Bya Ndhaye Moses
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority, kirangiridde nti entekateeka z’okugema ssenyiga omukambwe bagenda kuzitwala mu bantu mu bitundu gyebawangaliira.
Bagambye nti entekateeka eno egenda kukolebwa wakati mu kugoberera amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Akulira ekitongole kya KCCA Dorothy Kisaka asabye ababeyokwerinda okukwata obulungi abantu, babaleke bagende mu bifo ebyatereddwao basobole okugemebwa.
Bino webijidde ngentambula…
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole kyeterekero lye’ddagala mu gwanga, National Medical stores bategezezza nga bwebakabunyisa eddagala doozi emitwalo 11 mu 7, 520 muzi distulikiti za Uganda 135.
Omwgezi wekitongole kino Sheila Nduhikire wbula agambye nti ku ddagala lino, emitwalo 9 mu 3,360 lyekakakasibwa nti lituuse mu bifo gyeritekeddwa okugenda mu disitulikiti 94.
Okubunyisa eddagala mu KCCA kwo kugenda kutandika…
Bya Ivan Ssenabulya
Minisita omugya owa guno na guli wansi wa wofiisi ya Ssabaminista we’gwanga Justine Kasule Lumumba yeyamye nga bweyewaddeyo okukolagana ne Ssabaminisita we’gwanga Robina Nabanja okutuusa obuwereza eri abantu.
Lumumba agambye nti yakolako ne Nabanja bwebaali mu palamenti, wabula yeyamye nti essira bagenda kuliteeka ku kukyusa embeera zabantu.
Kino agambye nti kijja kusobokera ddala kubanga yali…
Bya Ivan Ssenabulya
Ssentebbe wakakiiko akaweebwa omulimu gwokuwalwanyisa enguzi nga kasibuka mu maka gobwa pulezidenti alabudde amamalwaliro gobwabananyini ku bisale ebisukiridde byebasaba abantu olw’obujanjabi bwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Lt Col Edith Nakalema agambye nti bafunye okwemulugunya kwa mirundi 496 okuva mu bantu abenjawulo ku bisale ebibasabibwa nti birimu obukuusa.
Asabye abali mu mulimu gwobusawo okudda ku nono n'empisa…
Bya Ivan Ssenabulya
Akakiiko akakola ku nsonga z’obwenkanya mu gwanga, Equal Opportunities Commission kalaze obwetaavu eri abatekesa mu nkola ebiragiro ku ssenyiga omukambwe okubizza mu nnimi ezenjawulo, abanatu okusobola okubitegeera.
Ssentebbe wakakiiko omugya Hajat Sofia Nalule Juuko agambye nti kino kyakowngera okumanyisa abantu bategeere ekyokukola kubanga ssi buli muntu ategeera olunegereza noluganda.
Ono abadde ku Morning @NTV, nagamba…
Bya Musasai Waffe
Abasubuzi mu katale ke Soroti, ababaddenga abatunda ebyokulwa ebya buli lunnaku eri abantu balajana olwomuwendo gwabaguzi ogukendedde.
Hadijja Nagobi, ngatunda menvu okuva e Mbale agambye nti kati amenvu agasinga gavunda nebasuula.
Agambye nti ekiwagu kya Bogoya baali bakitunda 5000, wabula bbeyi bajisizza okudda ku 3000 naye era abagula bakyali batono.
Ate Betty Tino, ngatunda byakulya atagezezza…
Bya Musasai Waffe
Abasibe 12 batolose okuva mu kkomera lye Gbuktu mu disitulikiti ye Koboko, oluvanyuma lwokwmulugunya ku mmere embi gyebabaliisa okumala ebbanga.
Bano basinzizza abakuumi amaanyi nebamenya olugi, nebyokya ensiko okuyingira munda mu gwanga lya DR Congo.
Kati abasibe 4 ku bano bakwatiddwa atenga abalala bayingidde mu gwanga lya Congo nga bakozesa obuwunjuwunju ku nsalo.
Kati abasibe 4…
Bya Musasi Waffe
Ebbiina lyabatuuze, bakakanye ku musajja owemyaka 29 mu disitulikiti ye Oyam nebamutta, olwokubba ebikopo byebinyebwa.
Omugenzi ye Geoffrey Omara, ngabadde muuuze ku kyalo Barjai mu gombolola ye Iceme mu distulikiti ye Oyam.
Ono basoose kumulumiriza okubba ebinyebwa okuva mu maka g’omutuuze Ojok Awitong, oluvanyuma bamwetolodde nebatandika okumukuba.
Bamutidde mu kafo, okumpi nolusaalu lwe Awio ku luguudo…
Bya Ivan Ssenabulya
Ababaka abatuula ku kabondo ka palamenti akabava mu Buganda, beyamye okulwanyisa ensonga yekibba ttaka nebizibu ebiralaa ebyeyongedde mu kitundu kino.
Ababaka abava mu Buganda 109 olunnaku lweggulo balonze obukulembeze bwabwe obugya, wabula wakati mu butakanya n'okusika omugwa.
Omubaka we Butambula owa NUP Muhamadh Muwanga Kivumbi, yeyalondeddwa kubwa ssentebbe nga wakumyukibwa munna DP omubaka wa Buikwe…
Bya Musasi Waffe
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni olwaleero asubirwa okwetaba ku mukolo ogwokulayiza Rebbeca Kadaga ngomumyuka wa Ssabaminisita we’gwanga asooka.
Ku mukolo guno ne minisita owensonga zomukago gwa East African Community waakulayizbwa.
Bino webijidde ng aba minisita abalala, balayizddwa ku mukolo ogwabadde ku kisaawe e Kololo ku Bbalaza.
Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze we’gwanga kubyamwulire Linda Nabusaayi omukolo guno…