Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Bann-diini temukoowa kuwabula banabyabufuzi

Bya Shamim Nateebwa Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Siriman Kasule Ndirangwa   akubiriza  banaddini  obutagwamu manyi mu kuwabula  bannabyabufuzi abalabika nga bava ku mulamwa. Sheik Ndiragwa agamba nti mulimu gwa banaddini okuwabula abantu naddala ku nsonga zebyobufuzi kubanga Uganda ekwatta ku bantu bonna, kavuna ebiba bisaribwawo biba nga byakukoosa abantu bonna. Shekh Ndirangwa era akubirizza abasiraamu  okubera  abamazima nga…

Read More

Omuliro gusse abaana bana e Buwenge.

Bya Ben Jumbe. E Jinja agavaayo galaga nga abaana 4 bwebafudde nga kino kidiridde omuliro okukwata enyumba mwebasula wano e Buwenge bonna nebasirikka. Abaana abafudde bamukyala Amina Nampina omutuuze ku kyalo kino, wabula nga naye agamba ekyavirideko omuliro  tanakimanya kuba enyumba tebadeemu masanyaraze. Abatuuze bagamba nti omuliro gukutte enyumba eno nga  maama wabwe  agenze okubaako byagula ku duuka Mukaseera…

Read More

Ebago ku myaka gy’omukulembeze we gwanga kati teeka.

Bya Ben Jumbe. Kyadaaki omukulembeze we gwanga YKM tutegeezedwa nga bweyamaze edda okuteeka omukono kubago ly'eteeka ely’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga , kale wetwogerera lino teeka erijuvu. Twogedeko n’omwogezi wa palamenti  omukulu Cris Obore n'agamba nti president ebago lino yalisaako omukono nga 27 omwezi  oguwedde ogwa December, kale nga  limaze okukomezebwawo ewa-kalanani wa palamenti. President waakoledde…

Read More

Abanadiini bakyomedde gavumenti.

Bya Kyeyune moses, Damali Mukhaye ne Getrude Mutyaba. Abanadiini eb’enjawulo batabukidde abakulembeze mu uganda nga bagamba nti bano bagenda kusuula egwanga mu katyabaga. Wano mu Kampala, ssabalabirizi we kanisa ya Uganda His grace Stanley Ntagali  kalaatidde banabyabufuzi okufuba okwegobako omuze gw’okulya enguzi, 2018 abeere mutangaabvu gyebali. Bwabadde akulembedamu okusaba wali ku lutiko e Namirembe Ntagali  agambye nti 2017…

Read More

Abantu 140 bebakwatidwa mubikujuko by’olusooka.

Bya Ritah Kemigisa. Police mu Kampala etegeezeza nga  bweyakutte abantu 141  mubikujuko ebyabadde mu Kampala, nga bano bateberezebwa okubeera abazzi bemisango. Twogedeko ne Lucas Owoyesigyire nga  ono yayoogerera police  mu Kampala n’emiriraano nagamba nti bano okusinga babade banyakula obusawo bw’abakyala, amasimu kko nebirara Ono agamba nti mubikolobero ebirara ebyabadewo y’emukyala agambibwa okuba nga yesse e wano e Namulanda…

Read More

Abantu basatu battidwa e Bukomansimbi.

Bya Malik Fahad     E Bukomansimbi abantu 3 battidwa, abasajja abakutte amajambiya bwebalubye ebyalo nebatema buli kiramu. Eno enjega egudde ku kyalo Kisojo mu gombolola ye  Kibinge  nga eno abasajja abatanamanyika balumbye ekyalo nebatema buli kiramu awatali kusosola. Abafudde kuliko Denis Ssebugwawo , omulala ategerekeseko lya  Jane songa omulala tanamanyika Twogeeko ne ssentebe w’egombolola ye Kibinge Sowedi Sserwadda n'agamba nti…

Read More

President avumiride abawakanya eky’okujja ekomo ku myaka.

Bya Samuel ssebuliba. Omukulembeze we gwanga YKM  atabukidde bannayuganda ebeeyita banasoma, banabyabufuzi, kko n’abanadiini abamu abakukuta n’abagwira bagambye nti bandiba nga baagala kutta democracy ali mu uganda. Bweyabadde ayogerako eri egwanga akawungezi akajjo, President yagambye nti democracy yye nebanne gwebalwaniriira agamba nti obuyinza buli mumikono gyabanna- uganda, kale nga abalowooza ku komo ku bisanja, ekomo ku myaka…

Read More

Amakooti geeyongedde- abalamuzi bakyabuze.

Bya Ruth Anderah.   Esiga eddamuzi nakaakano likyalajana olw’abalamuzi abatamala , bebagamba nti bebaviirideko emisango okwetuuma. Solomon Muyita  nga ono yaakola ku by’amawulire mu kitongole ekiramuzi agamba nti mu mwaka guno  2017 basobodde okwongera ku bungi  bw’amakooti   , kyoka bbo abalamuzi tebeyongedeeko. Muyita  agamba  nti kooti  ento mu gwanga lyona  zaali 38 naye  kati ziri 82 ate kkooti  enkulu…

Read More

Abafumbo balabuddwa kubusambatuko mu maka.

Bya Samuel Ssebuliba. Abafumbo nadala abasajja basabiddwa okufaayo okugula buli kyetagisa eri abantu bebalabirira, kino kitaase obufumbo okusasika mukadde nga kano ak’ebikujuko.. Ali male nga ono y’ayogerera ekibiina  ekitaba abakola ogw’okubudabuda abantu , n’agamba nti abasajja nadala abalina abakyala ababiri batera obutafaayo ku famile zaabwe zona ky’enkanyi, kyagamba nti kikyamu kuba kitera okuviirako obusambatuko. Ono agamba nti mukadde…

Read More

Abasomesa ba Makerere bakwongezebwa omusaala.

Bya Damalie Mukhaye.   Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akiriza okwongeza omusaala gw’abasomesa aba Makerere university kino kikendeeze kukwemulukugunya kwebabade nakwo okutatadde. Bino okutuukibwako kidiridde akakiiko keyasiindika e Makerere okunonyereza  kukiviirideko emivuyo gyonna okukomekkereza okunonyereza kwako nekamukwanga ne alipoota eno olunaku olw’egulo. Dr Muhamad Kiguddu omu kubaatuteyo alipoota eno, agamba nti oluvanyuma lw’okwetegereza alipoota eno president y’abategeezeza nti…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play