Bya Getrude Mutyaba.
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga era nga omubaka wa Bukoto South mu masaka Edward Kiwanuka Ssekandi asabye banna Uganda okujjumbira okulonda ba Sentebe ba LCI mu kalulu akabindabinda.
Ssekandi agamba nti ba sentebe ba LCI bakola omulimu munene nyo kubanga bebatuukibwako ensonga era nebazitwala gy’ezirina okulaga okusobola okugonjolwa.
Ssekandi agamba nti bo bwebabeera mu bitundu gyebabaweerereza gamba…
Bya Ritah Kemigisa .
Omukulembeze we gwanga lyatu uganda YKM nakakano akakyali mu Dubai ategeezeza omukulembeze we Sharjah - Bin Mohammed Al-Qasimi nga uganda bweyetegese okumufunira etaka edene waayinza okuzimba esomero gagadde ely’ebimokono.
Bano okutuuka wano bamaze kuwayaamu okumala akabanga, nebakiriziganya nti kyetagisa okutumbula eby’enjigiriza mu uganda , nadala ku mutendere ogw’ebyemikono.
Bano nga ogyeko eby’enjigiriza baayogede n’ekunsonga…
Bya damalie Mukaye
Omulord w’ekibuga Kampala ssalongo Erias Lukwago alabudde minister wa kampala Betty Namisango Kamya okukozesa ekitongole kya KCCA nga akatuuti k’ebyobufuzi nga anonyeza omukulembeze we gwanga obuwagizi ku ky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Bwabadde ayogerako ne banaamawulire wali mu office ye- Lukwago agambye nti nga 31st- October omukyala ono yawandiikidde executive director Jenipher…
Bya samuel Ssebuliba.
Wetwogerera nga omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni mutaka mu United Arab Emirates ku bugenyi obw’enaku esatu nga eno agenzeeyo kwetaba mu lukungana lwebyobusubuzi olwensi yonna olukwata ku Africa luyite annual global Business Forum on Africa.
Ono okugendayo yamaze kuyitibwa mukulembeze we gwanga lino His Highness Sheik Mohammed Bin Rashid Al Maktoum.
Mulukungana luno abakulembeze…
Bya Damalie Mukhaye.
Olwaleero abaana aba ab’ekibiina kya P. 7 lwebagenda okukola ekibuuzo kyabwe ekisooka nga kino kigenda kuba kyakubabulirira by’ebalina okugoberera, olwo ebibuuzo by’enyini babikole ku lw’okuna n’olwokutaano.
Twogedeko ne ssabawandiisi w’ekitongole kino Dan Odongo n’agamba nti baliko amateeka amakambwe gebawadde abasomesa, kko n’abagenda okukuuma ebibuuzo bino, kale nga mpaawo agenda kukirizibwa kweyisa nga bwayagala mukadde…
Bya Malik Fahad.
E Sembabule waliwo omusajja asimatuse okutibwa abatuuze nga ono alangibwa kubba matooke g’abatuuze ku kyalo.
Eno enjega ebadde ku kyalo Kawanda nga eno abatuuze bagwikirizza omusajja ono George William Zziwa ow’emyaka 40 nga akuluggusa amatooka g’abatuuze.
Abatuuze bagamba nti ono yalumbye olusuku lwa Ezekeil Mulwanyi n’atandika okutema amatooke baagenze okumukwata nga yakatema enkota taano.
Ayogerera Police…
Bya Abubaker Kirunda.
E Iganga agavaayo galaga nga bwewaliwo omusajja ow’emyaka 30 akwatidwa nga ono kigambibwa nti aliko omwana ow’emyaka 5 gwasobezaako
Omukwate ono kizuulidwa nga mutuuze we Buseyi mu gombolola ye Nakalama.
Ayogerera Police yeeno James Mubi atubuulide nti omusajja ono omwana gwayasobezaako mwana wa mwanyina
Mukaseera kano ono alinda kutwalibwa mu kooti abitebye.
Bya Damalie Mukhaye.
Mukawefube ow’okulwanyisa emize egyokwekalakasanga mu baana abasomera e Makerere, abakulu mu tendekero lino batedewo akakiiko akagenda okulola ku nsonga z’empisa mu baana bano.
Twogedeko n’amyuka akulira etendekero lino Proff.Barnabus Nawangwe, natubuulira nti akakiko akateredwawo kaakutulako abantu 5 bokka, nga kano kekagenda okusalangawo abaana abanagobwa , oba abanakangavulwa singa batandika okweyisa nga bakiwagi
Ono agamba nti…
Bya kyeyune moses
Olunaku olwaleero akakiiko ka parliament akakola ku by’amateeka lwekagenda okutandika okwekeneenya ebago ly’eteeka erigenderedwamu okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Akakiiko kano akakukulemberwa omubaka wa West Budama Jacob Oboth, kagenda kusooka kuwayaamu n’omubaka wa Igara West MP Raphael Magyezi eyaleeta ebago lino wamu ne minister akola ku by’amateeka Gen Kahinda Otafiire.
Munsisinkano eno, omubaka…
Omukulembeze we gwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta nate alangiriddwa ku buwnaguzi, oluvanyuma lwokulonda okwokuddibwamu okwaliwo nga October 26th okwobukulembeze bwe gwanga.
Ono alangiriddwa ssentebbe wakaiiko akebyokulonda mu gwanga lya Kenya aka IEBC Wafula Chebukati akawungeezi kano e Bomas mu kibuga ekikulu Nairobi, awabadde wabalirwa obululu.
Ono akukumbye obululu 98.2% nomumyuka we William Rutto, oluvanyuma lwabavuganga gavumenti aba…
