Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Poliisi ekutte owa S4 nolupapula olusomole

Bya Damalie Mukhaye Poliisi eriko omuyizi owa S4 owemyaka 17 nga muyizi ku ssomero lya Kimuna S S mu distrct ye Nakaseke bwasangiddwa nolupapula lwa Biology, nga akaseera kebigezo tekanatuuka. Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka womwogezi wa poliisi Polly Namaye, atubuliidde nti bwebakutte omuyizi ono, nabategeeza nti omusomesa we Nicolas Kibilige yeyamuwadde olupapula. Kibilige oluwulidde bino nabinyika mu nusuwa.

Read More

Okulonda mu biffo ebimu kwongezeddwayo

Bya Ivan Ssenabulya Mu gwanga lya Kenya, akakaiiko akebyokulonda aka Independent Electoral and Boundaries Commission kayiirizza okulonda mu bifo ebimu, obwegungungo gyebukutte wansi ne waggulu. Bwabadde ayogera na banamwulire kungeri okulonda gyekutambulamu, mu kibuga ekikulu Nairobi, akulira akakiiko ka IEBC Wafula Chebukati agambye okulonda mu masaza Homabay, Chaya, Migori nemu Kisumu kwongezeddwayo. Eno okulonda kwongezeddwayo okutukira ddala ngennaku…

Read More

Ab’omukikuubo bakiise embuga.

Bya shamim Natebwa.   Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abantu ba Buganda okunyikira okukola newankubadde embeera y’ebyenfuna si nyangu mu uganda. Katikiro okwogera bino abadde asisinkanye abasuubuzi b'omu kikuubo abakiise embuga n’abakalatira okuwagiira enteekateka z’obwakabaka ezizza Buganda ku ntiko Abasuubuzi bano bakise embuga nebagula satifikeeti z'obwakabaka n'okuwagira enkola ya luwalo lwaffe nga zonna zibalirirwamu obukadde 18. Bano bakulembedwamu…

Read More

Abaana 11 basobezza ku mukazi kirindi.

Bya Enid Ninsiima. Mu district ye Kasese waliwo abayizi 11 abakwatidwa nga bano kigambibwa nti baliko omukazi owe myaka 26 gy’ebaakase  akabozi. Eby’akazuuka biraga nti kubano munaana baana ba  ssiniya yakuna era bakola bigezo byabwe eby’akamaiirzo. Akulira okunonyrerza ku buzzi bw’emisango ku poliisi mu munisipaali eye Kasese Peter Tindyebwa , agambye nti abayizi bano basomera Bwera Comprehensive SS…

Read More

UNEB etandise okuyigga abaana abaakopye ebibuuzio bya S.4.

Bya Damalie Mukhaye. Ekitongole ekikola ku by'ebibuuzo mu gwanga ekya UNEB nga kikwataganye ne  police batandise okunonyereza kubigambibwa nti waliwo abaana abaasomodde ebibuuzo ebikolebwa ku mutendere ogwa S.4. Kinajukirwa nti amakya ga leero olupapula lwa Daily Monitor lukitegedeko nti  waliwo empapula 2  okuli olwa chemistry paper 2  ne CRE ezigambibwa okuba nti zalabidwako abayizi nga tezinakolebwa olunaku…

Read More

Abaana amakumi 30 bakwatiddwa nga tebasoma bakungula bikajjo

Bya Abubaker Kirunda Mu district ye Jinja agavaayo galaga nga abaana 30 bwebakwatidwa okuva mu gombolola ye Buyengo, nga bano  ogubavunanibwa gwakugenda  mumasamba gabikajjo  okukola  kyoka nga kadde kakusoma. Bano abaana bakwatidwa nga bakedde kugenda kutema bikajjo, era nga kino ekikwekweto kikulembedwamu akulira police yeeno Hoseph Ojuka. Yye omwami w’egombolola eno Josephine Balinaine agambye nti okuzukuka bamaze kukizuula…

Read More

Bamukutte lwabubbi

Bya Abubaker Kirunda Police e Buwenge  wano mu Jinja  ekutte omuvubuka wa myaka 18  nga ono emulanze  gwa bubbi. Akwatidwa ategerekese nga Asupus Musoke , omutuuze Buwenge Town Council. Akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisango ku police ye Kiira north Henry Magoola  agambye nti omuvubuka ono nga ali wamu nabalala babade befuddle ekirara mukubanga abatuuze abatambula ekiro, era nga balina…

Read More

Olwaleero mazalibwa ge’zzike Zakayo

Bya Benjamin Jumbe Banna-Butonde bwansi nabagoberera ebyafaayo byebisolo ebyomunsiko olwaleero bakunganidde Entebbe mu kkumiro  lyebisolo okuyambako ezike erimanyidwa nga Zakayo okukuza amazallibwa, nga liwezeza emyaka 54. Kinajukirwa nti  nga 10th June, 1964  Zakayo  yanunilibwa okuva mu bibira bye Semliki National Park e Bundibugyo  ngeweza omwaka gumu gwokka, naweebwayo eri ekumiro lyebisolo erya  Zoo mu 1976 . Zakayo ono…

Read More

Gwebateebereza obubbi e Kanungu bamusse

Bya Sam Ssebuliba Police e  kanungu  etendise okunonyereza ku kyakyafiriide okufa  kwomusajja owe myaka 35 , nga ono kigambibwa ntyi yattidwa mu kikolw kyakutwalira mateeka mungalo. Twogedeko ne Elli Matte  ayogerera police ye kigezi nagamba nti  omugenzi yategerekese nga Sande God  omurtuuze we  Nyarutojo  mu Kanungu district. Okunonyereza kwa police okusooka kulaze nga ono bweyakwatidwa nebintu ebibbe –…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play