Bya samuel ssebuliba.
Polisi mu district ye Kapchorwa ekutte abantu bataano nga bonna baaluganda, nga bano ebalanze kudda ku kitaabwe nebamutta.
Abaakoze kino kuliko omukyala Kyerengati Beatrice ow'emyaka 45, nga ono yekobaanye n’abanabe 4 nebatta kitaabwe Patia Andrew nga bamulanga kuwasa mukyala mulala.
Ayogerera polisi yeeno Rogers Tayitika agamba nti omwami ono kakano omugenzi yabadde awasizza…
Bya Ruth Anderah.
Kooti ejulirirwamu e gobye abadde omubaka we Jinja municipality East Nathan Igeme Nabeta, nga ensonga zakubba kalulu.
Abalamuzi ba kooti eno okubadde Steven Kavuma, Richard Buteera ne Paul Mugamba kati balagidde okulonda kuno kudibwemu.
Abalamuzi bano bagambye nti tebayinza kusinzira ku byava mu kulonda eby'obulimba okulangirira munne ey'amuwawabira Paul Mwiru nga omubaka, kale nga okulonda…
Bya Damalie Mukhaye ne Ndaye moses.
Ekitongole ekikola ku by’ebibuuzi mu uganda ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuzo by'abana abaatula ekibiina eky'omusanvu mu mwaka 2017, nga bino biraze nga abaana bwebayitidde wagulu ebitagambika bwogerageranya n’omwaka 2016.
Mu mwaka guno abaana ebitundu 90.9% bebaayise, songa mu mwaka 2016 abaana ebitundu 87% bebaayita.
Kati bwabadde afulumya ebyavudde mu bibuuzo…
Bya Shamim Nateebwa
Abaziggu abatanategerekeka batemyeko omutuuze omutwe.
Bino bigudde ku kyalo Banda mu district ye Wakiso, ngomugenzi ye Julius Nsamba owemyaka 34.
Abatuuze baakedde kusanga musaayi mu mulyango gwe era bwebaguddewo nebagwa ku kiwuduwudu ngomutwe guli waagwo.
Ssentebe w'ekyalo Edward Wampamba ategeezezza nti, kyandiba nga kivudde ku nkyana ze ttaka wakati mu boluganda abaludde nga tebalima kambugu.
Entabwe eva…
Bya Damalie Mukhaye
Minister owebyenjigiriza nemizannyo Janet Museveni olwenkya aganeda kufulumya ebyava mu bibuuzo byekyomusanvu ebyakolwa owaka oguwedde 2017.
Omwogezi wa ministry eyebyenjigiriza Patrick Muyinda ategezeza nti ekitongole kyebigezo mu gwanga ekya Uganda National Examination Board, olwaleero baisisnkanye minister okubuliira kungeri ebibuuzo byomwaka oguwedde bwebyali.
Janet Katah Museveni assubirwa ku ssawa 5 okukwasibwa ebyavudde mu bibuuzo mu butongole,…
Bya Benjamin Jumbe
Omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko lwe gwanga olukulu Jacob Oulanya ayise minister w'ensonga z'omunda mu gwanga, basisinkane ku lw'okubiri lwa wiiki ejja.
Kino kidiridde akakiiko ka palamenti akensonga zomunda mu gwanga okulemererwa okwanja alipoota, eyava mu kunonyererza ku kitta bantu kye Kasese.
Alaze okunyolwa nti newankubadde omumyuka wa ssentebbe wakakiiko Kezekia Mbogo yakaksizza nti alipoota weeri naye…
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku kyalo Nkakwa mu ggomboloLa ye Ssi-Bukunja mu District ye Buikwe balumbye wofiisi yo’mubaka wa
gavumenti abataase ku nkayanan ze ttaka.
Kino kidiridde omugagga aterekese nga Ronald Lwome okubalagira okwamuka ettaka kwebabadde bawangaliidde.
Abatuuze batagezezza RDC we Buikwe, Fred Bamwine nti omugagga ono yagula ettaka lino eririko enkayana mu mwaka gwa 2011 naye emirembe gyabagwako.
Ettaka…
Bya Shamim Nateebwa
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwegema obulwadde bwa Hepatitis B nategezza nti butta, okusinga nebirwadde ebirala ebimanyidwa.
Katikkiro ategezezza nti Ssaabasajja Kabaka akubiriza abantu okubeera abalamu kubanga kwekutambulira enkulakulana n'okutwala Buganda mu maaso.
Owembuga abadde akulembeddemu abantu ba Ssabasajja okuddamu okwekebeza omulundi ogw'okubiri obulwadde bwa Hepatitis B.
Entekateeka eno yawoomeddwamu omutwe ekitongole kya…
Bya Damali Mukhaye.
Eyavuganyaako ku bwa President bwe gwanga era natakkiriza byava mu kulonda kwa 2016 nga ono ye Dr Kizza Besigye, nate etegeezeza nga bwagenda okulayiza abantu baagenda okukola nabo mu government gyagamba nti yeyabantu.
Bwabadd e eyogerako ne banamawuire wali ku luguudo katonga, Besigye agambye nti abantu baagenda okulayiza beeno abagenda okufaayo okutiikiriza ebiruma bannayuganda,…
Bya Shamim Nateebwa.
Edwaliro erikola ku bulwadde bw’emitima elya Uganda heart institute litegeezeza nga omuwendo gw'abaana abazalibwa n'obulwadde buno bwegugenze gulinya buli kaddde.
Ebiwandiiko ebiriwo biraga nga abaana abawerera dala 15,000 bwebazalibwa n'obulwadde buno buli mwaka.
Dr.John Omangino akulira edwaliro lino agamba abaana 7,000 kubano bazalibwa nga beetaga obuyambi obwamangu.
Kati ono ayagala abazadde batandike okusomesebwa nga bukyali kukivirako…
