sabiiti E Mubende entiisa ekedde kubuutikira batuuze, nga kino kidiridde abatamanya ngamba okuyingirira amaka g’omukyala ow’emyaka 55 kko nebazukulube basatu nebabatta. Omukyala atiddwa ye Specioza Nalugwa omutuuze we Kyampitsi mu gombolola ye Kabalinga, kko nebazukulube okubadde Sarah Mamata owemyaka 17, Fred Musasizi owemyaka 2 , ne Specioza Nakacuwa owemyaka 4 gyokka Abatuuze bagamba nti omukyala ono…

Read More

Munamawulire owerinya afudde.

Bya Ben Jumbe. Banamawuliire mu gwanga bakeredde mu kyobeera nga kino kidiridde okufwa kwamunamawulire ow’erinya Peter Busomoke. Busomoke  afiridde ku dwaliro e Kiruddu ku myaka egy’obukulu 67. Twogedeko ne Robert Ssempala, nga ono yemukwanaganya w’emirimo mu kibiina ekya Human Rights Network for Journalists, n’agamba nti ono abadde munamawuliire omukozi enyo, ate nga agoberera amateeka wamu n’okukola n’obukuggu,

Read More

Talk n Talk yankya

Bya Ivan Ssenabulya Olunnaku olwenkya Prgram yo enganzi eya Talk n Talk emalako omwaka yakubeera wali ku Bat Valley Theatre, nga tukyazizza Bobie Wine ne Kato Lubwama. Bano bombi bayimbi ate babaka ba palamenti Program eno ekubirizibwa Kasuku, esajakudde okuweza emyaka 6 wano ku Mpewo za Dembe FM. Twogeddeko nomutesitesi Fred Kakembo nategeeza nti bafuna ekirowoozo kyokutanfika program mu…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play