Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Emyaka giweze 55 okuva Obote lweyalumba olubiri

Bya Ivan Ssenabulya Olwaleero lwegiweze emyaka 55, okuva amagye ga gavumenti yo’mugenzi Milton Obote lwegalumba Olubiri lwa Ssekabaka Fredrick Walugembe Muteesa II e Mengo. Obulumbaanyi buno bwaliwo nga 24 mu May wa 1966, oluvanyuma lwobutakaanya obwali bubaluseewo wakati wa gavumenti eya wakati n’obwakabaka bwa Buganda. Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategezezza nga bwewategekeddwawo okusaba okwenjawulo ku Lutikko…

Read More

Okulonda sipiika kwa leero

Bya Ritah Kemigisa ne Damalie Mukhaye Ababaka 529, mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11 olwaleero bagenda kutuula mu lutuula lwabwe olusookera ddala. Bano bagenda kutuula ku kidsaawe ky’emikolo e Kololo, okulonda sipiika nomumyuka we, wabula wakati mu kugoberera amateeka nebiragiro bya ssenyiga omukambwe COVID-19. Abavuganya ku kifo kya sipiika kuliko owa NRM Jacob Oulanya ekibiina gwekywanzeeko eddusu, ne…

Read More

Abantu 3 bafiridde mu mataba e Kasese

Bya Juliet Nalwooga Abantu 3 bafiridde mu mataba amakya ga leero, mu disitulikiti ye Kasese, oluvanyuma lwomugga Nyamwamba okubooga. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwenzori, Vicent Twesigye agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso, ku njega eno ebadde mu bitundu bye Kilembe. Wabula guno ssi gwemulundi ogusoose, omwaka oguwedde era amataba gagwawo oluvanyuma lw’emigga Nyamwamba, Mubuku nomugga Nyamughasana…

Read More

CEC eronze Oulanya ku kifo kya Sipiika

Bya Ritah Kemigisa Olukiiko lwekibiina kya NRM olwa Central Executive Committee lulonze Jacob Oulanyah, gwebagenda okuwagira ku kifo kya sipiika wa palamenti. Oulanya abadde amegana ne Rebecca Kadaga ku kifo kino, munda mu kibiina. Kadaga wabula yabadde alabudde nga bwagenda okuvugany nga namunigina. Oulanya wabula yabadde alabudde nti obutamuleka kuvuganya kubwa sipiika, kinaaba kivumo, kubanga baali beyama omulundi ogwedde. Bino…

Read More

CEC balemereddwa ku nsonga za Kadaga ne Oulanya

Bya Benjamin Jumbe Omubaka we’ssaza lye Pingire Fred Opolot alaze okutya, nti okulonda kwa sipiika nomumyuka we, kwandireka nga kwabuluzaamu ekibiina. Akabondo k’ekibiina kya NRM, kagenda kutuula amakya ga leero okusalawo ku ani gwebanawagira mu kulonda kwolunnaku lwenkya. Okulonda sipiika nomumyuka we, kugenda kuberawo olunnaku lwenkya wabula olukiiko olwa CEC mu NRM, olunnaku lweggulo balemereddwa okukaanya era bazeemu…

Read More

Bannauganda basabiddwa okusimba emiti gibayambe nga bawumudde

Bya Benjamin Jumbe, Bannauganda basabiddwa okusiga ensimbi zabwe mu kusimba emiti mu kawefube owokutaasa obutonde. Bino byogeddwa ssentebe wekitongole ekya Private sector Foundation Uganda Dr Victoria Sekitoleko wakati ngokwemulugunya kukusaanawo kwe bibira mu ggwanga. Ono agamba nti okusimba emiti sikyakuyamba kukuuma buttoned kyokka wabula kyakuyamba naabo abawumudde emirimu gyabwe okugyamu ensimbi ezokubalabirira mu bukadde bwabwe. Wano wasabidde ne kitongole kya…

Read More

KCCA eyongezaayo ennaku ezókuggulirako Paaka enkadde

Bya Prossy Kisakye, Ekitongole kya KCCA kyongezayo olunaku olwókuggulirawo paaka ya taxi enkadde eri mu kudabirizibwa. Kyebuvudeko KCCA yali yalaga nti olunaku olwaleero lwebalina okugulawo paaka ebadde mu kudabirizibwa ebbanga kati lya mwaka mulamba. Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa olunaku lweggulo abakulu mu KCCA bategezeza nti basazeewo okwongezayo ennaku oluvanyuma lwokwegeyamu ne bekikwatako basobole okumaliririza okukanya ku nzirukanya yé mirimu mu…

Read More

Oulanya agamba siwakulekera Kadaga

Bya Patience Ahimbisibwe ne Prossy Kisakye, Abadde omumyuka wa Sipiika mu palamenti eye 10, omubaka wa Omoro county, Jacob Oulanyah agambye nti tekigenda kubaamu nsa akakiiko kekibiina kya NRM akokuntiko aka CEC okumusaba avve mu lwokaano lwa sipiika alekere abadde mukamaawe Rebecca Kadaga. Akakiiko ka CEC katuula lunaku lwankya okusunsula abo abegwanyiza ekifo kya sipiika nómumyukawe mu…

Read More

Museveni alagidde abalyake mu Uganda Airlines bakangavulwe

Bya Ivan Ssenabulya, Omukulembeze weggwanga Museveni alagidde abakungu abaddukanya kampuni y’enyonyi yéggwanga eya Uganda airline abagambibwa okwenyigira mu buli bwenguzi bakangavulwe. Bino ayabyogedde asimbula okuva mu ggwanga erya Tanzania gyeyagenda okuteeka omukono ku ndagano yómudumu gwamafuta ogugenda okuva e Uganda gugukira ku mwalo e Tanga mu Tanzania. Mu kuvaayo Museveni yatambulidde mu nyonyi ya Uganda airlines nasiima obukugu…

Read More