Bya Ndaye Moses
Gavumenti eremereddwa okumatiza abasawo badde ku mirimu okuva mu kediimo kebalimu.
Ssbaminista we gwanga Dr. Ruhakana Rugunda assisinkanye abasawo ku ddwaliro ekkulu e Mulago wabula, byonna byabaddenga abagamba nga bibagwa nkoto.
Ssabainista asabye abasawo bano baddeyo ku mirimu, nabasubiza nti babakolera entegeka basisinkane omukulembeze we gwanga nga 17th omwezi guno, wabula byona abaddenga siwa ensaano…
Bya samuel ssebuliba.
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde wano e kabale nga kino kidiridde Fuso okukonagana ne trailer
Kano akabenje katwalidemu emotoka ekika kya Fuso number RAB 287Y ne lukululana number UAZ-490D ebadde yeetisse soda wa Rihama nga eno ebadde eyimiridde kukubo.
Abafudde kubadeko Hakuzimana Etieno owe myaka 40 nga ono yabadde avuga Fuso, kko ne Nzeyimana…
Bya Abubaker Kirunda.
E Kamuli police etandise okuyigga omugoba wa bodaboda atomedde omukyaka owe myaka 70 n’amutta.
Owa bodaboda akoze kino ye Paul Bireza omutuuze we Kitayunjwa , nga ono akoonye omukadde Scovia Namuganza 70 ku kyalo Busota n’amutta.
Omugenzi ono okukoonebwa abadde asala kubo okuva mudwaliro gy’abadde ajanjabirwa, wabula abadde asala ekubo owa bodaboda n’amukoona
Jesca Nyanjura nga…
Bya Ritaha Kemigisa.
Police mu kamapala etegeezeza nga bwekutte amasimu 150 agagambibwa okubibwa mu Kampala n’emiriraano
Ayogerera police mu uganda Asan Kasingye atubuulide nti kino ekikwekweto kigenderedwamu kumalawo buzi bw’amisango obubadde bweyongedde enyo mu kampala wano
Ono agambye nti mu kaweefube ono abantu 15 bebakakwatibwa , wabula nga kawefube w’okuyigga abalala akyagenda mu maaso.
Bya Ritah Kemigisa.
Bbo abasawo abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association olwaleero lwebagenda okuwayaamu nebanaaabwe okuva mu gwanga lyonna basalawe oba baakusigala n’entekateeka zaabwe ez’okwekalakaasa.
Kinajukirwa nti abakulu bano nga 9th baatula mu tabamiruka nebakaanya nti bwezikoona nga 6th November bakwekalakaasa singa government tekola ku nsonga zaabwe ezibasiiwa.
Twogedeko ne Dr. Brian Kasagga nga ono yayogerera…
Bya Ritah Kemigisa.
Olunaku olwaleero ekibiina kya NRM lwekitandika okutabaala egwanga nga kyebuuza ku bantu ku nsinga y’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Ekiwandiiko ekyatuwerezedwa omwogezi wa NRM Mr Rogers Mulindwa,kiraga nga ssentebe w’ekibiina kino era president we gwanga YKM bweyalonze abantu beyesiga okukulemberamu kaweefube ono mu bitundu eby’enjawulo.
Abagabiddwa bagenda kutabaala amasaza ga uganda 17 era…
Bya Ruth Anderah
Kooti ejjulirwamu bajitutte ate mu mbuga, mu kooti eya ssemateeka olwokulemrerewa okukola emirimu gyayo, okulamula emisango gyebyokulonda mu budde.
Krispus Ayena Odongo ayagala kooti ya ssemateeka ayagala kooti ya ssemateeka eragire nti ennamula zonna eziwererddwa mu bbanga eriyiseeko nga bwekirabikiddwa mu ssemataaka naddala ku misango gyebyokulonda nti zonna zaali nfu.
Ebbanaga lya myezi…
Bya Damalie
Abasuubuzi bembaawo mu Ndeeba bakayukidde Ssentebe wabwe olw’okubagaana okudamu okuzimba ebibanda byabwe ebyakutte omuliro nebigwawo omwatokomokedde emmaali yabwe.
Bano balumiriza Ssentebe wabwe n’olukiiko lwe okubaako ne kyebamanyi ku muliro ogwakwata akatale kano, nga guno gwabadde mulundi gwakutaano.
Kanasala w’ekitundu kino Edirisa Lwanga asasidde abasuubuzi abagiridwa emaali yabwe wabula n’asaba abakulembeze okolagana obulungi n’abasuubuzi bano okwejja mu…
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi ekutte abadde yefuula akulira ekitongole ekivunanyizibwa kuba musiga nsimbi ekya Uganda Investment Authority.
Mu lukungaana lwabanamawulire olwawamu amyuka omwogezoi wa poliisi mu gwanga Polly Namaye agambye nti ono tebajja kumwatukiriza mannya, olwokunonyererza okukyagenda mu maaso, wabulanga ali mu kaddukulu ku CPS mu Kampala.
Namaye ategezeza nti ono webamukwatidde nga bamufunyeko okwemulugunya kwa mirundi ebiri…
Bya CHRISTOPHER KISEKKA
Abadukanya Muteesa I Royal University bakakasiza nga bwebagenda okugulawo etendekero lino nga December 2 oluvanyuma lw'okumala ebanga nga eggaddwa.
Kinajukirwa nti embeera okuva mu nteeka kyadirira abasomesa okutandika okwekalakasa nga ensonga ya misaala, ekyaviirako n’abaana okwegatako negujagabira okukakana nga university egaddwa nga October 24.
Amyuka akulira etendekero lino Prof. Arthur Sserwanga, agamba nti basazeewo okugula…
