Bya Prossy Kisakye ne Magembe Ssabiiti,
Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika alayizidwa mumizira emingi okukulembera district ye Wakiso ekisanja ekyokusatu nga ssentebe wa district eno.
Omulamuzi wa kooti ye Wakiso Eseza Nakadaama yalayiziza ssentebe Bwanika era olumaze okukuba ebirayiro, ssentebe Bwanika agambye nti nga district basobodde okugezaako okukola enguudo za kolasi kubusente obutono bwebafuna…
Bya Moses Ndaye,
Abadde omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yewandisiza okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 ku kaada ye kibiina kya NRM.
Ono yasoose okulaga obwagazi bwekifo kino.
Mu kwogerako ne bannamawulire nga amaze okwewandiisa, Kadaga yeyamye okutandikira wakomye mu palamenti eye 10 awereza eggwanga lye mu bwensimbu.
Era aweze okufuba okulaba nti emirimu gya…
Bya Prossy Kisakye,
Leero luyingidde olunaku olwokusatu nga babaka abanakiika mu palamenti eyomulundi ogwe 11 balayizibwa.
Wetugidde ku mpewo nga ababaka abasoba mu 80 bebakalayizibwa leero nga mu bano nómubaka wé
Budiope East era nga ye pulesidenti wa FUFA Moses Magogo.
Mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwokukuba ebirayiro bye Magogo yeyamye okuvaayo ne tteeka erinayitimusa ebyemizannyo mu ggwanga lino.
Ate…
Bya Sadat Mbogo
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kankubansiri C" mu disitulikiti y'e Gomba, mutuuze munnaabwe bwalumbiddwa abatamanyangamba obudde nga bukya n'afumita amafumu nebamutta.
Omugenzi ye Steven Nsubuga, owemyaka 35 ng'abamusse bamulumbye mu makaage, kiteeberezebwa nti babadde bamulanga okutta mutoowe, Lawrence Birika ku nsonga z'ebyenfuna, ngono uyafa wiiki ewedde.
Ssentebe w'ekyalo Vincent Kimbugwe agambye bayise poliisi, nebajitegeeza ku…
Bya Sadat Mbogo
Abakiise mu lukiiko lwa district y'e Mpigi abakalayira balemereddwa, okukkanya ku ani alina okubeera omumyuka wa ssentebe wa district eno.
Kino kivudde ku ssentebe omuggya Musaayimuto Martine Ssejjemba Ssendege okwanjula kansala omukyala owa Kayabwe T/C Hajjat Aisha Nakirijja ng'agenda okumumyuka, abakiise nebakiwakanya.
Abakiise kino bakiwakanyizza nga bagamba ssentebe ava mu Mawokota South n'omumyuka wa sipiika,…
Bya Abubaker Kirunda
Omulamuzi akulira kooti eno e Jinja, Catherine Agwelo asabye abakulembeze abalondeddwa kubwa kansala okuddayo basome Olungereza, basobole okuteseza obulungi abantu baabwe.
Agwelo nga yakulembeddemu okulayiza ba kansala agambye nti azudde, ngabasinga olungereza lubatawaanya.
Awabudde nti olwokuba bantu bakulu, atenga balina nabaana baabwe abasoma, nga bayinza okutya okuswala, naye kisoboka okufuna abasomesa abenjawulo nebabasomesa.
Agambye nti Olungereza…
Bya Ndhaye Moses
Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea, Anita Among atutteyo okusaba kwe mu buwnadiike eri akakiiko kekibiina kya NRM akebyokulonda, nabategeeza nga bwagenda okuvuganya ku kifo kyomumyuka w’omukubiriza wa palamenti eyomulundi ogwe 11.
Among abadde awerekeddwako kabiite we, Eng Moses Magogo ngagambye nti ekimu ku byatunuliidde kwekulongoosa embeera yababaka ba palamenti.
Ono kati yasokedd ddala okuvaayo…
Bya Ritah Kemigisa
Abatunuliira ensonga zebyobufuzi, balabudde ekibiina kya NRM nti okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti eyomuylundi ogwe 11 nti kwandireka ekibiina nga kukyabuluzamu.
Okulabula kuno kukoleddwa, Siraje Nsanja, omukugu ku nsonga zebyobufuzi okuva ku ttendekero lya Kampala University, ngono agambye nti okulonda okwekyama kuyinza era obutatasa kibiina mu mbeera eno.
Ono agambye nti kyewunyisa lwaki…
Bya Ivan Ssenabulya,
Ababaka ba palamenti 134 bebalayiziddwa okunaku olwaleero abagenda okuteesa mu palamenti eyómulundi ogwe 11.
Kati ababaka 265, bebalayiziddwa okuvira ddala olunaku lwéggulo.
Mu blayiziddwa leero kuliko omubaka omukyala owa Kamuli District, Rebecca Kadaga, omubaka wé Kawempe South Basir Kazibwe ne Francis Mwijukye owe Buhweju.
Mu balala kuliko omubaka wé Tororo North Geoffrey Ekanya nowa Bugweri County…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira ebibiina bya bakozi munsi yonna ki Public Services International (PSI), kisabye gavumenti okwediza ekitongole kya masanyalaze ekya UMEME bweba nga bannauganda bakuganyulwa mu mpereza yakyo.
Bwabadde ayogereramu kutongoza alipoota ekoleddwa okuzuula abantu engeri gye batwalamu enkolagana ya gavt ne bitongole ebigidukanyiza ebitongole byayo, ssabawandiisi we kibiina kino, Dr Everline Aketeh agambye nti…