Bya prossy Kisakye,
Akulira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga lyonna alagidde abaddumizi ba poliisi okwetoloola eggwanga okudamu okuteeka amaanyi mu kukwasisa ebiragiro ebitangira ekirwadde kya covid-19 okusasaana.
Okusinzira ku minisitule eyebyobulamu abantu 359 bebakava mu bulamu bwensi eno bukya kirwadde kirumba eggwanga nga neyakasembayo okufa musirikale wa poliisi SP Mathius Turyasingura abadde Dpc wa poliisi Kiira road.
Mu…
Bya Ivan Ssenabulya,
Poliisi mu disitulikiti yé Mbale eriko omukozi mu ddwaliro ery'obwannanyini gwetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yasobeza ku mulwaddewe omuwala owemyaka 16.
Omuwala ono yaleeteddwa nnyina mu ddwaliro wabula olwatuuse ne wabaawo eyamukyusiza ekisenge era gyeyamukwatidde.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Taitika atubuulidde nti omukwate aguddwako omusango ogwokujula ebitanajja.
Bya Ritah Kemigisa
National Unity Platform, ekibiina ekikulembera oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti balangiridde gavumenti eyekisikirize.
Omubaka wa Nyendo Mukungwe, Mathias Mpuuga yalondeddwa okukulembera oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti.
Omubaka we Manjiya, John Nambeshe yagenda okubeera nampala wababaka aboludda oluvuganya gavumenti ngamyukibwa omubaka omukyala owe Jinja Manjeri Kyebakutika.
Omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake alondeddwa nga kamisona wa…
Bya Benjamin Jumbe
Olukiiko lwekibiina kya NRM olwa waggulu, olwa Central Executive Committee lugenda kuddamu okutuula olunnaku olwaleero.
Okusinziira ku ssabawandiisi wekibiina Justine Kasule Lumumba ebimu ku byebagenda okutesaako ye neyisa yabadde sipiika wa plamenti Rebecca Kadaga, eyayawukana ku kusalaow kwekibiina navuganya nga namunigina nate kubwa sipiika.
Kadaga yavuganya wabula nawnagulwa Jacob Oulanya, kati Lumumba agambye nti bagenda…
Bya Ritah Kemigisa
Abakulembeze b’ekibiina, ekikulembera abavuganya gavumenti aba National Unity Platform bagenda kusisnkana olwaleero, okufundikira nokutuuka ku kyenkomeredde ku kifo kyanakulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti empya eyomulunfi ogwe 11.
Ssbawandiisi wekibiina kino David Lewis Rubongoya agambye nti obudde bubaweddeko, yensonga lwaki bagenda kutuula bukubirirre olwaleero kino okukitesaako batuuke ku kisembayo.
Kati amyuka akulembera ekibiina kino, mu…
Bya Moses Ndaye,
Minisitule eye byóbulamu esazeewo okugyayo eddagala erigema ekirwadde kya covid-19 mu zi-disitulikiti ezitalikozeseza.
Okusinzira kwakulira ebyobujanjabi mu minisitule eno Henry Mwebesa kino bakikoze okwewala eddagala lino okwononokerayo nga telikozesedwa.
Ono agamba nti balagidde ekitongole kya gavt ekye byeddagala ekya national medical stores okutandika okuligyayo.
Bakulekayo eri abo abanagenda okufuna doozi yabwe eyokubiri.
Bya Ivan Ssenabulya
Ekkanisa ya Uganda yakukuza olunnaku Lwabajulizi nga 3 June, mungeri yanajawulo, ku kiggwa kyabajulizi side yaba-Anglican e Namugongo.
Kino kirangiriddwa, omuwandiisi wolukiiko lwabalabirizi abekkanisa ya Uganda Rev Canon William Ongeng.
Canon Ongeng, agambye nti abantu batono 200 bokka, bebayitiddwa okwetaba mu kusaba kuno okusobola okwetangira ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Agambye nti bakimanyi bulungi nti egwanga liri…
Bya Ritah Kemigisa
Minisitule yebyobulamu eyise, olukiiko olwamangu olwaba memba abatuula ku kakiiko akatekebwawo okulwanyisa ssenyiga omukambwe, COVID-19 mu gwanga.
Wetwogerera ngabalwadde abasoba 1000 bebafunise mu wiiki emu, nga kino kikakasiddwa minisitule yebyobulamu nomulanga eri abantu okuddamu okunyweza obwerinde.
Abakugu bagamba nti bann-Uganda babadde balagajjala, ngebyokwetangira obulwadde babivaako.
Kati omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yebyobulamu Dr Diana Atwine agambye nti…
Bya Ritah Kemigisa
Omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Kyambogo Prof Elly Katunguka yimirizza okusoma okwobuliwo, nalagira abayizi baddemu okusomera ku mutimbagano.
Kino kidiridde ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, okugoba ku univasite eno.
Bano baliko abalwadde 8 bebazudde ku ttendekero, nga 6 ku bbo bayizi abalala bakozi.
Prof Katunguka agambye nti ngojeeko bebakakasizza, abayizi abalala balina obubonero ngekibufa ekikambwe nebiralala.
Agambye…
Bya Prossy Kisakye,
Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago akubye ebilayiro bye okukulembera ekibuga ekisanja ekyókusatu.
Omukolo gwókulayira ogutegekeddwa ku City Hall mu Kampala, gukulembedwamu omulamuzi wa kkooti Buganda, Ayo Miriam Akello era bakansala abakiika mu lukiiko lwa KCCA 54 bakubye ebirayiro byabwe.
Ku bano kubadeko abékibiina kya National Unity Platform 47, aba NRM 4 ate aba FDC…