Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Kooti ekakasizza Openedi ngo’mubaka owe Tororo

Bya Ruth Anderah Kooti ejjuirwamu ekakasizza okulondebwa kwa minister webyobulamu, Sarah Opendi ngomubaka omukyala owa district ye Tororo mu palamenti. Abalamuzi 3 basazizaamu ennamula ya kooti, enkulu etuula mu district ye Mbale eyali yasazaamu obuwanguzi bwa Opendi ku bigambibwa nti waliwo ebingi ebirumira ebyetobeka mu kulonda. Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu abakulembeddwamu, amyuka ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, Steven Kavuma…

Read More

Abasomesa aba Sayansi mu secondary bakwongezebwa emisaala

Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alangiridde nti abasomesa abasomo ga science bwebagenda okwongezebwa emisaala, amangu ddala. Ono okwogera bino aadde aggalawo olusirika lwabakulu bamasomero ga Secondary mu maka gobwa presidenti Entebbe. Ategezeza nti mu ntekateeka eno, abakulu bamasomero nabamyuka baabwe, bakufuna emisaala egyisukako ku basomesa abalal. Wano azeemu okulabula abakulu, mu masomero ga gavumenti bakumye…

Read More

Omuti gwamasanyalaze gukubye Crime Preventer nafa

Bya Sam Ssebuliba Abatuuze ku luguudo Bananuka mu Divizoni y'e Kakooba mu Munisipaali y'e Mbarara bali mu kyobeero, omuti gw'amasanyalaze bwegugwiridde Crime Preventer n'akalirawo. Omugenzi ategerekese nga Robert Kibogo ngabadde mutuuze ku kyalo Rwentondo ekisangibwa mu Divizoni ye Kakooba ng'abadde akolera ku Police y'e Kakooba mu Munisipaali y'e Mbarara. Samson Kasasira, adumira poliisi mu bitundu by'e Rwizi agambye…

Read More

Abazigu bakubye owa Mobile Money nebatwala obukadde 2

Bya Abubker Kirunda Abazigu balumbye owa mobile money nebamubbako obukaddde 2 nomusobyo wali mu Kabuga ke Buwenge e Jinja. Mukyala Betty Namugaya ngabadde akolera okumpi nakatale ke Buwenge alumbiddwa bwabadde addayo awaka nga babadde abakawataganye nemyambe emyoji. Poliisi etegezeza nti bamubbyeko obukadde 2 nemitwalo 10. Omukyala mu kaseera kano ali mu ddwaliro Buwenge ajanjabibwa oluvanyuma lwokukubibwa, nga poliisi egamba…

Read More

Abaana babiri bafiridde mu muliro

Bya Damalie Mukhaye Abaana babiri bafudde mu ddwaliro e Nsambya bwebuuse nebisago, oluvanyuma lwomuliro nabbambula okubookya. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Luke Owoyesigyire omu abadde atemera mu myaka 3 nomulala emyaka 2, ngomuliro gwakutte nnyumba mwebabadde wali e Masajja Ndikutamada ekiro ekiyise. Yye nyabwe akayali mu mbeera mbi, mu ddwaliro lyerimu e Nsambya wabulanga nekyaviriddeko…

Read More

Ssabalabirizi alagidde abasumba basabire egwanga

Bya Damalie Mukhaye Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, kitaffe mu Katonda Stanley Ntagali asabye amakanisa nabakirizza bonna okwewaayo okusabira egwanga, okutandika ne wiiki ejja enakulemberamu sekukulu. Bwabadde awa obubaka bwe obwa ssekukulu e Namirembe, Ssabalabirizi agambye nti omwaka 2017 gugono gutuuse ku nkomerero wabula wakati mu kusomozebwa okwobutali bwenkanya mu gwanga, okumenya amateeka, ettemu eritaliiko annyonola nebiralala…

Read More

Poliisi yakukwata Salaam Musumba

Bya Damalie Mukhaye Ekitongole ky’abambega ba police kitegeezeza nga bwekitandise okuyigga omumyuka wa president wa FDC mu Buvanjuba bwe gwanga Salaamu Musumba, nga kidiridde okumuyita alabikeko  gyebali kyoka natagendayo. Kinajukirwa nti omukyala musumba ono yayitibwa okulabikako eri police kubigambibwa nti yakunga banna- uganda okugenda mulutalo singa government emala nekyisa ssemateeka we gwanga. Twogedeko nayogerera ekitebe ky’abamabega ba police…

Read More

Obwavu bwebuvaako enguzi mu basirikale

Bya Ritah Kemigisa Ekitongole kya pliisi ekikwasisa empisa ekya police professional standards kigamba nti obwavu, yensibuko yobuli bwenguzi naddala mu basirikale baabwe. Omwogezi wekitongole kino, Vincent Sekatte agamba nti wabula bavuddeyo namakubo agenjawulo okulwanyisa eguzi mu mbeera eno. Agamba nti bavaayo ne kawefune wokulaba ngabantu baloopa enguzi, nga basobodde okukendeeza ku misango gyenguzi okutuuka 75 bwogerageranya ne 96…

Read More

Omwana afiridde mu kabenje e Jinja

Bya Abubaker Kirunda Omuntu omu afiriddewo nabalala 6 nebabuuka nebisago mu kabenje akagudde ku kyalo Nakabango mu ggombolola ye Mafubira mu district ye Jinja. Akabenje kano kabaddemu emmotoka kika kya premio namba UAW425/E ngeno ebadde edda Jinja, wabula neremerera omugoba waayo neyevulungula enfunda eziweze. Okusinziira ku ssentebbe we kyalo eyerabiddeko Godfrey Kyalo ategezeza nti akabenje kano kuvudde ku…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play