Bya Shamim Nateebwa .
Abasawo abakyayiga bategeezeza nga bwebagenda nabo okuteeka wansi ebikola begatte kubanaabwe singa ensim bi zebafuna nga akasiimo tezeyongereko..
Robert Lubega nga ono yakulira ekibiina ekibaggatta agamba nti situgaanyi ministry yayongera ku nsimbi zeebawa okutuuka ku mitwalo 74, naye zino tezimala nadala mukaseera kano nga beebakola emirimo egy’andibadde egy’abasawo abali mukwediima.
Ono agamba nti okusinziira…
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko kebyokulonda kongezaayo entekateeka yokuwandiisa abanavuganya ku bukiiko bwabakyala ku byalo, okubadde kukomekerezebwa olwaleero.
Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka womwogezi wakakiiko kebyokulonda, Paul Bukenya atubulidde nti bafunye okwemulugunya okuva mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo kungeri enkuba gyebatataganyizaamu.
Entekateeka kati ejjulidde lwankya
Okulonda kwobukiiko bwabakyala kwakubaawo wiiki ejja ngennaku zomwezi 14.
Bya Rith Kemigisa
Poliisi esambazze ebyafulumidde mu mawulire, ebyalaze nti ekitongole kye gwanga lya America ekikessi ekya Federal Bureau of Investigation (FBI) bwekinonyereza ku ttemu eribaddewo wano mu gwanga ku bakyala naddala mu distrct ye Wakiso.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa omwogezi wa poliisi mu gwanga, Assan Kasingye waliwo ekitongole kya poliisi kuno ekyetengeredde ekinonyereza.
Bino webijidde ngabakazi abasoba…
PADER
Bya CISSY MAKUMBI
Police mu district ye Pader eriko omukazi owemyaka 28 gwegalidde ne muganda we lwakutta bbaawe George Okeny abadde atemera mu myaka 33.
Omugenzi abadde mutuuze ku kyalo Kibogi A mu ggombolola yen Ogom mu distrct ye Pader nga abakwate kigambibwa nti bekobaanye, nebakuba omusajja ku ssekalotera nafirawo.
Bano kigabibwa nti babadde nobukubagano ngera bayawukana, ebbanga eriweze.
Omowgezi…
Bya Shamim Nateebwa
Akeddimo kabasawo ku malwaliro ga gavumenti agenjawulo kakyagenda mu maaso, nga kakosezza abalwadde.
Yyo ku ddwaliro ekkulu e Mulago kakosezza nyo ba maama ababadde baleese abaana babwe okubagema.
Bano basindikidwa okudda ekka okutuussa nga Akeddimo kawedewo.
Ba maama betwogeddeko nabo balaze obwelalikirira eri abaana babwe abatagemedwa songa babadde batekeddwa nga bwebalambikibwa.
Bano bagamba nti tebalina nsimbi…
bya Damalie Mukhaye
Ekibiina kya Forum for Democratic Change kiriko abakulu 1,200 bebakaksizza bayite ba delegates abagenda okulonda, presidenti wekibiina nga November 24th mu kisaawe Namboole.
Bwabadde ayogera ne banamwulire e Najjanakumbi ku wofiisi zekibiina, akulira ebyokulonda mu FDC Dan Mugarura ategezeza nti abagenda okulonda mulimu ba abakulembeze bekibiina kuzi district, ba mayor, ababaka ba palamenti, abakulembeze…
Bya Moses Kyeyune
Katemba alabikidde mu kakiiko ka palamenti akebyamateeka, ababaka bwebatabukidsde ssentebbe waabwe okubeera ne kyekubiira, mbu abadde alina engeri gyattira ku liiso abajulizi.
Akakiiko kano nga kakubirizibwa omumyuka wa ssentebbe waako, omubaka Robinah Rwakoojo olwaleero kabaddi kagasimbaganye ne ssbaminista we gwanga Dr Ruhakana Rugunda nga kagenda mu maaso okwekennenya ebbago lyomubaka ssekinoomu, owa Igara West…
Bya Ruth Anderah
Poliisi ate yefukuludde nedamu n’ekwata omu ku basajja 7 abateberezebwa okutta eyali omwogezi wa poliisi mu gwanga omugenzi Andrew Felix Kaweesi, ababadde bakayimbulwa.
Amakya ga leero abantu 9 bebalabiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti ye Nakawa Noah Ssajjabi okukakana nga musanvu kubano abakirizza okweyimirirwa bawoze nga bava bweru.
Kati getwakafuna galaga nga omu kubaano Ahmed…
E Bukedea waliwo omusajja wa myaka 27 atanziddwa ensimbi emitwalo 20 ngalangibwa kudda ku kayana n’akeberekako.
Ono yakwatiddwa lubona ngali ku kayana akebereseeko, era olumututte mu kooti yekitundu abatuuze basazeewo nti asasule engasi ya ya mitwalo 20.
Omukulu wekika Mohamed Malinga, agamba nti ekikolwa kyono kireese okuswala mu kika kino, nga yeetaga kugobwa nokuwa engasi
Wabula ye mukwewozaako…
Bya Shamim Nateebwa.
Agavve e Mulago n’amalwaliro ga gavumenti amalala simalungi, anti abasawo tebakedde kukola era nga kaakano abalwadde bakedde kukonkomala.
E Kiruddu abalwadde baakedde kutuuka wabula nga mpaawo abafaako, songa yo e Mulago abalwadde abali obubi enyo bebokka abakolebwako.
Kinajukirwa nti abasawo bano eggulo baatudde nebasalawo okugaana okukola nga bagamba nti gavumenti erina kusooka kukola…
