Bya Damalie Mukhaye
Akakiiko kebyokulonda mu gwanga aka Electoral Commission kategezezza nti tebagenda kwongezaayo ssale ssale owokuwandiisa abalonzi abanetabab mu kulonda kwe byalo.
Ssale ssale ono wa lwaleero, waddenga abamu basaba nti enteka teeka yokuwandiisa eyongezebweyo.
Okuwandiisa abalonzi ku byalo kwaggulwawo ku Lowkuna lwa wiiki ewedde nga 26th, nga kukomekerezebwa owaleero 30th.
Omwogezi wakaiiko kebyokulonda Jotham Talemwa, atubuliidde nti…
Bya Malikh Fahad
Police mu district ye Masaka, eriko abantu 3 begalidde nga kigambibwa benyigira mu kusadaaka omwana owmwaka ogumu, eyabadde abuze okumala wiiki namba.
Abakwate poliisi egamba nti kuloko omusawo wekinnansi Moses Mukibi, Deo Walakira nomwana omulenzi owemyaka 12.
Okunonyererza kwa poliisi okusooka kulaga nti bano bekobaana okusadaaka omwana Passy Mirembe, mutabani wa Moses Kalangwa, omutuuze we…
Bya Abubaker Kirunda
Abavubi mu district ye Mayuge basabye omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni okulagira amagye ge gwanga agalwanyisa envuba embi, olwo bbo bakuwagira ebyokukwata ku nnyingo 102/b okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Bano babadde bogerako nomubaka omukyala owa district ye Mayuge, Jullie Mukoda Zabwa nebategeeza nti abajaasi obukam bwe bwebakozesa bususse, nga tebakyalina mulimu.
Bategezeza…
Bya Damalie Mukhaye
Akakiiko kebyokulonda kasabiddwa kasabiddwa okwongezaayo entekateeka yokuwandiisa abagenda okulonda, abakulembeze bobukiiko bwe byalo.
Omulanga gukubiddwa abekibiina kya FDC.
Omumyuka womwogezi wekibiina Paul Mwiru ategezeza nti okusinziira ku byebafuna okuva mu byalo okwetoola egwanga, abantu tebanajjumbira.
Agamba nti abakiiko kebyokulonda tebakoze kusomesa bantu kimala, nga nabamu tebamanyidde ddala okulonda kugenda kutambula kutya.
Wano FDC erangiridde nti nabob agenda…
Bya Abubaker Kirunda
Mu district ye Mayuge entiisa ebutikidde abakungubazi, omuti bwegukubye emmotoka ebadde yaleese abaziisi omu nafa.
Bino bibadde mu gombolola ye Baitambogwe ku kyalo Butte, ngomugenzi ategerekese nga Fred Byabirime owemyaka 32 ng'abadde mutuuze we Mbale.
Bino okugwawo kidiridde abakungubazi okwegama mu taxi eyabaleese okuziika, kyoka mungeri eyewunyisa omuti gusiguse negwekata ku taxi okukakana ngomu talutonze.
Ayogerera…
Bya sam Opio.
E Kamuli eyaliko ssentebe wa district eno Salaam Musumba asabye abalimi beeno okutwala okulima nga akalimo, sosi kujjamu mere yakulya yokka.
Musumba okwogera bino abadde alambula abalimi abaliko kebeekoledde mu kitundu kino, n’agamba nti abatuuze bagwana batandike okukozesa enima ey’omulembe kibayambe n’okugaziya ku nfuna yaabwe
Ono agamba nti banna-kamuli baludde nga obudde babutadde mu by’obufuzi…
Bya samuel ssebuliba.
Mu Kenya akakiiko k’ebyokulonda kategeezeza nga olwaleero bwekagenda kulangirira ebyavudde mukulonda kw’obwa president .
Amyuka akulira akakiiko kano Consolata Nkatha agambye nti kumasaza 7 agabadde gatanaleeta byava mukulonda webukeeredde nga mukaaga galeese, kale nga wabulayo esaza limu lyokka
Yye ssentebe w’akakiiko kano Wafula Chebukati agamba nti bamaze okwekeneenye abyavudde mu masaza 259 ku 265 nga…
By Steven Ariong.
Mu Karamoja abavubuke beeno basabye minisitule y’ebyobulamu okufuba okulaba nga babaletera obupiira obunene obutabanyiga, kubanga obuliwo kakano tebubatuuka.
Bano basinzidde mu lukiiko olubadde lukwata kubya kawuka ka mukenenya, olutudde e Moroto.
Simon Lokol ow’emyaka 24 yemulugunyizza nti obupiira bwebabawa esangi zino bufunda era kyandivirako bangi okubuuka n’akawuka.
Abakaaba ekizubu kino okusinga bavudde mu distrct nga Napak,…
Bya samuel ssebuliba
E Kabale police ekkutte omuwala wa myaka 15 nga ono agambibwa okuva mu mbeera okukakana nga afumise omusajja ow’e myaka 21 akambe kumutima n’amutta.
Omugenzi ategerekese nga Jackson Katashaya omutuuze we Rwabarera mu district ye Rubanda
Ayogerera Police yeeno Elli Matte agamba nti omusajja ono abadde ayagala kusobya ku muwala ono kale mukwetasa n’amusogga akaso.
Oluvanyuma…
Bya Ruth Anderah.
Kooti y’amagye e tuula e makindye eriko abaserikale 7 besindise ku alimanda nga bano balangibwa gwa kuwamba omusajja enzalwa ya Rwanda Joel Mutabazi eyali adukidde mu uganda okunoonya obubudamu
Abakaligidwa kuliko Joel Aguma, Nixon Agasirwe Karuhanga, James Magada, Benon Atwebembeirwe, Abel Tumukunde , Faisal Katende ne Amon Kwarisima.
Bano bavunibwa wamu ne banansi ba Rwanda…
