Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Ekya alipoota tekiri ku bigenda okutesebwako

Bya Kyeyune Moses Obunkenke bweyongedde, ekya alipoota yakakiiko ka palamenti akamateeka essubirwa okwanjulwa olwaleero ku bye nnongosereza mu ssemateekaokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bwekitalabikidde ku lukangaga lwebigenda okutesebwako akawungeezi kano, mu lukiiko lwe gwanga olukulu. Alaipoota yakakiiko kamateeka akabadde kekennenya ebbago eryayanjulwa omubaka wa Igara West Rapheal Magyezi essubirwa okwanjulwa olwaleero, wabulanga abavuganya gavumenti nabo…

Read More

Musabire palamenti

Bya Benjamin Jumbe Omubaka omukyala owa district ye Mitooma, Jovah Kamateeka asabye abantu babulijjo okusabira ennyo palamenti. Bino bijidde mu kadde, nga alipoota yakakiiko ka palamenti akamateeka essubirwa okwanjulwa olwaleero ku nnongosereza eza ssemateka ku nnyingo 102b. Bwabadde ayogerako naffe, omubaka Kamateeka agambye nti bann-Uganda mulimu gwabwe okusaba, ebintu bisobole okutambula obulungi, obutadda mu byaliwo jjolyabalamu mu lukiiko…

Read More

Ababaka ba NRM bevumbye akafubo nga tebanagenda mu palamenti

Bya Benjamin Jumbe Ababaka banna-NRM bonna bayitiddwa okwetaba mu kafubo ak’enjawulo nga tebanagenda kukubaganya birowoozo ku kyakujja komo ku myaka gya mukulembeze wa gwanga, akawungeezi kano. Olwaleero palaliment esuubirwa okukubaganya ebirowoozo ku alipoota yakakiiko akabadde kasengejja ebago lyokujja ekkomo ku myaka. Amyuka ayogerera akabondo ka NRM Solomon Silwany agambye nti ensisinkano eno egendereddwamu yokukaanya ku byebagenda okwogera nebye…

Read More

Okunonyereza kwa Daily Monitor kulaga nti abomu Bugwanjuba Bawagira Ennongosereza

Bya Benjamin Jumbe Olupapula lwa Daily Monitor luliko okunoonyereza kwelwakoze n’ekizuuka ngababaka abava mu Bugwanjuba bwe gwanga bebasinga okuwagira ekyokujja ekomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bwogeregeranya ne banaabwe abava mu bitundu ebirala. Okunonyereza kulaga nti  ababaka 53% bawagira ensonga eno,  ate ekitundu ky’amambuka nekiddako ngeno ababaka 45 % nabo bagala ssemateeka akwatibwako. Ebitundu ebirala ebye nkizo kuliko…

Read More

Abavuganya gavumenti baddukidde mu kooti eyimirize palamenti

Bya Ruth Anderah Abakulira ebibiina ebivuganya gavumenti 3 baddukidde mu kooti enkulu nga bagala eyimirize palamenti obutagenda mu maaso okuteesa ku byokujja ekkomo ku myaka, okujjawo ennyingo 102(b) eya ssemateeka. Bano bagamba kinaaba kikyamu awatali kwebuuza ku bantu babulijjo mu kalulu akekikungo. Abamu ku baddukidde mu kooti kuliko, Dr. Abed Bwanika owa People's Development Party (PDP), Asuman Basalirwa…

Read More

gavumenti ekanyizza okwongeza abakozi emisaala

Bya Ritah Kemigisa Gavumenti ekanyizza okwongeza abakozi baayo bonna emisaala, okutandika ne July wa 2018 mu mwaka gwebyensimbi ogujja. Bwabaddea ayogera ne banamwulire ku Media Center mu Kampala, minister wabakozi ba gavumenti Muruli Mukasa agambye nti kino kyatukiddwako mu lutuula lwa Cabineeti olwenjawulo olwabadde lukubirizibwa President Museveni mu maka gobwa presidenti Entebbe nga 9th omwezi guno. Abagenda okusokerwako…

Read More

Omusango gwa Gashumba gwongezeddwawo mu January

Bya Ruth Anderah Kooti ya Buganda eyongezaayo omusango gwomutapusi wensonga ezitali zimu mu gwanga Frank Gashumba okutukira ddala nga January 16th wa 2018 egyobufere.   Kino kivudde ku nsisinkano yabalamuzi egenda mu maaso ku kooti enkulu wano mu Kampala.   omulamuzi Charles Yeteise yayongezaayo omusango guno kulwa munne James Eremye Mawanda, atabaddeewo.   Gashumba ne Muganda we Innocent Kasumba bavunanibwa kwefuula kyebatali,…

Read More

Poliisi erabudde ku kutongoza Tojikwatako

Bya Sam Ssebuliba Police mu Kampala nemiriraano erabudde ababaka ba palamenti nabantu babulijjo, ku ntekateeka zokutongoza wiiki eya ‘’togikkwatako’’ envunula bibya kubanga kinaaba kimenya mateeka. Wiiki ewedde ababaka ku ludda oluvuganya gavumenti balangirira entekateeka, ezokutongoza Tokikwatako butto, mu nnaku 7, nga bawakanya ekye nongosererza mu ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Bwabadde ayogerako naffe amakya ga…

Read More

Abamu ku babaka bagenda kuwandiika alipoota ekontana

Bya Kyeyune Moses Abamu kubabaka abali mu parliament bategeezeza nga bwebagenda okuwandiika alipoota eyabaabwe nga bawakanya ebago lino Ababaka bano okuli owa Kumi - Monicah Amoding owa  Ndorwa East -Wilfred Nuwagaba  owe Lwemiyaga - Theodore Sekikubo bagamba nti tebakaanya na alipoota eyakoleddwa, kale nga bo baleeta eyabwe   Ate ye Nampala w’ababaka ba NRM mu parliament Ruth Nankabirwa asekeredde…

Read More

Ababaka bawagidde okujikwatako

Bya Kyeyune Moses Ku nsonga z’okukyusa ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, tutegeezedwa nga omubaka wa Igara West Raphael Magyezi era nga yeyaleeta ebago lino bwasanyukidde ekyababaka ba parliament ku kakiiko kano okuwagira eky’okugikwatako. Kinajkirwa nti agaasomoddwa, galaga nga ababaka bano abaabade mu kuwandiika alipoota eno bwebakirizza okukyusa mu kawaayira aka 102 (b), okuzaawo ekomo ku  bisanja,…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play