Bya Damalie Mukhaye
Abakozi abatali basomesa ku matendekero ga gavumenti aga waggulu, batanudde okubanja ministry yebyenjigiriza etukirize byeyabasubiza okubongeza emisaala.
Kinajjukirwa nti gavumenti mu May womwaka gwa 2016 yasubiza bano okubongeza emisaala, oluvanyuma lwakediimo kebalimu akaali kakutte wansi ne waggulu.
Ekisubizo kya gavumenti kyali nti ensimbi obuwumbi 4 nobukadde 300 zakutekebwanga ebbali okukola ku nsonga zaabwe.
Bano baali bakowngezebwangko…
Bya Ruth Andera
Munnakibiina kya NRM era omuwagizi weyali ssabaminisita we gwanga John P Amama Mbabazi ajjeeyo omusango gweyali yawaaba ngawakanya abekibiina kya NRM Yoweri Museveni okubakwatira bendera kubwa presidenti mu kulonda okwaggwa, songa ayolkedde okukoona ku kkomo lye myaka.
Mu bbaluwa gyeyawansdiise nga November 3 Dr Benjamin Alipanga okuyita mu banamteeka aba Muwema and Company Advocates…
Bya Ssebuliba samuel
Waliwo akabenje akagudde ku luguudo olugatta Kampala ku Gulu ku kyalo Nakazzi e Luwero okumpi n’ekyuma ekipima obuzito bwemotoka okukakana nga omuntu omu afudde.
Kano akabenje kabademu e motoka biri okubadde Toyota Premio number UAK514U ne lukululana
Omugenzi ategerekeseeko lya Lt. Embogo , songa abalala abasatu abasimatuse akabenje badusiddwa mu dwaliro lyamagye e Bombo.
Twogedeko n’ayogerera…
Bya samuel ssebuliba.
Abasawo abegatira mu kibiina kyabwe ekya uganda Uganda medical association bategeezeza nga bwebatalina kilowozo kyakuyimiriza kwekalakaasa kwabwe, newankubadde banaabwe abeeyita ababogerera aba Uganda medical workers union kyebagye bategeeza nga okwekalakaasa bwekukomye.
Twogedeko ne Dr Brian Kasagga nga ono yayogerera ekibiina kino n’agamba nti abagamba nti bebogerera abasawo banakigwanyizi, era tebafa ku mbeera zabasawo.
Ono agamba…
Bya Sam Ssebuliba
Police e buwama eriko omusawo ow’ekinansi gw’ekuttewamu n’omuyambiwe, nga bano ebalanze kudda kumukyala ow’emyaka 21 nebamusobyako.
Akwatidwa ye Kakeeto Mike omusawo w’ekinnansi wamu negwakola naye Lubega Robert omuyambiwe nga bano abatuuze mu buwama mu town
Akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisango e Buwama Josephat Mbonigaba agambye nti ono gwebasobezaako abadde awereza mere mu Buwama, kale nga okumufunza…
Bya Damalie Mukhaye
Olukikiiko lwekibuga olwa Kampala Capital City Authority council lulagidde nankului wemirimu egeykikugu mu Kampala, obutagezaako okuteka ensimbi mu ntekateeka ya minista Betty kamya ayagala okutwala abakiise e Kyagwaza okutendekebwa mu nsonga ze nnongosereza mu ssemateeka.
Kamya yawandikira mukyala Jenniefa Musisi ngasaba obukadde 125 okuvvujjirira omusomo gwaba kansala 218 bebangenda okubangulira e Kyankwanzi.
Abakiise basazeewo nti…
Bya Sam Ssebuliba
Ministry yebyobulamu eyogedde ku kediimo kabasawo akakgenda mu maaso okwetoloola amalwaliro ga gavumenti mu gwanga, nebategeeza nti embeera tenayononeka wabula ebali mu taano.
Minister webyobulamu Dr Jane Ruth Acheng ategezeza banamwulire ku Media Centere akawungeezi kano nti ekibiina ekigatta abasawo ekya Uganda medical association ssi katala okukiberamu, kubanga waliwo nabasawo abalal abatali mu kediimo…
Bya Ivan Ssenabulya
Abalwanirira eddembe lyaba nekolera gyenge batadde ku nninga ekitongole kye ddagala mu gwanga ekya National Drug Authority nekivunayizbwa ku mutyindo ekya Uganda National Bureau of Standards ku bigambibwa nti obupiira kalimpita wa bwabika.
Bwabadde ayogerera mu musomo ogwategekeddwa UNBS ku UMA conference Hall e Lugogo, omulwanirizi we ddembe lyaba nekolera gyenge Flavia Kyomuhendo okuva…
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka owa munispaali eye Mukono olwaleero alongoseddwa eranga akyali mu coma.
Omubaka Betty Nambooze wiiki ewedde yatwalibwa mu gwanga lya Buyindi, olyuvanyuma lwalipoota zabaswo okulaga nti yakosebwa enkizi, oluvanyuma lwokulwanagana okwali mu palamenti.
Omwogezi wekibiina kya DP e Mukono Julius Nkangi atukaksizza nga government bweyakoze ku bujanjabi.
Abamu ku bawerekerako osmubaka ye mwami we Henry Bakireke.
Bya samuel ssebuliba
Abakugu mu byenfuna bategeezeza nga eby’enfuna bya uganda bwebitandise okukula, wabula nga kino kiri mungeri yakasobo ebitagambika.
Mumwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2016-2017 eby’enfuna bya uganda byaakula n’ebitundu 3.9%, wabula nga kuluno ekitongole ekikola ku by’emiwendo kigamba nti byakukula n’ebitundu nga 4%.
Ramadan Goobi nga ono mukugu mu byenfuna agamba nti olwenkuba etonya ensangi zino eby’enfuna bya…
